1Bazzukulu ba Yuda abalala baali Pereezi, ne Kezulooni, ne Kalumi, ne Kuuli ne Sobali.
2Leyaya mutabani wa Sobali nʼazaala Yakasi, ne Yakasi nʼazaala Akumayi ne Lakadi. Bano baali ba mu nnyumba ya Abazolasi.
2
3Ne bano, be baali baganda ba Etamu,
3ne Yezuleeri, ne Isuma, ne Idubasi, ne mwannyinaabwe nga ye Kazzereruponi.
4Penueri nʼazaala Gedoli, ne Ezeri nʼazaala Kusa.
4Bano be baali abazzukulu ba Kuuli, ngʼomuzzukulu omukulu mu luggya ye Efulaasa, omukulembeze wa Besirekemu.
5Asukuli nʼazaala Tekowa eyalina abakyala babiri omu nga ye Keera omulala nga ye Naala.
5
6Naala nʼamuzaalira Akuzzamu, ne Keferi, ne Temeni ne Kaakusutali; era abo be baali abaana ba Naala.
6
7Keera nʼamuzaalira
7Zeresi, ne Izukali, ne Esumani
8ne Kakkozi eyali kitaawe wa Anubu, ne Zobeba, ate nʼaba jjajja wʼennyumba ya Akalukeri mutabani wa Kalumu.
9Yabezi yali wa kitiibwa okusinga baganda be, ne nnyina nʼamutuuma erinnya Yabezi amakulu nti, “Namuzaalira mu bulumi.”
10Yabezi nʼakoowoola Katonda wa Isirayiri ngʼagamba nti, “Ompeere ddala omukisa, ogaziye ensalo yange! Omukono gwo gubeere wamu nange, gunkuume obutagwa mu kabi konna, nneme okulumwa mu mutima.” Katonda nʼaddamu okusaba kwe.
11Kerubu muganda wa Suwa, nʼazaala Mekiri, ate nga kitaawe wa Esutoni.
12Esutoni nʼazaala Besulafa, ne Paseya, ne Tekina eyali omukulembeze wa Irunakasi. Bano be basajja abʼe Leka.
12
13Batabani ba Kenazi baali Batabani ba Osuniyeri baali Kasasi ne Myonosaayi.
13Osuniyeri ne Seraya.
14Myonosaayi nʼazaala Ofula.
14Ate Seraya nʼazaala Yowaabu, ne Yowaabu ye yali jjajja wa Gekalasimu abaalinga abaweesi.
15Batabani ba Kolebu mutabani wa Yefune baali Ne Era nʼazaala Kenazi.
15Iru, ne Era ne Naamu.
16Batabani ba Yekaleeri baali
16Zifu, ne Zifa, ne Tiriya ne Asaleri.
17Batabani ba Ezula baali
17Yeseri, ne Meredi, ne Eferi, ne Yaloni. Omu ku bakyala ba Meredi ye yali Bisiya muwala wa Falaawo, era nʼamuzaalira Miryamu, ne Sammayi, ne Isuba eyazaala Esutemoa.
18Omukyala we Omuyudaaya yamuzaalira Yeredi kitaawe wa Gedoli, ne Keberi kitaawe wa Soko, ne Yekusyeri kitaawe wa Zanona.
18
19Kodiya nʼazaala abaana mu mwannyina wa Nakamu
19era be baali ekika kya Keyira Omugalumi ne Esutemoa Omumaakasi.
20Batabani ba Simoni baali Nʼabʼennyumba ya Isi baali Zokesi ne Benizokesi.
20Amunoni, ne Linna, ne Benikanani, ne Tironi.
21Batabani ba Seera mutabani wa Yuda baali
21Eri eyazaala Leka, kitaawe wa Malesa, ate era jjajja wʼebika byʼabo abaalukanga linena e Besiyasubeya,
22Yokimu ye yali jjajja wʼabasajja abʼe Kozeba, ne Yowaasi ne Salafu abaafuganga Mowaabu ne Yasubirekemu. (Ebigambo bino bya mu biseera bya dda).
23Abo be baali ababumbi bʼensuwa abaabeeranga e Netayimu nʼe Gedera, era baabeeranga mu lubiri lwa kabaka nga bamukolera.
23
24Batabani ba Simyoni baali
24Nemweri, ne Yanini, ne Yalibu, ne Zeera ne Sawuli.
25Mutabani wa Sawuli yali Sallumu, ne bazzukulu be nga be Mibusamu ne Misuma.
25
26Mutabani wa Misuma yali
26Kammweri, eyazaala Zakkuli, nga ate jjajja wa Simeeyi.
27Simeeyi yalina abaana aboobulenzi kumi na mukaaga nʼaboobuwala mukaaga, naye baganda be tebalina baana bangi, ekika kyabwe kyekyava tekyala nnyo ngʼekya Yuda.
28ⓥ Babeeranga mu Beeruseba, ne Molada, ne Kezalusuwala,
29ne Biruka, ne Ezemu, ne Toladi,
30ne Besweri, ne Koluma, ne Zikulagi,
31ne Besumalukabosi, ne Kozalususimu, ne Besubiri ne Saalayimu. Bino byali bibuga byabwe okutuusa Dawudi lwe yalya obwakabaka.
32Ebyalo byabwe ebirala byali Etamu, ne Ayini, ne Limmoni, ne Tokeni ne Asani, byonna awamu byʼebitaano,
33nʼebyalo ebirala byonna ebyali byʼetoolodde ebibuga ebyo okutuukira ddala e Baali. Eyo gye baasenga era ne bakuuma ebyafaayo byʼobujjajjabwe.
34Mesobabu, ne Yamulaki, ne Yosa mutabani wa Amonya;
35ne Yoweeri, ne Yeeku mutabani wa Yosibiya, muzzukulu wa Seraya, muzzukulu wa Asyeri.
36Eriwenayi, ne Yaakoba, ne Yesokaya, ne Asaya, ne Adyeri, ne Yesimyeri, ne Benaya,
37ne Ziza mutabani wa Sifi muzzukulu wa Alooni, muzzukulu wa Yedaya, muzzukulu wa Simuli, muzzukulu wa Semaaya.
38Abo aboogeddwako baali bakulu ba bika byabwe, era nʼennyumba zaabwe ne zeeyongera nnyo.
39Be basenguka okwolekera omulyango gwa Gedoli ekiri ku luuyi olwʼebuvanjuba lwʼekiwonvu, nga banoonya awʼokulundira ebisibo byabwe.
40Baalaba omuddo omugimu omulungi, nʼensi yali ngazi, ngʼerimu emirembe era nga nteefu. Bazzukulu ba Kaamu be baaberangamu edda.
41Abasajja abo aboogeddwako baaliwo mu mirembe gya Keezeekiya kabaka wa Yuda, era baalumba eweema za bazzukulu ba Kaamu nʼAbamewuni abaabeeranga omwo ne babazikiririza ddala, obutalekaawo muntu nʼomu wadde ekintu kyonna. Ne babeeranga omwo kubanga waaliyo omuddo ogwʼokuwa ebisibo byabwe.
42Awo abamu ku batabani ba Simyoni, abasajja enkumi ttaano nga bakulembeddwamu Peratiya, ne Neyaliya, ne Lefaya ne Wuziyeeri batabani ba Isi ne balumba Seyiri ensi eyʼensozi.