1 Ebyomumirembe 21:1-30 LGCB2014 - Bible AI

1 Awo Setaani nʼatandika okulwana ne Isirayiri, Dawudi nʼasendebwasendebwa okubala Abayisirayiri.

2Dawudi nʼalagira Yowaabu, nʼabaduumizi bʼeggye nti, “Mugende mubale Abayisirayiri okuva e Beeruseba okutuuka e Ddaani, mukomewo, muntegeeze bwe beenkana.”

3Naye Yowaabu nʼamuddamu nti, “Mukama ayongere ku bantu be, nʼokusingawo emirundi kikumi. Mukama wange kabaka, bonna si baweereza ba mukama wange, kale kiki ekimukoza kino? Lwaki aleetera Isirayiri emitawaana?”

4Naye ekigambo kya kabaka ne kisinga ebya Yowaabu, era Yowaabu nʼagenda nʼabuna Isirayiri yonna, nʼakomawo e Yerusaalemi.

5Yowaabu nʼategeeza Dawudi omuwendo gwʼabasajja abalwanyi. Mu Isirayiri mwalimu abasajja abalwanyi akakadde kamu nʼemitwalo kkumi, ngʼokwo kwʼotadde emitwalo amakumi ana mu emitwalo musanvu abaali mu Yuda.

6Naye teyabalirako Baleevi nʼAbabenyamini, kubanga ekiragiro kya kabaka tekyasanyusa Yowaabu.

7Ekikolwa ekyo kyʼokubala abantu, kyali kya kivve mu maaso ga Katonda era nʼabonereza Isirayiri.

8 Awo Dawudi nʼagamba Katonda nti, “Nnyonoonye nnyo olwʼekikolwa ekyo. Kaakano, nkusaba ogyewo obutali butuukirivu obwʼomuddu wo, kubanga nkoze ekintu ekyʼobusirusiru ennyo.”

9Mukama Katonda nʼayogera ne nnabbi Gaadi eyaluŋŋamyanga Dawudi nti,

10“Genda otegeeze Dawudi nti, ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama nti: nkuteekeddewo ebyʼokulondako bisatu, weerobozeeko ekimu kye nnaakukola.’ ”

11Awo Gaadi nʼagenda eri Dawudi nʼamugamba nti, “Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, ‘Weerobozeeko ku bisatu:

12 emyaka esatu egyʼenjala, oba emyezi esatu egyʼokumalibwawo abalabe bo, oba ennaku ssatu ezʼekitala kya Mukama Katonda, kawumpuli agwe mu nsi, ne malayika wa Mukama azikirize abantu mu bitundu byonna ebya Isirayiri.’ Kale nno, ssalawo kye mbanziramu oyo antumye.”

13 Dawudi nʼaddamu Gaadi nti, “Nsobeddwa nnyo. Wakiri ka ngwe mu mukono gwa Mukama Katonda, kubanga okusaasira kwe kungi, okusinga okugwa mu mukono gwʼomuntu.”

14Awo Mukama Katonda nʼaweereza kawumpuli ku Isirayiri, abantu emitwalo musanvu ne bafa.

15Ate era Katonda nʼatuma malayika okuzikiriza Yerusaalemi. Naye Mukama bwe yalaba ebyo byonna, nʼalumwa nnyo olwʼebyo byonna, nʼalagira malayika eyali azikiriza abantu nti, “Ekyo kimala! Zzaayo omukono gwo.” Mu kiseera ekyo malayika wa Mukama Katonda yali ayimiridde kumpi ne gguuliro lya Olunaani Omuyebusi.

16Dawudi nʼayimusa amaaso ge, nʼalaba malayika wa Mukama Katonda ngʼayimiridde wakati wʼensi nʼeggulu ngʼasowodde ekitala mu mukono gwe, nga kigoloddwa ku Yerusaalemi. Awo Dawudi nʼabakadde, nga bambadde ebibukutu ne bavuunama amaaso gaabwe.

17 Dawudi nʼagamba Katonda nti, “Si nze nalagira abantu babalibwe? Nze nnyonoonye, era nkoze ebibi. Bano ndiga, kiki kye bakoze? Ayi Mukama Katonda wange, ombonereze nze ne nnyumba yange, naye toganya kawumpuli ono kusigala ku bantu bo.”

18Awo malayika wa Mukama Katonda nʼalagira Gaadi okugamba Dawudi ayambuke, azimbire Mukama ekyoto ku gguuliro lya Olunaani Omuyebusi.

19Awo Dawudi nʼagondera ekigambo Gaadi kye yayogera mu linnya lya Mukama Katonda, nʼayambuka.

20Laba Olunaani bwe yali ngʼawuula eŋŋaano, nʼakyuka nʼalaba malayika wa Mukama, ne batabani be abana abaaliwo ne beekweka.

21Awo Dawudi bwe yasembera okumpi ne Olunaani we yali, Olunaani nʼamulaba, nʼava mu gguuliro, nʼamuvuunamira.

22Dawudi nʼamugamba nti, “Mpa ekifo egguuliro lyo mwe liri, nzimbire Mukama ekyoto, nange nʼasasula omuwendo gwakyo gwonna, kawumpuli ave ku bantu.”

23Olunaani nʼaddamu Dawudi nti, “Kitwale! Mukama wange kabaka akole nga bwʼasiima. Laba, nzija kukuwa ziseddume zʼonoowaayo ngʼebiweebwayo ebyokebwa, nʼebintu ebiwuula ngʼenku, nʼeŋŋaano okuba ekiweebwayo ekyʼobutta. Ebyo byonna nzija kubikuwa.”

24Naye Dawudi nʼagamba Olunaani nti, “Nedda, maliridde okusasula omuwendo omujjuvu. Sijja kutwalira Mukama ekikyo, wadde okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa bye sisasulidde.”

25Awo Dawudi nʼagula ekifo kya Olunaani kilo musanvu eza zaabu.

26 Dawudi nʼazimbira Mukama ekyoto mu kifo ekyo, era nʼawaayo ebiweebwayo ebyokebwa nʼebiweebwayo olwʼemirembe, ngʼakoowoola Mukama, era Mukama nʼamuddamu nʼomuliro okuva mu ggulu ogwaka ku kyoto ekyʼebiweebwayo ebyokebwa.

27Awo Mukama Katonda nʼalagira malayika okuzaayo ekitala kye mu kiraato kyakyo.

28Okuva mu kiseera ekyo, Mukama bwe yaddamu Dawudi ku gguuliro lya Olunaani Omuyebusi, Dawudi nʼaweerangayo ssaddaaka eyo.

29Mu biro ebyo Eweema ya Mukama, Musa gye yali azimbidde mu ddungu, nʼekyoto ekyʼebiweebwayo ebyokebwa byali mu kifo ekigulumivu e Gibyoni.

30Naye Dawudi yali tasobola kugendayo kwebuuza ku Katonda, kubanga yali atya ekitala kya malayika wa Mukama Katonda.

cle>