1Awo Dawudi nʼabaduumizi bʼeggye, ne baawula abamu ku batabani ba Asafu, nʼaba Kemani, nʼaba Yedusuni okuweereza, nʼokukola obunnabbi, nga bwe bakuba ennanga, nʼentongooli, nʼebitaasa. Olukalala lwʼabasajja abaakolanga omulimu ogwʼokuweereza okwo, lwali:
2Ku batabani ba Asafu: Zakkuli, ne Yusufu, ne Nesaniya ne Asalera, era abo nga bakulirwa Asafu, eyakolanga ogwʼobunnabbi, ate ye ngʼakulirwa kabaka.
3Ku batabani ba Yedusuni: Gedaliya, ne Zeri, ne Yesaya, ne Simeeyi, ne Kasabiya ne Mattisiya, be mukaaga awamu, nga bakulirwa kitaabwe Yedusuni, eyakolanga ogwʼobunnabbi, nga bwʼakuba nʼennanga nga beebaza nʼokutendereza Mukama.
4Ku batabani ba Kemani kabona wa kabaka: Bukkiya, ne Mattaniya, ne Wuziyeeri, ne Sebuweri, ne Yerimosi, ne Kananiya, ne Kanani, ne Eriyaasa, ne Giddaluti, ne Lomamutyezeri, ne Yosubekasa, ne Mallosi, ne Kosiri, ne Makaziyoosi.
5Abo bonna baali baana ba Kemani nnabbi aweereza kabaka, abaamuweebwa olwʼokusuubiza kwa Katonda, okuyimusanga erinnya lye. Katonda yamuwa abaana aboobulenzi kkumi na bana, nʼaboobuwala basatu.
6Abo bonna baavunaanyizibwanga ba kitaabwe, olwʼokuyimba mu yeekaalu ya Mukama, nga bakuba ebitaasa, nʼentongooli, nʼennanga, olwʼokuweerezanga okwʼomu nnyumba ya Katonda. Asafu, ne Yedusuni, ne Kemani baali bakolera wansi kabaka.
7Omuwendo gwʼabo nʼeŋŋanda zaabwe abatendekebwa ne bakuguka mu byʼokuyimbira Mukama baali ebikumi bibiri mu kinaana mu munaana.
9Akalulu akaasooka akaali aka Asafu kagwa ku Yusufu, batabani be nʼabʼeŋŋanda ze, kkumi na babiri; akookubiri kagwa ku Gedaliya, batabani be, nʼabʼeŋŋanda ze — kkumi na babiri (12);
10akookusatu kagwa ku Zakkuli, batabani be nʼabʼeŋŋanda ze — kkumi na babiri (12);
11akookuna kagwa ku Izuli, batabani be nʼabʼeŋŋanda ze — kkumi na babiri (12);
12akookutaano kagwa ku Nesaniya, batabani be nʼabʼeŋŋanda ze — kkumi na babiri (12);
13akʼomukaaga kagwa ku Bukiya, batabani be, nʼabʼeŋŋanda ze — kkumi na babiri (12);
14akʼomusanvu kagwa ku Yesalera, batabani be, nʼabʼeŋŋanda ze — kkumi na babiri (12);
15akʼomunaana kagwa ku Yesaya, batabani be nʼabʼeŋŋanda ze — kkumi na babiri (12);
16akʼomwenda kagwa ku Mattaniya, batabani be, nʼabʼeŋŋanda ze — kkumi na babiri (12);
17akʼekkumi kagwa ku Simeeyi, batabani be nʼabʼeŋŋanda ze — kkumi na babiri (12);
18akʼekkumi nʼakamu kagwa ku Azaleri, batabani be nʼabʼeŋŋanda ze — kkumi na babiri (12);
19akʼekkumi noobubiri kagwa ku Kasabiya, batabani be nʼabʼeŋŋanda ze — kkumi na babiri (12);
20akʼekkumi noobusatu kagwa ku Subayeri, batabani be nʼabʼeŋŋanda ze — kkumi na babiri (12);
21akʼekkumi noobuna kagwa ku Mattisiya, batabani be nʼabʼeŋŋanda ze — kkumi na babiri (12);
22akʼekkumi noobutaano kagwa ku Yeremosi, batabani be nʼabʼeŋŋanda ze — kkumi na babiri (12);
23akʼekkumi nʼomukaaga kagwa ku Kananiya, batabani be nʼabʼeŋŋanda ze — kkumi na babiri (12);
24akʼekkumi nʼomusanvu kagwa ku Yosubekasa, batabani be nʼabʼeŋŋanda ze — kkumi na babiri (12);
25akʼekkumi nʼomunaana kagwa ku Kanani, batabani be nʼabʼeŋŋanda ze — kkumi na babiri (12);
26akʼekkumi nʼomwenda kagwa ku Mallosi, batabani be nʼabʼeŋŋanda ze — kkumi na babiri (12);
27akʼamakumi abiri kagwa ku Eriyaasa, batabani be nʼabʼeŋŋanda ze — kkumi na babiri (12);
28akʼamakumi abiri mu akamu kagwa ku Kosiri, batabani be, nʼabʼeŋŋanda ze — kkumi na babiri (12);
29akʼamakumi abiri mu bubiri kagwa ku Giddaluti, batabani be nʼabʼeŋŋanda ze — kkumi na babiri (12);
30akʼamakumi abiri mu busatu, kagwa ku Makaziyoosi, batabani be nʼabʼeŋŋanda ze — kkumi na babiri (12);
31akʼamakumi abiri mu buna kagwa ku Lomamutyezeri, batabani be nʼabʼeŋŋanda ze — kkumi na babiri (12).