1Luno lwe lukalala lwʼAbayisirayiri emitwe gyʼennyumba, abaduumizi bʼolukumi, nʼabaduumizi bʼekikumi abaaweerezanga kabaka nga bamutegeeza buli nsonga eyakwatanga ku bibinja ebyʼeggye, ebyabeeranga ku mpalo buli mwezi mu mwaka. Buli kibinja kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
2Yasobeyamu mutabani wa Zabudyeri ye yavunaanyizibwanga ekibinja ekisooka, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
3Yali muzzukulu wa Perezi, ate nga mukulu wʼabaami bʼeggye mu mwezi ogwasooka
3
4Dodayi Omwakowa ye yavunaanyizibwanga ekibinja ekyʼomwezi ogwokubiri nga Mikuloosi ye mukulu owʼekibinja ekyo. Mwalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya mu kibinja ekyo.
4
5Benaya mutabani wa Yekoyaada kabona ye yali omuduumizi owʼeggye owookusatu mu mwezi gwokusatu, era yali mwami. Kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
6Oyo ye Benaya eyali omusajja owʼamaanyi mu bali amakumi asatu, era nga ye mukulu mu bo. Mutabani we Ammizabaadi yavunaanyizibwanga ekibinja ekyo.
6
7Asakeri muganda wa Yowaabu ye yavunaanyizibwanga ekibinja ekyokuna mu mwezi ogwokuna, era mutabani we Zebadiya ye yamusikira. Ekibinja ekyo kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
7
8Samukusi Omuyizula ye yali omuduumizi owʼekibinja ekyokutaano mu mwezi ogwokutaano, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
8
9Ira mutabani wa Ikkesi Omutekowa ye yali omukulu owʼekibinja ekyʼomukaaga mu mwezi ogwʼomukaaga, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
9
10Kerezi Omuperoni, ate nga muzzukulu wa Efulayimu ye yali omukulu owʼekibinja ekyʼomusanvu mu mwezi ogwʼomusanvu, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
10
11Seibbekayi Omukusasi, ate nga wa ku Bazera ye yali omukulu owʼekibinja ekyʼomunaana mu mwezi ogwʼomunaana, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
11
12Abiyezeeri Omwanasosi, ate nga wa ku Babenyamini ye yali omukulu owʼekibinja ekyʼomwenda mu mwezi ogwʼomwenda, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
12
13Makalayi Omunetofa, ate nga wa ku Bazera ye yali omukulu owʼekibinja ekyʼekkumi mu mwezi ogwʼekkumi, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
13
14Benaya Omupirasoni, ate nga muzzukulu wa Efulayimu ye yali omukulu owʼekibinja ekyʼekkumi nʼomu mu mwezi ogwʼekkumi nʼogumu, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
14
15Kerudayi Omwetofa, owʼomu nnyumba ya Osuniyeri, ye yali omukulu owʼekibinja ekyʼekkumi nʼababiri mu mwezi ogwʼekkumi nʼebiri, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
24ⓤ Naye Yowaabu mutabani wa Zeruyiya nʼatandika okubala abasajja, nʼatamaliriza. Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira ku Isirayiri olwʼokubala okwo, so nʼomuwendo ogwo tegwawandiikibwa mu kitabo ekyʼebyomumirembe gya kabaka Dawudi.
25Azumavesi mutabani wa Adyeri yavunaanyizibwanga amawanika ga kabaka, ne Yonasaani mutabani wa Uzziya nʼavunaanyizibwanga amawanika agʼamasaza nʼagʼebibuga, agʼebyalo, nʼagʼebigo.
26Ezuli mutabani wa Kerubu ye yavunaanyizibwanga abalimi abʼomu nnimiro.
27Simeeyi Omulaama ye yavunaanyizibwanga ennimiro zʼemizabbibu, ne Zabudi Omusifumu ye nʼavunaanyizibwanga ebibala ebyʼennimiro olwʼamasenero agʼomwenge.
28Baalukanani Omugedera ye yavunaanyizibwanga emizeeyituuni nʼemisukomooli egyali mu nsenyi ezʼebugwanjuba; ne Yowaasi ye nʼavunaanyizibwanga amawanika gʼamafuta.
29Situlayi Omusaloni ye yavunaanyizibwanga ebisibo mu Saloni, ne Safati mutabani wa Adulayi nʼavunaanyizibwanga ebisibo ebyali mu biwonvu.
30Obiri Omuyisimayiri ye yavunaanyizibwanga eŋŋamira, ne Yedeya Omumeronoosi ye nʼavunaanyizibwanga endogoyi.
31Yazizi Omukaguli ye yavunaanyizibwanga ebisibo ebyʼendiga. Abo bonna be baali abakungu ba kabaka Dawudi abaavunaanyizibwanga ebintu bye.
32Yonasaani, kitaawe wa Dawudi omuto yali muteesa wa bigambo, era nga musajja mutegeevu omuwandiisi, ne Yekyeri mutabani wa Kakumoni ye yali mukuza wʼabalangira.
33Akisoferi naye yali muteesa wa kabaka, ate nga Kusaayi Omwaluki ye mukwano gwa kabaka nnyo.
34Yekoyaada mutabani wa Benaya ne Abiyasaali be badda mu bigere bya Akisoferi.