1Ebibinja ebyʼabazzukulu ba Alooni nga bwe bagabanyizibwamu byali bwe biti: Batabani ba Alooni baali Nadabu, ne Abiku, ne Eriyazaali ne Isamaali.
2ⓝ Naye Nadabu ne Abiku baasooka kitaabwe okufa, ate nga baafa tebazzadde baana. Eriyazaali ne Isamaali kyebaava baawulibwa era ne batandika okukola omulimu ogwʼobwakabona.
3Dawudi ngʼayambibwako Zadooki muzzukulu wa Eriyazaali, ne Akimereki muzzukulu wa Isamaali, yabaawulamu ebibinja nga bwe baalondebwa mu kuweereza kwabwe.
4Kyazuulibwa nga abakulembeze mu bazzukulu ba Eriyazaali baali bangi okusinga abazzukulu ba Isamaali, bwe bati bwe bagabanyizibwamu: mu bazzukulu ba kkumi na mukaaga, okuba abakulu bʼennyumba ne ku bazzukulu ba Isamaali munaana okuba abakulu bʼennyumba.
5Baabagabanyamu nga bakubye obululu, kubanga waaliwo abakungu abamu nga ba mu kifo ekitukuvu, nʼabalala nga bakungu ba Katonda naye nga bonna bazzukulu ba Eriyazaali ne Isamaali.
6Semaaya Omuwandiisi, mutabani wa Nesaneri, Omuleevi, nʼawandiikira amannya gaabwe mu maaso ga kabaka nʼabakungu nga Zadooki kabona, ne Akimereki mutabani wa Abiyasaali, nʼabakulu bʼennyumba za bakabona, nʼAbaleevi, ennyumba emu ngʼeronderwa Eriyazaali, nʼendala ngʼeronderwa Isamaali.
7Akalulu akaasooka kaagwa ku Yekoyalibu, nʼakokubiri ku Yedaya,
8nʼakokusatu ku Kalimu,
8nʼakokuna ku Seyolimu,
9nʼakookutaano ku Malukiya,
9nʼakʼomukaaga ku Miyamini,
10ⓞ nʼakʼomusanvu ku Kakkozi,
10nʼakʼomunaana ku Abiya,
11nʼakʼomwenda ku Yesuwa,
11nʼakʼekkumi ku Sekaniya,
12nʼakʼekkumi nʼakamu ku Eriyasibu,
12nʼakʼekkumi noobubiri ku Yakimu,
13nʼakʼekkumi noobusatu ku Kuppa,
13nʼakʼekkumi noobuna ku Yesebeyabu,
14akʼekkumi noobutaano ku Biruga,
14nʼakʼekkumi nʼomukaaga ku Immeri,
15nʼakʼekkumi nʼomusanvu ku Keziri,
15nʼakʼekkumi nʼomunaana ku Kapizzezi,
16nʼakʼekkumi nʼomwenda ku Pesakiya,
16nʼakʼamakumi abiri ku Yekezukeri,
17akʼamakumi abiri mu kamu ku Yakini,
17nʼakʼamakumi abiri mu bubiri ku Gamuli,
18nʼakʼamakumi abiri mu busatu ku Deraya,
18nʼakʼamakumi abiri mu buna ku Maaziya.
19Kuno kwe kwali okulondebwa kwʼobuweereza bwabwe, bwe baayingiranga mu yeekaalu ya Mukama, nga bagoberera ebiragiro ebyabaweebwa jjajjaabwe Alooni, nga Mukama Katonda wa Isirayiri bwe yamulagira.
20Bazzukulu ba Leevi abalala baali, okuva mu batabani ba Amulaamu, yali Subayeri; okuva mu batabani ba Subayeri yali Yedeya.
21Ku ba Lekabiya,
21Issiya ye yali omuggulanda.
22Ku Bayizukali Seromosi,
22ate ku batabani ba Seromosi yali Yakasi.
23ⓟ Ku batabani ba Kebbulooni, Yeriya ye yali omukulu, Amaliya nga ye wookubiri, Yakaziyeri nga ye wookusatu, ne Yekameyamu nga ye wookuna.
23
24Mutabani wa Winziyeeri, ye yali Mikka;
24ne ku batabani ba Mikka, ne Samiri.
25Muganda wa Mikka ye yali Issiya,
25ne ku batabani ba Issiya, Zekkaliya.
26ⓠ Batabani ba Merali baali Makuli ne Musi.
26Mutabani wa Yaaziya ye yali Beno.
27Batabani ba Merali,
27mu Yaaziya: Beno, ne Sokamu, ne Zakkuli, ne Ibuli.
28Okuva ku Makuli, Eriyazaali, ataazaala baana babulenzi.
28
29Okuva ku Kiisi, yali mutabani we Yerameeri.
29
30Ne ku batabani ba Musi, Makuli, ne Ederi ne Yerimosi.
30Abo be baali Abaleevi, ngʼennyumba zaabwe bwe zaali.
31Era ne bano bwe batyo ne bakuba obululu, nga baganda baabwe bazzukulu ba Alooni bwe baakola, mu maaso ga Kabaka Dawudi, ne Zadooki, ne Akimereki, nʼabakulu bʼennyumba za bakabona nʼAbaleevi. Ennyumba ya muganda waabwe omukulu yayisibwanga mu ngeri yʼemu ngʼeyʼomuto.