1
2Dawudi nʼalagira okukuŋŋaanya bannaggwanga abaali mu Isirayiri, era mu bo nʼalondamu abatemi bʼamayinja, bagabajje nga kuzimbisa nnyumba ya Mukama.
3Yateekawo ebyuma bingi olwʼokukola emisumaali egyʼenzigi egya wankaaki, nʼolwebigatta, nʼebikomo bingi ebyayinga obungi nʼobuzito.
4Yawaayo nʼemivule egitabalika, Abazidoni nʼAbatuulo gye baamuleetera,
5Dawudi nʼayogera nti, “Sulemaani mutabani wange akyali mwana muto nʼobumanyirivu bwe butono. Ennyumba egenda okuzimbirwa Mukama egwana okuba eyʼekitiibwa ekinene ennyo, ngʼeyatiikirira era ngʼetenderezebwa mu mawanga gonna. Noolwekyo nzija kuteekateeka ebinaagizimba.” Era Dawudi yakola entegeka nnene ddala nga tannaba kufa.
6Awo nʼayita Sulemaani mutabani we nʼamukuutira okuzimbira Mukama Katonda wa Isirayiri ennyumba.
7
8Naye ekigambo kya Mukama ne kinzijira nga kigamba nti, ‘Oyiye omusaayi mungi, era olwanye entalo nnyingi. Tolizimbira linnya lyange nnyumba, kubanga oyiye omusaayi mungi mu maaso gange.
9
10Oyo ye alizimba ennyumba ku lwʼerinnya lyange. Aliba mutabani wange, nange ndiba kitaawe. Era ndinyweza entebe ye eyʼobwakabaka bwe mu Isirayiri emirembe gyonna.’ ”
11“Kaakano, mwana wange, Mukama abeere naawe, era olabe omukisa, ozimbire Mukama Katonda wo ennyumba, nga bwe yayogera.
12Mukama akuwe amagezi agʼokwawula nʼokutegeera ngʼokulembera Isirayiri, olyoke okuumenga amateeka ga Mukama Katonda wo.
13
14“Mu kutegana okungi ntegekedde yeekaalu ya Mukama ttani eza zaabu enkumi ssatu mu bina mu ataano, ne ttani eza ffeeza emitwalo esatu mu enkumi nnya mu bitaano; nʼebikomo nʼebyuma bingi nnyo ebitapimika muwendo gwabyo, nʼembaawo nʼamayinja. Ate okyayinza nʼokwongerako.
15Olina abakozi bangi; abatemi bʼamayinja, nʼabazimbi, nʼababazzi, nʼabantu bonna abalina obumanyirivu mu kuweesa
16zaabu ne ffeeza, nʼebikomo, nʼekyuma. Kaakano tandikirawo okukola era Mukama akuluŋŋamye.”
17Awo Dawudi nʼalagira abakulembeze bonna aba Isirayiri okuyamba mutabani we Sulemaani ngʼagamba nti,
18“Mukama Katonda wammwe tali wamu nammwe? Era tabawadde okuwummula nʼemirembe ku njuyi zonna? Agabudde ababeera mu nsi mu mukono gwange, era ensi ekkakkanye eri Mukama nʼeri abantu be.
19Kaakano mumalirire mu mitima gyammwe ne mu mmeeme zammwe okunoonya Mukama Katonda wammwe. Mutandike okuzimba awatukuvu wa Mukama, nʼoluvannyuma muleete essanduuko eyʼendagaano ya Mukama, nʼebintu ebitukuvu ebya Katonda mu yeekaalu eneezimbibwa ku lwʼerinnya lya Mukama.”