1 Ebyomumirembe 2:1-55 LGCB2014 - Bible AI

1Bano be baali batabani ba Isirayiri: Lewubeeni, ne Simyoni, ne Leevi, ne Yuda, ne Isakaali, ne Zebbulooni,

2ne Ddaani, ne Yusufu, ne Benyamini, ne Nafutaali, ne Gaadi ne Aseri.

2

3Batabani ba Yuda baali

3Eri, ne Onani ne Seera, era nnyabwe ye yali Basusuwa Omukanani. Eri, eyali mutabani wa Yuda omukulu nʼakola ebibi mu maaso ga Mukama, era Mukama nʼamutta.

4Tamali muka mwana wa Yuda, nʼazaalira Yuda Pereezi, ne Zeera. Batabani ba Yuda bonna awamu baali bataano.

4

5Batabani ba Perezi baali

5Kezulooni ne Kamuli.

6 Batabani ba Zeera baali

6Zimuli, ne Esani, ne Kemani, ne Kalukoli, ne Dala, bonna awamu bataano.

7Mutabani wa Kalumi ye yali

7Akali, eyaleetera Isirayiri emitawaana kubanga yayonoona mu ebyo ebyawongebwa.

8Mutabani wa Esani ye yali

8Azaliya.

9Batabani ba Kezulooni baali

9Yerameeri, ne Laamu ne Kerubayi.

10Laamu nʼazaala

10Amminadaabu, Amminadaabu nʼaba kitaawe nʼazaala Nakusoni, eyali omukulu wʼekika kya Yuda.

11 Nakusoni nʼazaala Saluma, ne Saluma nʼazaala Bowaazi,

12Bowaazi ye nʼazaala Obedi ate Obedi nʼazaala Yese.

12

13Yese nʼazaala

13Eriyaabu, eyali mutabani we omukulu; Abinadaabu nga ye wookubiri, Simeeya nga ye wookusatu,

14Nesaneeri nga ye wookuna, Laddayi nga ye wookutaano,

15Ozemu nʼaba owʼomukaaga, Dawudi nga ye wamusanvu.

16Bannyinaabwe be baali Zeruyiya ne Abbigayiri. Batabani ba Zeruyiya baali basatu nga be ba Abisaayi, Yowaabu ne Asakeri.

17Abbigayiri yali nnyina wa Amasa, ne Amasa nʼazaala Yeseri Omuyisimayiri.

17

18Kalebu mutabani wa Kezulooni nʼazaala abaana mu Azuba mukyala we ate era ne mu Yeriyoosi. Yeseri, ne Sobabu, ne Aludoni be baali abaana ba Azuba.

19Azuba bwe yafa, Kalebu nʼawasa Efulaasi, eyamuzaalira Kuuli.

20Kuuli nʼazaala Uli, Uli nʼazaala Bezaleeri.

20

21Oluvannyuma Kezulooni, ne yeebaka ne muwala wa Makiri kitaawe wa Gireyaadi, gwe yali afumbiddwa nga wa myaka nkaaga, nʼamuzaalira Segubu.

22Segubu nʼazaala Yayiri, eyafuganga ebibuga amakumi abiri mu bisatu mu nsi ye Gireyaadi.

23Naye Gesuli ne Alamu ne bawamba ebibuga bya Yayiri, Kenasi nʼebyalo byayo, byonna awamu byali ebibuga nkaaga. Abo bonna be baali abazzukulu ba Makiri, kitaawe wa Gireyaadi.

23

24Kezulooni ngʼamaze okufa, Kalebu ne yeebaka ne maama we omuto Efulaasi eyali mukyala wa kitaawe, nʼamuzaalira Asukuli, nʼazaala Tekowa.

24

25Yerumeeri mutabani wa Kezulooni omukulu yalina batabani be bataano nga be ba

25Laamu, mutabani we omukulu, ne Buna, ne Oleni, ne Ozemu ne Akiya.

26Wabula Yerumeeri yalina omukyala omulala ngʼerinnya lye ye Atala, era oyo yali nnyina Onamu.

26

27Batabani ba Laamu mutabani omukulu owa Yerameeri baali

27Maazi, ne Yamuni ne Ekeri.

28Batabani ba Onamu be baali ate batabani ba Sammayi nga be ba Nadabu ne Abisuli.

28Sammayi ne Yada,

29Abisuli yalina omukyala erinnya lye Abikayiri, era nʼamuzaalira Abani ne Molidi.

29

30Batabani ba Nadabu be baali

30Seredi ne Appayimu, naye Seredi nʼafa nga tazadde mwana.

31Mutabani wa Appayimu yali

31Isi, ate nga Isi ye kitaawe wa Alayi.

32Batabani ba Yada muganda we Sammayi be baali

32Yeseri ne Yonasaani, naye Yeseri nʼafa nga tazadde mwana.

33Batabani ba Yonasaani be baali Abo bonna be baali bazzukulu ba Yerameeri.

33Peresi ne Zaza.

34Sesani ye yalina baana ba buwala bokka,

34ngʼalina nʼomuddu Omumisiri, erinnya lye Yala.

35Sesani nʼawaayo omu ku bawala be okufuumbirwa omuddu we Yala, era omuwala nʼazaala Attayi.

35

36Attayi nʼazaala Nasani,

36ne Nasani nʼazaala Zabadi.

37Zabadi nʼazaala Efulali,

37ne Efulali nʼazaala Obedi.

38Obedi nʼazaala Yeeku,

38ne Yeeku nʼazaala Azaliya.

39Azaliya nʼazaala Kerezi,

39ne Kerezi nʼazaala Ereyaasa.

40Ereyaasa nʼazaala Sisumaayi,

40ne Sisumaayi nʼazaala Sallumu.

41Sallumu nʼazaala Yekamiya,

41ne Yekamiya nʼazaala Erisaama.

42Omwana omukulu owa Kalebu muganda wa Yerameeri,

42ye yali Mesa, ate Mesa nʼazaala Zifu. Zifu nʼazaala Malesa, Malesa nʼazaala Kebbulooni.

43Batabani ba Kebbulooni baali

43Koola, ne Tappua, ne Lekemu, ne Sema.

44Sema nʼazaala Lakamu, ne Lakamu nʼazaala Yolukeyaamu. Lekemu nʼazaala Sammayi.

45Mutabani wa Sammayi nʼazaala Manoni, ne Mawoni nʼazaala Besuzuli.

45

46Efa omukazi omulala owa Kalebu yamuzaalira Kalani, ne Moza ne Gazezi. Ate Kalani nʼazaala omulenzi gwe yatuuma Gazezi.

46

47Batabani ba Yadayi baali

47Legemu, ne Yosamu, ne Gesani, ne Pereti, ne Efa ne Saafu.

48Ate era Kalebu yalina omukazi omulala, Maaka eyamuzaalira Seberi ne Tirukaana.

49Mukazi we oyo yazaalayo nʼomwana omulala erinnya lye Saafu, eyʼazaala Madumanna. Seva nʼazaala Makubena ne Gibea. Muwala wa Kalebu ye yali Akusa.

50Abo be baali bazzukulu ba Kalebu. Sobali nʼazaala Kiriyasuyalimu,

50Batabani ba Kuuli baali Efulaasa omuggulanda,

51Saluma nʼazaala Besirekemu, ne Kalefu nʼazaala Besugaderi.

51

52Sabali eyazaala Kiriyasuyalimu, yalina abaana abalala nga be ba

52Kalowe, ne kimu kyakubiri ekyʼAbamenukosi,

53nʼebika ebya Kiriyasuyalimu nga be ba Abayisuli, nʼAbapusi, nʼAbasumasi, nʼAbamisulayi. Muno mwe mwasibuka Abazolasi nʼAbayesutawooli.

53

54Batabani ba Saluma baali

54Besirekemu, nʼAbanetufa, Atulosubesuyowabu, ne kimu kyakubiri ekyʼAbamanakasi, Abazooli,

55nʼebika byʼAbawandiisi bʼamateeka abaabeeranga e Yabezi, nga be bʼAbatirasi, Abasimeyasi, nʼAbasukasi. Bano be Bakeeni abasibuka mu Kammasi, era be baavaamu oluggya lwa Lekabu.

le>