1Awo oluvannyuma lwʼebyo, nga wayiseewo ebbanga, Nakasi kabaka wʼAbamoni nʼafa, mutabani we nʼamusikira.
2Dawudi nʼalowooza nti, “Nzija kulaga ebyekisa Kanuni mutabani wa Nakasi, kubanga ne kitaawe yankolera ebyekisa.” Awo Dawudi nʼamuweereza ababaka okumukubagiza nga kitaawe amaze okufa.
3abakungu bʼabaana ba Amoni ne bagamba Kanuni nti, “Olowooza nga Dawudi assaamu kitaawo ekitiibwa, bwakuweerezza abakubagizza? Era olowooza nga, abasajja be tebazze kulawuna na kuketta nsi era na kugirya?”
4Awo Kanuni nʼalagira abasajja ba Dawudi bakwatibwe, nʼabamwako enviiri nʼabasalako nʼebirevu, nʼasala ebyambalo byabwe wakati okukoma ku nnyuma, nʼoluvannyuma nʼabagoba baddeyo.
5Awo Dawudi bwe yawulira bye baakola abasajja be yatuma, nʼabagamba nti, “Musigale e Yeriko okutuusa ebirevu byammwe lwe birikula, mulyoke mukomewo.”
6Awo abaana ba Amoni bwe baalaba nga Dawudi abanyiigidde; bo ne kabaka waabwe Kanuni ne baweereza ttani eza ffeeza amakumi asatu mu nnya e Mesopotamiya nʼe Alamumaaka, ne Zoba, okubeyazikako amagaali nʼabeebagala embalaasi.
7Beeyazika amagaali nʼabeebagala embalaasi emitwalo esatu mu enkumi bbiri, era ne kabaka wʼe Maaka nʼeggye lye, abajja okumwegattako ne basiisira okumpi ne Medeba. Abaana ba Amoni bo baakuŋŋaana okuva mu bibuga byabwe ne bagenda okutabaala.
8Olwawulira ekyo, Dawudi nʼaweereza Yowaabu nʼeggye lyonna eryʼabasajja abalwanyi abazira.
9Abamoni ne bavaayo bategeke okutabaala nga basimbye ennyiriri ku wankaaki wʼekibuga kyabwe, ate nga bakabaka abaali bazze okubayamba baali bokka ku ttale.
10Awo Yowaabu bwe yalaba ngʼabalabe bamutabaala mu maaso ne mabega, nʼalonda mu basajja be, abasajja abazira mu Isirayiri, era abo nʼabaweereza okulwana nʼAbasuuli.
11Abalala nʼabakwasa Abisaayi muganda we okubaduumira, ne bagenda okulwana nʼAbamoni.
12Yowaabu nʼagamba muganda we nti, “Abasuuli bwe banaaba nga bansinza amaanyi, onojja nʼombeera, naye Abamoni bwe banaaba nga bakusinza amaanyi nange nzija kujja nkubeere.
13Guma omwoyo, tulwanirire abantu baffe nʼebibuga bya Katonda waffe nʼobuzira. Mukama akole ngʼokusiima kwe bwe kuli.”
14Awo Yowaabu nʼabalwanyi be yalina ne batabaala Abasuuli, Abasuuli ne babadduka.
15Abaana ba Amoni bwe balaba ngʼAbasuuli badduse, nabo ne badduka Abisaayi muganda wa Yowaabu, ne bayingira ekibuga. Awo Yowaabu nʼaddayo e Yerusaalemi.
16Abasuuli bwe baalaba nga Isirayiri abawangudde, ne batuma ababaka, okuggyayo Abasuuli abaali emitala wʼOmugga Fulaati, nga Sofaki omuduumizi owʼeggye lya Kadalezeri yabakulembedde.
17Awo Dawudi bwe yategeezebwa ebyo, nʼakuŋŋaanya Isirayiri yenna, nʼasomoka Yoludaani nabo, nʼagenda nʼabalumba nʼasimba ennyiriri ngʼabesimbye mu maaso. Dawudi nʼatandika okulwana nʼAbasuuli, nʼabo ne bamulwanyisa.
18Naye Abasuuli ne badduka Isirayiri, era Dawudi nʼatta abeebagala embalaasi kasanvu, nʼabaserikale abʼebigere emitwalo ena. Ate nʼatta ne Sofaki omuduumizi wʼeggye lyabwe.
19Awo abantu ba Kadalezeri bwe baalaba nga bawanguddwa Isirayiri, ne batabagana ne Dawudi era ne bafuuka abaddu be; so nʼAbasuuli tebakkiriza kuyamba abaana be Amooni nate.