1 Ebyomumirembe 26:1-32 LGCB2014 - Bible AI

1Mu Bakola, waaliyo Meseremiya mutabani wa Kole, omu ku batabani ba Asafu.

2Meseremiya yalina abaana aboobulenzi nga ne Yediyayeri nga wakubiri, ne Zebadiya nga wakusatu, ne Yasuniyeri nga wakuna,

2Zekkaliya ye wʼolubereberye,

3ne Eramu nga wakutaano, ne Eriwenayi nga wamusanvu.

3ne Yekokanani nga wamukaaga,

4 Obededomu naye yalina abaana aboobulenzi nga ne Yekozabadi nga wakubiri, ne Yowa nga wakusatu, ne Sakali nga wakuna, ne Nesaneeri nga wakutaano,

4Semaaya ye wʼolubereberye,

5ne Ammiyeri nga wamukaaga, Pewulesayi nga wamunaana, Katonda gwe yawa omukisa.

5ne Isakaali nga wamusanvu,

6Mutabani we Semaaya naye yalina abaana aboobulenzi, abaali abakulembeze mu nnyumba ya kitaabwe kubanga baali basajja bazira.

7Batabani ba Semaaya baali Osuni, ne Lefayeri, ne Obedi ne Eruzabadi, ne baganda baabwe abaayitibwanga Eriku ne Semakiya nabo baali basajja bakozi.

8Abo bonna baali bazzukulu ba Obededomu, era bonna awamu ne batabani baabwe nʼabʼeŋŋanda zaabwe abalala baali basajja bajjumbize, ate nga bakozi abʼamaanyi olwʼomulimu ogwo. Bonna awamu baali nkaaga mu babiri.

8

9Meseremiya naye yalina abaana aboobulenzi, nʼabʼeŋŋanda ze bonna awamu abasajja abakozi, kkumi na munaana.

9

10Kosa, omu ku bazzukulu ba Merali yalina abaana aboobulenzi nga Simuli ye mukulu, newaakubadde nga si ye yali omubereberye kitaawe yali amufudde omukulu;

11Kirukiya nga wakubiri, ne Tebaliya nga wakusatu, ne Zekkaliya nga wakuna. Batabani ba Kosa nʼabʼeŋŋanda be bonna awamu baali kkumi na basatu.

12Ebibinja bino ebyʼabagazi, omwali abakulu bʼebyalo, baalina obuvunaanyizibwa okuweereza mu yeekaalu ya Mukama, ngʼAbaleevi abalala bonna.

13Ne bakubira obululu, buli nnyumba, abato nʼabakulu, ngʼemiryango bwe gyali.

14Akalulu akʼOmulyango ogwʼEbuvanjuba ne kagwa ku Seremiya. Ate akalulu akʼOmulyango ogwʼObukiikakkono, ne kagwa ku Zekkaliya mutabani we, era omuteesa owʼamagezi.

15Akalulu akʼOmulyango ogwʼObukiikaddyo kagwa ku Obededomu, ate akʼeggwanika ne kagwa ku batabani be.

16Akalulu akʼOmulyango ogwʼEbugwanjuba nʼOmulyango Salekesi awaali olutindo okwambuka, ne kagwa ku Suppima ne Kosa, abakuumi nga boolekera bakuumi bannaabwe.

17Ku luuyi olwʼebuvanjuba waaliyo Abaleevi mukaaga, olunaku, ne ku luuyi olwʼobukiikakkono waaliyo bana olunaku ne ku luuyi olwʼobukiikaddyo waaliyo bana olunaku, ne ku ggwanika babiri babiri.

18Ku luuyi olwʼebugwanjuba olwʼoluggya waaliyo bana, ne mu Luggya lwennyini waaliyo babiri.

19Eyo ye yali engabanya eyʼabagazi abaali bazzukulu ba Kola ne Merali.

20Ku Baleevi, Akiya ye yali omukulu wʼamawanika gʼennyumba ya Katonda, era nʼamawanika gʼebintu ebyawongebwa.

21Bazzukulu ba Ladani, abaali bazzukulu bʼAbagerusoni mu Ladani, abaali abakulu bʼennyumba za bakitaabwe nga be ba Yekyeri,

22batabani ba Yekyeri, ne Zesamu, ne Yoweeri muganda we, be baavunaanyizibwanga amawanika ga yeekaalu ya Mukama.

23 Ku Baamulamu, ne ku Bayizukuli, ne ku Bakebbulooni, ne ku Bawuziyeeri;

24Sebweri muzzukulu wa Gerusomu, mutabani wa Musa, ye yali omuwanika omukulu.

25Baganda be okuva ku Eryeza nga be ba Lekabiya, ne Yesaya, ne Yolaamu, ne Zikuli ne Seromosi, bonna nga batabani be.

26Seromosi ne baganda be, be baali abawanika bʼebintu byonna ebyawongebwa Dawudi kabaka, nʼabakulu bʼennyumba, nʼabaali abaduumizi bʼolukumi, nʼabaduumizi bʼekikumi, nʼabaduumizi abalala.

27Ebimu ku byanyagibwa mu ntalo babiwonga, ne babiwaayo okuddaabiriza yeekaalu ya Mukama.

28Ne byonna ebyawongebwa Samwiri nnabbi, ne Sawulo mutabani wa Kiisi, ne Abuneeri mutabani wa Neeri, ne Yowaabu mutabani wa Zeruyiya byavunaanyizibwanga Seromosi nʼabʼeŋŋanda ze.

28

29Bayizukali ne Kenaniya ne batabani be baaweebwa obuvunaanyizibwa ebweru wa yeekaalu, okuba abakungu era abalamuzi okufuganga Isirayiri.

29

30Ku Bakebbulooni, Kasabiya nʼabʼeŋŋanda ze abasajja abazira, lukumi mu lusanvu, baavunaanyizibwanga omulimu gwonna gwa Mukama, nʼokuweereza kabaka, ku luuyi olwʼebugwanjuba emitala wa Yoludaani mu Isirayiri.

31Mu Bakebbulooni, Yeriya ye yali omukulu, okusinziira ku byafaayo ebyʼokuzaalibwa okwʼennyumba zaabwe. Mu mwaka ogwʼamakumi ana Dawudi nga ye kabaka, ne waba okunoonyereza mu byafaayo, era ne mulabika mu Yazeri ekyʼe Gireyaadi abasajja abazira ngʼAbakebbulooni.

32Yeriya yalina abasajja abazira era nga mitwe gyʼennyumba zaabwe, enkumi bbiri mu lusanvu, era kabaka Dawudi nʼamufuula mulabirizi wa Balewubeeni, nʼAbagaadi, nʼekitundu kyʼekika ekyʼAbamanase, olwa buli kigambo kya Katonda, nʼolwʼebigambo bya kabaka.

cle>