1 Ebyomumirembe 28:1-21 LGCB2014 - Bible AI

1Dawudi nʼakuŋŋaanya abakungu bonna aba Isirayiri e Yerusaalemi ngʼomwo mwe muli abakulu bʼebika, nʼabakulu bʼebitongole abaaweerezanga kabaka, nʼabaduumizi abʼolukumi, nʼabaduumizi abʼekikumi, nʼabakungu abaavunaanyizibwanga ebyʼobugagga nʼamagana ebyali ebya kabaka ne batabani be, nʼabakungu abʼomu lubiri, nʼabasajja abʼamaanyi era nʼabasajja bonna abazira.

2Awo kabaka Dawudi nʼayimirira nʼayogera nti, “Mumpulirize baganda bange era abantu bange. Nnali nteseeteese mu mutima gwange okuzimbira essanduuko eyʼendagaano ya Mukama nʼentebe eyʼebigere bya Katonda, ennyumba, era nga nentegeka eyaayo ewedde okukolebwa.

3Naye Katonda nʼaŋŋamba nti, ‘Tolinzimbira linnya lyange nnyumba, kubanga oli mutabaazi wa ntalo era wayiwa omusaayi.’

4“Naye ate Mukama Katonda wa Isirayiri yannonda mu nnyumba ya kitange yonna okuba kabaka wa Isirayiri emirembe gyonna. Yalonda Yuda okuba omukulembeze, ne mu nnyumba ya Yuda nʼalondamu ennyumba ya kitange, ne mu batabani ba kitange nʼasiima okunfuula kabaka wa Isirayiri yenna.

5Mu batabani bange bonna, kubanga Mukama ampadde bangi, Sulemaani mutabani wange gwalonze okutuula ku ntebe eyʼobwakabaka bwa Mukama mu Isirayiri.

6Yaŋŋamba nti, ‘Sulemaani mutabani wo yʼalizimba ennyumba yange nʼempya zange, kubanga mmulonze okuba omwana wange, era nange nʼabeeranga kitaawe.

7Ndinyweza obwakabaka bwe emirembe gyonna, bwatalirekayo okugondera ebiragiro byange nʼamateeka gange nga bwe bigobelerwa mu nnaku zino.’

8“Kaakano nkukuutira mu lujjudde lwonna olwa Isirayiri, ekuŋŋaaniro lya Mukama, ne Katonda waffe ngʼawulira, nti weekuume okugondera ebiragiro ebya Mukama Katonda wo, olyoke olye ensi eno ennungi era (nʼabazzukulu) nʼabaana abʼobusika bwo bagisikirenga emirembe gyonna.

9“Era Sulemaani mutabani wange tegeera Katonda wa kitaawo, omuweerezenga nʼomutima gumu nʼemmeeme yo yonna, kubanga Mukama akebera emitima, era ategeera okufumiitiriza okwʼebirowoozo. Bwʼonoomunoonyanga, onoomulabanga, naye bwʼonoomulekanga, anaakuvangako emirembe gyonna.

10Kaakano weekuume, kubanga Mukama akulonze okuzimba ennyumba eyʼokusinzizangamu. Ba nʼamaanyi, okole omulimu.”

11 Awo Dawudi nʼakwasa Sulemaani mutabani we ekyokulabirako ekyʼekisasi kya yeekaalu, nʼebizimbe byabyo, nʼamawanika gaayo, nʼebisenge ebya waggulu, nʼebisenge ebyʼomunda, nʼekifo ekyʼentebe eyʼokusaasira.

12Yamuwa nʼenteekateeka ya buli kintu nga ekyʼempya za yeekaalu ya Mukama, nʼebisenge, ebyali bigiriranye, nʼamawanika ga yeekaalu ya Mukama, nʼebintu byonna ebyawongebwa, ngʼOmwoyo bwe yali agitadde ku mutima gwe.

13Yamuwa nʼebiragiro ebyʼokugobereranga ku bibinja bya bakabona, nʼAbaleevi, nʼolwʼomulimu gwonna ogwʼokuweerezanga mu yeekaalu ya Mukama, nʼolwʼebintu byonna ebyakozesebwanga mu kuweereza mu nnyumba ya Mukama.

14Yawaayo ebipimo ebya zaabu olwʼebintu byonna ebya zaabu ebyasabwanga buli mulundi, nʼebipimo ebya ffeeza olwʼebintu byonna ebya ffeeza ebyakozesebwanga buli mulundi;

15nʼebipimo ebyʼettabaaza eza zaabu, nʼettabaaza zaakwo, nʼebipimo ebya zaabu ebya buli kikondo nʼettabaaza yaakyo, nʼebipimo ebya buli kikondo ekya ffeeza nʼettabaaza yaakyo;

16nʼebipimo ebya zaabu ebyʼemmeeza ezʼemigaati emitukuze egyʼokulaga, nʼebipimo ebya ffeeza ebyʼemmeeza eza ffeeza;

17nʼebipimo ebya zaabu ennongoose eya wuuma, nʼebbakuli ezimasamasa, nʼekikopo, nʼebipimo ebya zaabu ebyʼebbakuli eza zaabu, nʼebipimo ebya ffeeza ebyʼebbakuli eza ffeeza;

18 nʼebipimo ebya zaabu ennongoose eyʼekyoto ekyʼobubaane. Nʼamuwa nʼenteekateeka eyʼeggaali, be bakerubi aba zaabu abanjala ebiwaawaatiro byabwe ne babikka ku ssanduuko eyʼendagaano ya Mukama.

19 Awo Dawudi nʼayogera nti, “Ebyo byonna biri mu buwandiike, kubanga omukono gwa Mukama gwali wamu nange, era yampa okukitegeerera ddala.”

20 Dawudi nʼayongera nʼagamba Sulemaani mutabani we nti, “Ba nʼamaanyi era guma omwoyo, okole omulimu. Totya so totekemuka wadde okugwamu omwoyo, kubanga Mukama Katonda, Katonda wange ali wamu naawe. Taakwabulirenga so taakulekenga okutuusa omulimu gwonna ogwʼokuweereza ogwa yeekaalu ye Mukama nga guwedde.

21Era, laba, ebibiina bya bakabona nʼAbaleevi beeteefuteefu okukola omulimu ku yeekaalu ya Katonda, na buli musajja omumanyirivu mu kuweesa okwʼengeri zonna anaakuyamba mu mulimu gwonna. Era nʼabakungu wamu nʼabantu bonna banaagonderanga buli kiragiro kyo.”

cle>