1 Ebyomumirembe 7:1-40 LGCB2014 - Bible AI

1 Abaana ba Isakaali baali bana: Tola, ne Puwa, ne Yasubu, ne Simuloni.

2 Batabani ba Tola baali

2Uzzi, Lefaya, Yeryeri, Yamayi, Ibusamu ne Semweri, era be baali abakulu bʼenda zaabwe. Ku mulembe gwa Dawudi, bazzukulu ba Tola baali abasajja abalwanyi nga bawera emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu lukaaga.

3Uzzi nʼazaala Izulakiya nʼazaala Mikayiri, ne Obadiya, ne Yoweeri ne Issiya, era bonna baali bakulu.

3Izulakiya.

4Okusinziira ku nda yaabwe, baali basajja bʼamaanyi era nga balwanyi ba ntalo, nga balina abakyala nʼabaana bangi, nga bawera abasajja emitwalo esatu mu kakaaga.

4

5Baganda baabwe bonna awamu abaali abʼekika kya Isakaali baali abasajja abalwanyi emitwalo munaana mu kasanvu bonna awamu.

5

6 Benyamini yalina abatabani basatu,

6Bera, ne Bekeri ne Yediyayeri.

7Batabani ba Bera baali

7Ezuboni, ne Uzzi, ne Wuziyeeri, ne Yerimosi ne Iri, be baana bataano, ate nga bonna bakulu bʼenda zaabwe. Mu kubalibwa baali abasajja abalwanyi emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu amakumi asatu mu bana.

8Batabani ba Bekeri baali

8Zemira, ne Yowaasi, ne Eryeza, ne Eriwenayi, ne Omuli, ne Yeremosi, ne Abiya, ne Anasosi ne Alemesi. Bano be baali abaana ba Bekeri ate nga bonna bakulu bʼenda zaabwe.

9Mu kubalibwa baali abasajja abalwanyi emitwalo ebiri mu ebikumi bibiri mu bibiri.

9

10Mutabani wa Yediyayeri, ate batabani ba Birukani nga be ba Yewusi, ne Benyamini, ne Ekudi, ne Kenaana, ne Zesani, ne Talusiisi ne Akisakali.

10yali Birukani,

11Bano bonna baali bazzukulu ba Yediyayeri ate nga be bakulu bʼenda zaabwe. Era baali abasajja abalwanyi omutwalo gumu mu kasanvu mu ebikumi bibiri.

11

12Abasuppimu nʼAbakuppimu baali bazzukulu ba Iri, ate ngʼAbakusimu bazzukulu ba Akeri.

12

13 Batabani ba Nafutaali baali

13Yaziyeri, ne Guni, ne Yazeri ne Sallumu, era bano be bazzukulu ba Biruka.

14 Bano be baali bazzukulu ba Manase:

14Asuliyeri ne Makiri mukyala we Omwalamu. Be yamuzaalira. Makiri nʼazaala Gireyaadi.

15Makiri nʼawasa okuva mu Bakuppimu nʼAbasuppimu, nʼerinnya lya mwannyina nga ye Maaka.

15Omuzzukulu omulala yali Zerofekadi, era ngʼalina baana ba buwala bokka.

16Maaka mukyala wa Makiri nʼazaala omwana wa bulenzi nʼamutuuma Peresi. Muganda we ye yali Seresi, nga ne batabani ba Seresi be ba Ulamu ne Lekemu.

16

17 Mutabani wa Ulamu yali era bano nga be batabani ba Gireyaadi, mutabani wa Makiri, mutabani wa Manase.

17Bedani,

18Mwannyina Kammolekisi nʼazaala Isukondi, ne Abiezeri ne Makula.

18

19Batabani ba Semida baali

19Akyani, ne Sekemu, ne Liki ne Aniyamu.

20 Mutabani wa Efulayimu yali mutabani wa Takasi nga ye Ereyadda, mutabani wa Ereyadda nga ye Takasi,

20Susera, mutabani wa Susera nga ye Beredi, mutabani wa Beredi nga ye Takasi,

21mutabani wa Takasi nga ye Zabadi, Efulayimu yalina batabani be abalala babiri, nga be ba Ezeri ne Ereyaddi abattibwa mu nsi ya Gusi nga bagenze okubba (okunyaga) ente.

21ate mutabani wa Zabadi nga ye Susera.

22Efulayimu nʼabakungubagira okumala ennaku nnyingi, era baganda be ne bajja okumukungubagirako.

23Awo Efulayimu nʼamanya mukyala we, mukyala we nʼazaala omwana owoobulenzi omulala, nʼamutuuma Beriya kubanga ennyumba ye yatuukibwako emitawaana.

24 Ne muwala we yali Sera, era oyo yazimba Besukoloni ekya ekyʼemmanga nʼekyʼengulu, ne Uzzemmuseera.

24

25Efulayimu yalinayo nʼomutabani omulala erinnya lye Leefa, nga ye kitaawe wa Lesefu,

25Lesefu nʼazaala Teera, Teera nʼazaala Takani,

26Takani nʼazaala Ladani, Ladani nʼazaala Ammikudi,

26Ladani nʼazaala Erisaama,

27 Erisaama nʼazaala Nuuni,

27Nuuni nʼazaala Yoswa.

28 Ettaka lyabwe nʼebifo we baasenga byali Beseri nʼobubuga obutono obukyetoolodde, ebuvanjuba wʼe Naalani, ebugwanjuba wʼe Gezeri, nʼobubuga bwakyo, nʼe Sekemu nʼobubuga bwakyo, okutuukira ddala ku Azza nʼobubuga obukyetoolodde.

29 Bazzukulu ba Yusufu, Abamanase, mutabani wa Isirayiri babeeranga Besuseyani, nʼe Taanaki, nʼe Megiddo, nʼe Doli nʼobubuga obwali bubiriranye.

30Abaana ba Aseri baali Imuna, ne Isuva, ne Isuvi, ne Beriya, ne Seera mwannyinaabwe.

31Batabani ba Beriya baali

31Keberi ne Malukiyeeri, ne Malukiyeeri nga ye kitaawe wa Biruzayisi.

32Keberi nʼazaala Yafuleti, ne Somera, ne Kosamu ne mwannyinaabwe Suwa.

32

33Batabani ba Yafuleti baali

33Pasaki, ne Bimukali, ne Asuvasi.

34Batabani ba Semeri baali

34Aki, ne Loga, ne Yekubba ne Alamu.

35Batabani ba muganda we Keremu baali Zofa, ne Imuna, ne Seresi ne Amali.

35

36Batabani ba Zofa baali

36Suwa, ne Kaluneferi, ne Swali, ne Beri, ne Imula,

37ne Bezeri, ne Kodi, ne Samma, ne Sirusa, ne Isulani ne Beera.

37

38Batabani ba Yeseri baali

38Yefune, ne Pisupa ne Ala.

39Batabani ba Ulla baali

39Ala, ne Kanyeri ne Liziya.

40Bano bonna baali bazzukulu ba Aseri, abamu nga bakulu ba nda zaabwe abalala nga basajja baakitiibwa, nʼabalala nga balwanyi abazira, nʼabalala nga baami bakulu ddala mu bitiibwa byabwe. Abasajja abalwanyi bonna awamu bawera emitwalo ebiri mu kakaaga.

le>