28ⓔ Batabani ba Samwiri baali nʼowokubiri nga ye Abiya.
28Yoweeri omuggulanda we,
29Bazzukulu ba Merali baali ne Simeeyi, ne Uzza,
29Makuli, ne Libuni,
30ne Simeeya, ne Kaggiya
30ne Asaya, ngʼomu ye kitaawe wʼomulala nga bwe baddiriŋŋana.
31Bano be basajja Dawudi be yalonda okukulira ebyʼennyimba mu nnyumba ya Mukama, essanduuko ngʼeteekeddwamu.
32Baaweererezanga mu nnyimba mu maaso gʼekuŋŋaaniro eyʼEweema eyʼOkusisikanirangamu, okutuusa Sulemaani lwe yazimba yeekaalu ya Mukama mu Yerusaalemi. Era bakolanga emirimu gyabwe, nga bagoberera ebiragiro ebyabaweebwa.
33Bano be basajja abaaweerezanga, wamu ne batabani baabwe: Okuva mu Abakokasi; Kemani, omuyimbi, mutabani wa Yoweeri, muzzukulu wa Samwiri,
34muzzukulu wa Erukaana, muzzukulu wa Yerokamu,
34muzzukulu wa Eriyeri, muzzukulu wa Toowa,
35muzzukulu wa Zufu, muzzukulu wa Erukaana,
35muzzukulu wa Makasi, muzzukulu wa Amasayi;
36muzzukulu wa Erukaana, muzzukulu wa Yoweeri,
36muzzukulu wa Azaliya, muzzukulu wa Zeffaniya,
37muzzukulu wa Takasi, muzzukulu wa Assiri,
37muzzukulu wa Ebiyasaafu, muzzukulu wa Koola,
38muzzukulu wa Izukali, muzzukulu wa Kokasi,
38muzzukulu wa Leevi, mutabani wa Isirayiri.
39Kemani yalina muganda we Asafu eyamuyambangako mu mulimu ogwo, era nʼabʼenju ye baali bwe bati:
39Asafu mutabani wa Berekiya, muzzukulu wa Simeeya,
40muzzukulu wa Mikayiri, muzzukulu wa Baaseya,
40muzzukulu wa Malukiya,
41muzzukulu wa Esuni,
41muzzukulu wa Zeera, muzzukulu wa Adaaya,
42muzzukulu wa Esani, muzzukulu wa Zimma,
42muzzukulu wa Simeeyi,
43muzzukulu wa Yakasi,
43muzzukulu wa Gerusoni, mutabani wa Leevi.
44Ne baganda be abalala abaamuyambangako baali abazzukulu ba Merali, mutabani wa Leevi, muzzukulu wa Malluki,
44Esani mutabani wa Kiisi, muzzukulu wa Abudi,
45muzzukulu wa Kasukabiya,
45muzzukulu wa Amaziya, muzzukulu wa Kirukiya, muzzukulu wa Amaziya,
46muzzukulu wa Amuzi, muzzukulu wa Bani,
46muzzukulu wa Semeri,
47muzzukulu wa Makuli, mutabani wa Leevi.
47muzzukulu wa Musi, muzzukulu wa Merali,
48Baganda baabwe Abaleevi baavunaanyizibwanga okukola emirimu gyonna egyʼomu Weema, ye Nnyumba ya Katonda.
49Naye Alooni ne batabani be ne bazzukulu be, be baawangayo ku kyoto ebiweebwayo ebyokebwa ne ku kyoto ekyʼokwoterezangako obubaane olwʼebyo byonna ebyakolebwanga mu Kifo ekisinga Obutukuvu, olwʼokutangirira Isirayiri, nga Musa, omuddu wa Katonda bwe yalagira.
50Bano be baava mu nda ya Alooni: mutabani we Eriyazaali, muzzukulu we Finekaasi, muzzukulu we Abisuwa,
51muzzukulu we Bukki,
51muzzukulu we Uzzi, muzzukulu we Zerakiya,
52muzzukulu we Merayoosi, muzzukulu we Amaliya,
52muzzukulu we Akitubu,
53muzzukulu we Zadooki,
53ne muzzukulu we Akimaazi.
54Bino byʼebifo ebyabaweebwa okutuulamu ngʼensi yaabwe era bino bye byali biweereddwa bazzukulu ba Alooni Abakokasi, kubanga be baasooka okufuna omugabo.
55Baaweebwa Kebbulooni mu nsi ya Yuda, nʼamalundiro agakyetoolodde,
56ⓕ naye ennimiro nʼebyalo ebyetoolodde ekibuga ekyo, byaweebwa Kalebu mutabani wa Yefune.
59Asani nʼamalundiro gaakyo, ne Besusemesi nʼamalundiro gaakyo.
60Ate nʼokuva eri ekika kya Benyamini baaweebwa Geba, Allemesi, ne Anasosi wamu nʼamalundiro gaabyo. Ebibuga byonna awamu ebyaweebwa Abakokasi byali kkumi na bisatu.
61Bazzukulu ba Kokasi abalala baweebwa ebibuga kkumi okuva ku nda ezʼekitundu kyʼekika kya Manase nga bakuba akalulu.
62Bazzukulu ba Gerusoni, ngʼenda zaabwe bwe zaali, baaweebwa ebibuga kkumi na bisatu okuva ku bika bya Isakaali, Aseri, Nafutaali, nʼokuva ku kika kya Manase mu Basani.
63Bazzukulu ba Merali ngʼenda zaabwe bwe zaali, baaweebwa ebibuga kkumi na bibiri okuva ku bika bya Lewubeeni, Gaadi ne Zebbulooni.
64Awo Abayisirayiri ne bawa Abaleevi ebibuga ebyo ne babaweerako nʼamalundiro byabyo.
65Nʼebibuga okuva mu bika bya Yuda, ne Simyoni ne Benyamini ebyogeddwako byabaweebwa nga bakuba akalulu.
66Enda ezimu eza Kokasi zaaweebwa ebibuga okuva eri ensi yʼekika kya Efulayimu.
67Okuva eri ensi ya Efulayimu baaweebwa Sekemu, ekibuga kyʼobuddukiro, Gezeri,
68ne Yokumyamu, ne Besukolooni,
69ne Ayalooni ne Gasulimmoni, nʼamalundiro gaabyo.
70Nʼokuva eri ekitundu kyʼekika kya Manase, Abayisirayiri ne babagabira Aneri ne Biryamu, wamu nʼamalundiro byako eri enda ezaali zisigaddewo eza Kokasi.
71Abagerusomu baaweebwa ebifo bino wansi: okuva eri ekitundu kyʼekika kya Manase baafuna Golani mu Basani ne Asutoleesi, wamu nʼamalundiro byako.
72Okuva eri ekika kya Isakaali
72baafuna Kedesi, Daberasi
73Lamosi ne Anemu wamu nʼamalundiro gaabyo (byako);
73
74okuva eri ekika kya Aseri,
74baafuna Masali, Abudoni,
75Kukoki ne Lekobu wamu nʼamalundiro gaabyo;
75
76nʼokuva eri ekika kya Nafutaali
76baafuna Kedesi ekyʼomu Ggaliraaya, ne Kammoni ne Kiriyasayimu wamu nʼamalundiro byako.
77Abaleevi abaali basigaddewo, be bazzukulu ba Merali, baaweebwa ebifo bino wansi: Limunono ne Taboli wamu nʼamalundiro byabyo;
77okuva eri ekika kya Zebbulooni baafuna
78okuva eri ekika kya Lewubeeni, emitala wa Yoludaani ku luuyi olwʼebuvanjuba lwʼe Yeriko, baafuna