1Nze Peetero omutume wa Yesu Kristo, mpandiikira abalonde ba Katonda, abaasaasaanira mu Ponto, ne mu Ggalatiya ne mu Kapadokiya, ne mu Asiya ne mu Bisuniya,
2Katonda Kitaffe be yasooka okumanya ne batukuzibwa Omwoyo olwʼokugondere Yesu Kristo, era ne balongoosebwa nʼomusaayi ggwe, ogwabamansirwako.
3Katonda Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo atenderezebwe. Olwʼokusaasira kwe okungi twazaalibwa mu bulamu obulina essuubi omulundi ogwokubiri, olwʼokuzuukira kwa Yesu Kristo mu bafu.
4Bwʼatyo nʼatusuubiza omugabo mu busika, ogwʼolubeerera ogutakyusa langi era ogutafuma, gwʼatuterekedde mu ggulu.
5Era Katonda, mu buyinza bwe, alibakuuma olwʼokukkiriza kwammwe, nʼabatuusa mu bulokozi obwateekebwateekebwa okubikkulirwa mu biro ebyʼenkomerero.
6Ekyo, kijja kubasanyusa nnyo newaakubadde nga mujja kusanga ebizibu bya ngeri nnyingi okumala akaseera.
7Kubanga okugezesebwa kwʼokukkiriza kwammwe, kwa muwendo mungi nnyo okusinga zaabu egezebwa mu muliro nʼekakasibwa, kulyoke kusaanire ettendo nʼekitiibwa nʼokugulumizibwa ku lunaku luli Mukama waffe Yesu Kristo lwʼalirabikirako.
8Newaakubadde nga Yesu oyo temumulabangako, kyokka mumwagala, era ne kaakano temumulaba naye mumukkiriza ne mujjula essanyu eritayogerekeka ne mumugulumiza,
9era ekiva mu kukkiriza kwammwe kwe kulokolebwa kwʼemyoyo gyammwe.
10Bannabbi baafuba nga bwe baasobola okuvumbula era nʼokutegeera okulokolebwa kuno, ne bategeeza ebyʼomu maaso ku kisa kya Katonda kyʼagenda okubawa.
11Omwoyo wa Kristo ngʼali mu bo, yategeeza ebyʼomu maaso ku kubonaabona kwa Kristo era nʼekitiibwa ekiriddirira, ne bafuba okuvumbula omuntu gwe kirituukako nʼekiseera we kirituukira.
12Bannabbi bano Katonda yabalaga nti Ebyo tebabikola ku lwabwe, wabula ku lwammwe. Era kaakano Enjiri ebuuliddwa gye tuli ffenna. Yatubuulirwa mu maanyi ga Mwoyo Mutukuvu eyava mu ggulu. Bino byʼebintu ne bamalayika bye bayaayaanira okutegeera.
13Noolwekyo mwetegeke nga muli bateefu, nga mutadde emitima gyammwe ku kisa kya Katonda ekiribaweebwa, Yesu Kristo bwʼalirabika.
14Mugonderenga Katonda, kubanga muli baana be, muleme kufugibwa okwegomba kwammwe okubi okwʼedda, kwe mwatambulirangamu mu butamanya.
15Kale, nga Katonda eyabayita bwʼali omutukuvu, nammwe mubeerenga batukuvu mu byonna bye mukola.
16Nga bwe kyawandiikibwa nti,
17Mujjukire nti Kitammwe gwe musaba, asalira omusango buli muntu awatali kusaliriza, musaana mumusseemu ekitiibwa, nga mwetwala ngʼabagenyi ku nsi kuno.
18Kubanga mumanyi nti Mwanunulibwa mu mpisa zammwe embi ezaava ku bajjajjammwe. Temwanunulibwa na bintu ebiggwaawo nga ffeeza oba zaabu.
19Wabula mwanunulibwa nʼomusaayi gwa Kristo ogwʼomuwendo omungi ennyo, ogwʼomwana gwʼendiga ogutaliiko kamogo oba ebbala.
20Kristo yategekebwa dda nga nʼensi tennatondebwa, kyokka mu nnaku zino ezaakayita nʼalabisibwa ku lwammwe.
21Mu ye, mwe mwayita okukkiriza Katonda eyamuzuukiza mu bafu, nʼamuwa ekitiibwa, era okukkiriza kwammwe nʼokusuubira kwammwe kyebivudde binywerera ku Katonda.
22Kale kaakano nga bwe mumaze okutukuza emyoyo gyammwe olwʼokukkiriza amazima, ne mwagalanira ddala mu luganda lwennyini, mweyongere okwagalana nʼomutima ogutaliimu bukuusa.
23Kubanga okusinziira mu kigambo kya Katonda ekiramu era ekyʼolubeerera, mwazaalibwa omulundi ogwokubiri.
24Kubanga,
25