1 Ebyomumirembe 5:1-26 LGCB2014 - Bible AI

1 Batabani ba Lewubeeni, mutabani omukulu owa Isirayiri, ye yali omubereberye, naye nayonoona obufumbo bwa kitaawe, obusika bwe ngʼomuggulanda ne buweebwa batabani ba Yusufu mutabani wa Isirayiri, kyeyava tabalirwa mu byafaayo ngʼomubereberye.

2 Yuda yali wʼamaanyi okusinga baganda be, era mu ye mwe mwava kabaka owʼeggwanga lya Isirayiri, wabula ebyobusika ebyʼobuggulanda byali bya mutabani wa Yusufu omukulu.

3Batabani ba Lewubeeni, mutabani omukulu owa Isirayiri baali

3Kanoki, ne Palu, ne Kezulooni ne Kalumi.

4Abʼenda ya Yoweeri baali ne Simeeyi muzzukulu we.

4Semaaya mutabani we, ne Gogi muzzukulu we,

5Mikka yali mutabani wa Simeeyi,

5ne Leyaya nʼaba muzzukulu we, ne Baali nʼaba muzzukulu we.

6 Mutabani wa Baali yali Beera, omukulu wʼekika kyʼAbalewubeeni, Tirugazupiruneseri kabaka wʼe Busuuli gwe yatwala mu buwaŋŋanguse.

6

7Baganda be ngʼenda zaabwe bwe zaali be bano:

7Yeyeri omukulu wʼekika, Zekkaliya,

8Bera mutabani wa Azozi, muzzukulu wa Sema, muzzukulu wa Yoweeri, era be baasenga mu Aloweri okutuuka e Nebo ne Baalumyoni.

9Ate baasenga nʼebuvanjuba wʼeddungu okutuukira ddala ku mugga Fulaati, kubanga amagana gaabwe gaali gaaze nnyo.

9

10Awo ku mirembe gya Sawulo ne balumba Abakaguli, era Abakaguli ne bagwa mu mikono gyabwe, era bali ne beegazaanyiza mu nsi yʼAbakaguli okutuukira ddala ku luuyi olwʼebuvanjuba olwʼe Gireyaadi.

10

11 Bazzukulu ba Gaadi baabeeranga okuliraana Basani okwolekera Saleka.

11

12Yoweeri ye yali omukulembeze, ne Safamu nga ye mumyuka we, ate ne wabaawo ne Yanayi ne Safati mu Basani.

12

13Baganda baabwe mu nda zʼabajjajjaabwe bwe baali

13Mikayiri, ne Mesullamu, ne Seeba, ne Yolayi, ne Yakani, ne Ziya, ne Eberi, bonna awamu musanvu.

14Bano be baali abʼomu nnyumba ya Abikayiri mutabani wa Kuuli, muzzukulu wa Yalowa, muzzukulu wa Gireyaadi, muzzukulu wa Mikayiri, muzzukulu wa Yesisayi, muzzukulu wa Yakudo, ne muzzukulu wa Buzi.

14

15Aki mutabani wa Abudyeri, muzzukulu wa Guni, omukulu wʼennyumba yaabwe.

15

16Baabeeranga mu Gireyaadi, mu Basani, ne mu bibuga byayo ebirala ne mu malundiro gʼe Saloni okutuuka ku nsalo yaayo.

17Bino byonna byawandiikibwa mu bitabo ebyafaayo mu mirembe gya Yosamu kabaka wa Yuda, ne Yerobowaamu kabaka wa Isirayiri.

18Abalewubeeni, nʼAbagaadi, nʼekitundu kyʼekika kya Manase baalina abasajja emitwalo ena mu enkumi nnya mu lusanvu mu nkaaga, abʼamaanyi era nga bazira mu kukwata engabo, ekitala, ne mu kukozesa obusaale, era nga batendeke mu kulwana.

19Ne balumba Abakaguli, ne Yetuli, ne Nafisi ne Nodabu.

20Olwʼokwesiga nʼokusaba Katonda okubabeera, baawangula Abakaguli mu lutalo.

21Baanyaga amagana gʼente, nʼeŋŋamira emitwalo etaano, nʼendiga emitwalo abiri mu etaano ne ndogoyi enkumi bbiri ate ne bawamba nʼabasajja emitwalo kkumi.

22Era bangi ku bo battibwa kubanga olutalo lwali lwa Katonda. Ne basenga eyo okutuusa lwe baawaŋŋangusibwa.

23Abantu abʼekitundu kyʼekika kya Manase baali bangi nnyo, era baasenga mu nsi eya Basani okutuuka ku Baalukerumooni, ne Seniri, ne ku lusozi Kerumooni.

24Bano be baali abakulu bʼennyumba zaabwe: Eferi, ne Isi, ne Eryeri, ne Azulyeri, ne Yeremiya, ne Kodaviya, ne Yakudyeri, abasajja abazira era abʼamaanyi, abettutumu, nga gyʼemitwe gyʼennyumba zaabwe.

25Naye ne bakola ebibi ebimenya ebiragiro bya Katonda wa bajjajjaabwe, ne bagoberera bakatonda baamawanga agʼomu nsi eyo, Katonda be yazikiririza mu maaso gaabwe.

26 Katonda wa Isirayiri kyeyava akubiriza omwoyo gwa Puli kabaka wʼe Bwasuli, eyayitibwanga Tigulasupireseri, nʼalumba Abalewubeeni, nʼAbagaadi nʼekitundu ekyali kisigaddewo ku Manase, nʼabawamba era nʼabatwala mu buwaŋŋanguse e Kala, nʼe Kaboli, nʼe Kaala ne ku mugga Gozani, gye bali nʼokutuusa leero.

le>