1 Ebyomumirembe 9:1-44 LGCB2014 - Bible AI

1Eggwanga lyonna erya Isirayiri lyabalibwa ngʼokuzaalibwa kwabwe bwe kwali era ne bawandiikibwa mu kitabo kyʼebyafaayo bya bassekabaka ba Isirayiri. Olwʼokukola ebibi[4] mu maaso ga Mukama, abantu ba Yuda nabo baatwalibwa mu buwaŋŋanguse.

2 Abaasooka okubeera ewaabwe mu bibuga byabwe be baali Abayisirayiri abamu, ne bakabona, nʼAbaleevi, nʼabalala abaaweerezanga mu yeekaalu.

3Abamu ku abo abaabeeranga mu Yerusaalemi nga bava mu Yuda, ne Benyamini, ne Efulayimu ne Manase baali:

4 Usayi mutabani wa Ammikudi, muzzukulu wa Omuli, muzzukulu wa Imuli, muzzukulu wa Bani, muzzukulu wa Pereezi, mutabani wa Yuda.

5Ku Basiiro,

5Asaya omuggulanda mu nnyumba ye, wamu ne batabani be;

6Ku bazzukulu ba Zeera,

6Yeweri nʼabʼomu kika kye okuva mu Yuda abantu lukaaga mu kyenda.

7Ku bazzukulu ba Benyamini,

7Sallu mutabani wa Mesullamu, muzzukulu wa Kodaviya, muzzukulu wa Kassenuwa,

8ne Ibuneya mutabani wa Yerokamu, ne Era mutabani wa Uzzi, muzzukulu wa Mikuli, ne Mesullamu mutabani wa Sefatiya, muzzukulu wa Leweri, muzzukulu wa Ibuniya.

8

9Abantu bʼomu kika kya Benyamini, baali bawera lwenda mu ataano mu mukaaga, ate nga bonna bakulu ba nda zaabwe.

9

10Ku bakabona abaakomawo kwaliko

10Yedaya, ne Yekoyalibu, ne Yakini,

11ne Azaliya mutabani wa Kirukiya, muzzukulu wa Mesullamu, muzzukulu wa Zadooki, muzzukulu wa Merayoosi, muzzukulu wa Akituubu, omukulu eyavunaanyizibwanga ennyumba ya Katonda;

11

12ne Adaaya mutabani wa Yerokamu, muzzukulu wa Pasukuli, muzzukulu wa Malukiya, ne Maasayi mutabani wa Adyeri, muzzukulu wa Yazera, muzzukulu wa Mesullamu, muzzukulu wa Mesiremisi, muzzukulu wa Immeri.

12

13Bakabona abaali abakulu bʼenda zaabwe baali lukumi mu lusanvu mu nkaaga. Baali basajja babuvunaanyizibwa mu buweereza bwabwe mu nnyumba ya Katonda.

13

14Ku baleevi kwaliko

14Semaaya mutabani wa Kassubu, muzzukulu wa Azulikamu, muzzukulu wa Kasabiya, omu ku bʼenda ya Merali,

15ne Bakubakkali, ne Keresi, ne Galali ne Mattaniya mutabani wa Mikka, muzzukulu wa Zikuli, muzzukulu wa Asafu,

16 ne Obadiya mutabani wa Semaaya, muzzukulu wa Galali, muzzukulu wa Yedusuni; ne Berekiya mutabani wa Asa, muzzukulu wa Erukaana, eyabeeranga mu byalo ebyʼAbanetofa.

16

17 Abaggazi ba wankaaki baali,

17Sallumu, ne Akabu, ne Talumoni, ne Akimani ne baganda baabwe abalala, era mukulu waabwe ye yali Sallumu;

18be bayimiriranga ku ludda olwʼebuvanjuba olwa wankaaki ya Kabaka, era gwe mulimu gwabwe nʼokutuusa leero. Abo be baali abaggazi abʼomu kika kyʼAbaleevi.

19Sallumu yali mutabani wa Koole, muzzukulu wa Ebiyasaafu, muzzukulu wa Koola, ne abʼomu nnyumba ya kitaawe be baavunaanyizibwanga okukuuma enzigi za yeekaalu nga bajjajjaabwe nabo bwe baavunaanyizibwanga omulyango gwʼekifo Mukama gyʼabeera.

20Finekaasi mutabani wa Eriyazaali ye yakuliranga abaggazi mu biro ebyʼedda, era Mukama nʼabeeranga wamu naye.

21Zekkaliya mutabani wa Meseremiya ye yali omuggazi ku mulyango gwʼEweema eyʼOkukuŋŋaanirangamu.

22 Bonna awamu, abaalondebwa okuba abaggazi bʼemiryango baali bibiri mu kkumi na babiri, era baali baawandiikibwa mu byalo byabwe ngʼokuzaalibwa kwabwe bwe kwali. Dawudi ne nnabbi Samwiri be bayawula emirimu gyʼabaggazi nga bwe gyali.

23Bo ne bazzukulu baabwe, be baavunaanyizibwanga okukuuma enzigi zʼennyumba ya Mukama, ennyumba eyayitibwanga Eweema.

24Abaggazi baabeeranga ku njuyi ennya, olwʼebuvanjuba, olwʼebugwanjuba, olwʼobukiikakkono, nʼolwobukiikaddyo,

25era baganda baabwe okuva mu byalo byabwe, bajjanga mu mpalo ne bakumanga okumala ebbanga kya nnaku musanvu.

26Abaggazi abana, abaali Abaleevi, be baaweebwa obuvunaanyizibwa okulabiriranga ebisenge ebyʼomunda nʼamawanika agʼomu nnyumba ya Katonda.

27Baasulanga okuliraana ne nnyumba ya Katonda kubanga be baagikuumanga, era nga buli nkya be bavunaanyizibwa okugiggalawo.

28Abamu ku bo baavunaanyizibwanga okukuuma ebintu ebyakozesebwanga mu kuweereza mu yeekaalu, era nga be babala ennyingiza yaabyo ne nfulumya yaabyo.

29Abalala baavunaanyizibwanga okulabirira ebikozesebwa mu mirimu nʼebintu byonna ebyʼomu watukuvu, era nga be bavunaanyizibwa okulabirira obutta obulungi, nʼomwenge, nʼamafuta, nʼomugavu, nʼebyakaloosa.

30Wabula abamu ku bakabona baategekanga byakaloosa.

31Mattisiya mutabani wa Sallumu Omukoola, ate nga yʼomu ku Baleevi, ye yavunaanyizibwanga okufumba emigaati gyʼebiweebwayo,

32 era abamu ku baganda bʼAbakokasi baavunaanyizibwanga okussanga emigaati egya buli ssabbiiti ku mmeeza.

33Abayimbi, abakulu bʼekika kyʼAbaleevi baasulanga mu bisenge ebyʼomunda wa Yeekaalu, era nga tebakola mulimu mulala gwonna emisana nʼekiro okuggyako ogwo ogwabwe omutongole.

34Abo bonna baali bakulu bʼenda ezʼAbaleevi, nga bwe baawandiikibwa mu kuzaalibwa kwabwe, era baabeeranga mu Yerusaalemi.

35Yeyeeri kitaawe wa Gibyoni era yatulanga mu Gibyoni, nʼerinnya lya mukyala we nga ye Maaka,

36ne mutabani waabwe omuggulanda yali Abudoni, Zuuli nʼamuddirira, Kiisi nʼaddako, Baali nʼaddako, Neeri nʼaddako, Nadabu nʼaddako,

37ne Gedoli nʼaddako, Akiyo nʼaddako, Zekkaliya nʼaddako, Mikuloosi nʼasembayo.

38Mikuloosi yazaala Simyamu, era nabo baabeeranga kumpi ne baganda baabwe mu Yerusaalemi.

38

39Neeri nʼazaala Kiisi, Kiisi nʼazaala Sawulo. Sawulo nʼazaala Yonasaani, ne Malukisuwa, ne Abinadabu ne Esubaali.

39

40Mutabani wa Yonasaani ye yali

40Meribubaali, ne Meribubaali nʼazaala Mikka.

41 Batabani ba Mikka baali

41Pisoni, ne Mereki, ne Taleya ne Akazi.

42Akazi nʼazaala Yala, Yala nʼazaala Alemesi, ne Azumavesi ne Zimuli, ate Zimuli nʼazaala Moza.

43Moza nʼazaala Bineya, Bineya nʼazaala Lefaya, Lefaya nʼazaala Ereyaasa, Ereyaasa nʼazaala Azeri.

43

44Azeri yalina batabani be mukaaga, era gano ge gaali amannya gaabwe:

44Azulikamu, ne Bokeru, ne Isimayiri, ne Seyaliya, ne Obadiya, ne Kanani.

le>