1 Ebyomumirembe 8:1-40 LGCB2014 - Bible AI

1 Benyamini nʼazaala Bera, era oyo ye yali omubereberye, Asuberi nga ye wookubiri, Akala nga ye wookusatu;

2Noka nga wakuna, ne Lafa nga ye wookutaano.

2

3Batabani ba Bera baali

3Addali, ne Gera, ne Abikudi,

4ne Abisuwa, ne Naamani, ne Akowa

5ne Gera, ne Sefufani ne Kulamu.

5

6Bazzukulu ba Ekudi mutabani wa Gera baali bakulu bʼenda zʼabo abaabeeranga mu Geba nga baabatwala e Manakasi nga basibe era be bano:

6

7Naamani, ne Akiya, ne Gera eyabakulembera nga bagenda mu buwaŋŋanguse, ate nga ye kitaawe wa Uzza ne Akikudi.

7

8Sakalayimu nʼazaala abaana abalala mu nsi yʼe Mowaabu, ngʼamaze okugoba abakyala be ababiri, Kusimu ne Baala.

9Kodesi yamuzaalira Yokabu, ne Zibiya, ne Mesa, ne Malukamu,

10ne Yewuzi, ne Sakiya, ne Miruma, era bano be baali abakulu bʼenda za bajjajjaabwe.

11Kusimu yamuzaalira Abitubu ne Erupaali.

11

12 Batabani ba Erupaali baali

12Eberi, ne Misamu, ne Semedi, eyazimba Ono ne Loodi nʼebibuga ebibyetoolodde,

13Beriya, ne Sema abakulu bʼenda zʼabo abaabeeranga e Ayalooni, era be baagoba abaabeeranga mu Gaasi.

13

14Abaana abalala baali Akiyo, ne Sasaki, ne Yeremosi,

15ne Zebadiya, ne Aladi, ne Ederi

16ne Mikayiri, ne Isupa, ne Yoka,

16

17ne Zebadiya, ne Mesullamu, ne Kizuki, ne Keberi,

18ne Isumerayi, ne Izuliya, ne Yobabu.

18

19Batabani ba Simeeyi baali Yakimu, ne Zikuli, ne Zabudi,

20ne Eryenayi, ne Ziresayi, ne Eryeri,

21ne Adaaya, ne Beraya, ne Simulasi.

21

22Batabani ba Sasaki baali Isupani, ne Eberi, ne Eryeri,

23ne Abudoni, ne Zikuli, ne Kanani,

24ne Kananiya, ne Eramu, ne Anusosiya,

25Sasaki ne Ifudeya ne Penueri.

25

26Batabani ba Yerokamu baali Samuserayi, ne Sekaliya, ne Asaliya,

27ne Yaalesiya, ne Eriya, ne Zikuli.

28Bano wammanga be baali abakulu bʼenda, abaami, nga bwe bayogerwako mu nnyiriri zaabwe, era baabeeranga mu Yerusaalemi.

29 Yeyeri omukulembeze we Gibyoni yabeeranga Gibyoni, ne mukyala we ye yali Maaka.

30Mutabani we omuggulanda yali Abudoni, ne Zuuli nʼamuddirira, ne Kiisi nʼamuddako, ne Baali, ne Nadabu,

31ne Gedoli, ne Akiyo, ne Zekeeri

32ne Mikuloosi nʼazaala Simeeya. Nabo baabeeranga kumpi ne baganda baabwe mu Yerusaalemi.

32

33Neeri nʼazaala Kiisi, ne Kiisi nʼazaala Sawulo, ne Sawulo nʼazaala Yonasaani, ne Malukisuwa, ne Abinadabu ne Esubaali.

33

34 Mutabani wa Yonasaani yali

34Meribubaali, ye Mefibosesi, eyazaala Mikka.

35Batabani ba Mikka baali

35Pisoni, ne Mereki, ne Taleya ne Akazi.

36Akazi nʼazaala Yekoyaada, Yekoyaada nʼazaala Alemesi, ne Azumavesi, ne Zimuli, ne Zimuli nʼazaala Moza.

37Moza nʼazaala Bineya, Bineya nʼazaala Lafa, ne Ereyasa ne Azeri.

37

38Azeri yazaala abaana aboobulenzi mukaaga, nga be ba

38Azulikamu, ne Bokeru, ne Isimaeri, ne Seyaliya, ne Obadiya ne Kanani.

39Batabani ba muganda we Eseki baali

39Ulamu omubereberye, ne Yewusi nga ye owookubiri ne Erifereti nga ye wookusatu.

40Batabani ba Ulamu baali basajja bazira era nga bʼamaanyi, nga balasi ba busaale, nga nʼabaana nʼabazzukulu bangi ddala.

40Bonna awamu baali kikumi mu ataano. Abo bonna baali bazzukulu ba Benyamini.

le>