1
2Awo Dawudi nʼaddira engule eyali eya kabaka waabwe, obuzito bwayo kilo asatu mu nnya eza zaabu, nga mu yo baateekamu amayinja agʼomuwendo, nʼagitikka ku mutwe. Nʼatwala nʼomunyago mungi ddala okuva mu kibuga ekyo.
3Yatwala abantu abaali mu kibuga ekyo nʼabawa emirimu nga bakozesa nʼemisumeeno, nʼensuuluulu, nʼembazzi. Bwʼatyo Dawudi bwe yakola ebibuga byonna ebyʼabaana ba Amoni, oluvannyuma ye nʼeggye lye lyonna ne baddayo e Yerusaalemi.
4Awo olwatuuka oluvannyuma lwʼebyo ne wabalukawo entalo nʼAbafirisuuti e Gezeri. Mu kiseera ekyo Sibbekayi Omukusasi nʼatta Sippayi omu ku bazzukulu bʼagasajja aganene ddala, era ne bawangula Abafirisuuti.
5
6Mu lutalo olulala olwali e Gaasi, waaliwo omusajja omuwanvu ennyo eyali omu ku bazzukulu bʼagasajja aganene, ngʼalina engalo mukaaga ku buli mukono, nʼobugere mukaaga ku buli kigere.
7
8Abo bonna baali bazzukulu ba lisajja Laafa owʼe Gaasi, era bonna ne bagwa mu mikono gya Dawudi nʼabasajja be.