1Awo Kabaka Dawudi nʼayogera eri ekibiina kyonna ekyali kikuŋŋaanye nti, “Sulemaani mutabani wange, Katonda gwʼalonze, mwana muto atalina bumanyirivu, ate nga omulimu munene. Ekizimbe kino si kya ku lwa muntu wabula kya ku lwa Mukama Katonda.
2
3Okwongera kwʼebyo byonna, nʼokwewaayo kwange olwa yeekaalu ya Katonda wange, mpaddeyo amawanika gange aga zaabu ne ffeeza ku lwa yeekaalu ya Katonda wange;
4ttani kikumi mu kkumi eza zaabu eya Ofiri, ne ttani bibiri mu nkaaga eza ffeeza omulongoosemu okugibissa ku bisenge byʼekizimbe,
5nʼolwʼomulimu ogwa zaabu nʼogwa ffeeza, nʼomulimu gwonna ogunaakolebwa abafundi. Kale ani aneewaayo okwewonga leero eri Mukama?”
6Awo emitwe gyʼennyumba, nʼabataka bʼebika bya Isirayiri, nʼabaduumizi abʼolukumi nʼabʼekikumi, nʼabakungu abaavunaanyizibwanga emirimu gya kabaka, ne beewaayo awatali kuwalirizibwa.
7Ne bawaayo zaabu ttani kikumi mu kyenda ne kilo kinaana mu nnya, ne ffeeza ttani bisatu mu nsanvu mu ttaano, nʼebikomo ttani lukaaga mu nsanvu mu ttaano, nʼebyuma ttani enkumi ssatu mu lusanvu mu ataano, olwʼomulimu gwa yeekaalu ya Katonda.
8Abo abaalina amayinja agʼomuwendo, baagawaayo eri eggwanika lya yeekaalu ya Mukama, eyakuumibwanga Yekyeri Omugerusoni.
9Abantu ne basanyukira nnyo okwewaayo abakulembeze baabwe kwe beewaayo, kubanga baawaayo nʼomutima ogutuukiridde eri Mukama. Ne kabaka Dawudi nʼasanyuka nnyo nnyini.
10Awo Dawudi nʼatendereza Mukama mu lujjudde lwʼabantu bonna, nʼayogera nti,
11
12
13
14“Naye nze ani nʼabantu bange kye ki, ffe okusobola okuwaayo bwe tutyo nga ffe tweyagalidde? Byonna biva gyʼoli, era tukuwadde ku bibyo.
15
16Era Ayi Mukama Katonda waffe, ebintu bino byonna bye tuwaddeyo olwʼokuzimba eyeekaalu ku lwʼerinnya lyo, biva gyʼoli, era byonna bibyo.
17
18Ayi Mukama, Katonda wa bajjajjaffe Ibulayimu, Isaaka, ne Isirayiri, okuume omuliro ogwo mu mitima gyʼabantu bo emirembe gyonna, era emitima gyabwe ginywerere ku gwe.
19Owe Sulemaani mutabani wange omutima ogumaliridde okukumanga ebiragiro byo, empya zo, nʼamateeka go, era omuwe amaanyi okuzimba ekizimbe kye ntegese.”
20Awo Dawudi nʼagamba ekibiina kyonna nti, “Mukama Katonda wammwe atenderezebwe.” Ekibiina kyonna ne kitendereza Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe nga bakutamye emitwe gyabwe, nga bwe bagwa ne ku ttaka mu maaso ga Mukama ne kabaka.
21Ku lunaku olwaddirira ne bawaayo ssaddaaka nʼebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama, ngʼomwo mwe muli seddume lukumi, nʼendiga ennume lukumi, nʼobwana bwʼendiga obulume lukumi, era nʼebiweebwayo ebyʼokunywa ne ssaddaaka endala ku lwa Isirayiri yenna.
22Ne baliira era ne banywera mu maaso ga Mukama nga bajjudde essanyu lingi ku lunaku olwo.
23Awo Sulemaani nʼatuula ku ntebe eyʼobwakabaka eya Mukama nga ye kabaka mu kifo kya Dawudi kitaawe, era nʼalaba omukisa ne Isirayiri yenna ne mugondera.
24
25Mukama nʼagulumiza nnyo Sulemaani mu maaso ga Isirayiri yenna, era nʼaweebwa ekitiibwa ekyʼobwakabaka ekyali kitaweebwanga kabaka mulala yenna mu Isirayiri.
26Dawudi mutabani wa Yese yali kabaka wa Isirayiri yenna.
27
28Nʼafa ngʼakaddiye nnyo, ngʼajjudde essanyu olwʼemyaka gye yamala ku nsi, mu bugagga ne mu kitiibwa, era Sulemaani mutabani we nʼamusikira.
29Era ebyafaayo ebyomumirembe gya kabaka Dawudi okuviira ddala ku ntandikwa okutuukira ddala ku nkomerero, byawandiikibwa mu bitabo ebyomumirembe bya nnabbi Samwiri ne mu bitabo ebyomumirembe ebya Gaadi omulabirizi,
30era nʼebyʼokufuga kwe, nʼobuyinza bwe, nʼebyo byonna ebyamutuukako, ne ku Isirayiri, ne ku bwakabaka obulala obwali bumwetoolodde, byonna byawandiikibwa omwo.