1Awo Dawudi bwe yawangaala ennyo nʼakaddiwa emyaka mingi nʼafuula Sulemaani mutabani we okuba kabaka wa Isirayiri.
2Era yakuŋŋaanya abakulembeze ba Isirayiri bonna, wamu ne bakabona nʼAbaleevi.
3Abaleevi abaali baweza emyaka amakumi asatu nʼokusingawo baabalibwa, nʼomuwendo gwʼabasajja bonna gwali emitwalo esatu mu kanaana.
4Awo Dawudi nʼagamba nti, “Ku abo emitwalo ebiri mu enkumi nnya be banaalabiriranga omulimu ogwa yeekaalu ya Mukama, ate kakaaga banaabanga bakungu nʼabalamuzi.
5Enkumi nnya banaabanga baggazi, ate enkumi ennya abasigaddewo be banatenderezanga Mukama nʼebivuga bye nateekateeka ku lwʼokutendereza.”
6Awo Dawudi nʼagabanyamu Abaleevi mu bibinja ngʼabaana ba Leevi bwe baali: Gerusoni, ne Kokasi ne Merali.
7Abaana ba Gerusoni baali
8
9
10
11
12Batabani ba Kokasi baali
13
14
15
16
17
18
19
20
21Batabani ba Merali baali
22
23
24Abo be baali abazzukulu ba Leevi mu bika byabwe, ngʼemitwe gyʼennyumba bwe gyali giwandiikibbwa mu mannya gaabwe, era nga bwe baabalibwa buli kinoomu, be bakozi abaalina emyaka amakumi abiri nʼokusingawo abaaweerezanga mu yeekaalu ya Mukama.
25Dawudi yali agambye nti, “Olwʼokuba Mukama Katonda wa Isirayiri, awadde abantu be emirembe, era abeera mu Yerusaalemi emirembe gyonna,
26Abaleevi tekikyabagwaniranga kusitula eweema oba ebintu ebikozesebwa mu kuweereza.”
27
28Omulimu gwabwe gwali gwa kuyambanga bazzukulu ba Alooni mu buweereza obwa yeekaalu ya Mukama, nga bavunaanyizibwa mu mpya ne mu bisenge, ne mu kutukuzanga ebintu byonna ebitukuvu, nʼokukola emirimu emirala mu nnyumba ya Katonda.
29Baavunaanyizibwanga emigaati egyʼokulaga ku mmeeza, nʼobutta obulungi obwʼekiweebwayo ekyʼobutta, nʼobugaati obutazimbulukusibbwa, nʼokufumba, nʼokutabula, olwʼebiweebwayo, nʼebigero byonna mu bungi bwabyo ne mu bunene bwabyo.
30Be baayimiriranga okwebazanga nʼokutenderezanga Mukama buli nkya na buli akawungeezi,
31ne mu kuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa, ebyaweebwangayo ku ssabbiiti, nʼemyezi nga kye gijje giboneke, ne ku mbaga ezaateekebwawo. Kyabagwaniranga okuweerezanga mu maaso ga Mukama obutayosa, mu mpalo zaabwe, nga bwe balagibwa.
32Awo Abaleevi ne bakolanga emirimu gyabwe mu Weema eyʼOkusisinkanirangamu, ne mu Kifo Ekitukuvu, nga bayamba baganda baabwe bazzukulu ba Alooni, okuweerezanga okwʼomu yeekaalu ya Mukama.