1Kale mukomye buli ngeri yonna eyʼettima, nʼobulimba bwonna, nʼobukuusa, nʼobuggya, nʼokwogera ekibi kwonna.
2Ngʼabaana abaakazaalibwa bwe beegomba amata, nammwe mwegombenga amata agʼomwoyo, muganywenga mukule era mulokolebwe,
3kubanga mwalega ku bulungi bwa Mukama.
4Mujje gyʼali kubanga ye lyʼejjinja eddamu, abantu lye baasuula nga balowooza nti Terigasa, kyokka eryalondebwa Katonda era eryʼomugaso omunene ennyo.
5Mujje gyʼali nga muli ngʼamayinja amalamu, muzimbibwemu ennyumba eyʼomwoyo. Mulyoke mube bakabona be abaweereza ssaddaaka eyʼomwoyo, esiimibwa Katonda mu Yesu Kristo Mukama waffe.
6Kubanga ekyawandiikibwa kigamba nti,
7Ejjinja eryo lya muwendo mungi nnyo eri mmwe abakkiriza, naye eri abatakkiriza
8Era
9
10Edda temwali ggwanga, naye kaakano muli ggwanga lya Katonda, era mwali temusaasirwa, naye kaakano Katonda abasaasidde.
11Abaagalwa, mutegeerere ddala nti Ku nsi kuno muli bayise. Kyenva mbeegayirira mwewale okwegomba kwʼomubiri, kubanga kulwanagana nʼomwoyo.
12Mukuumenga empisa zammwe ennungi, abo be mubeera nabo abatakkiriza, newaakubadde baboogerako nti Ebikolwa byammwe bibi, basobole okulaba ebirungi bye mukola, balyoke bagulumize Katonda ku lunaku lwʼalirabikirako.
13Ku lwa Mukama waffe, mugonderenga buli kiragiro kyʼabo abali mu buyinza, oba kabaka alina obufuzi obwʼoku ntikko,
14oba abafuzi abalala bʼatuma okubonerezanga abakola ebikolwa ebibi, era nʼokusiimanga abo abakola ebikolwa ebirungi.
15Kubanga Katonda asiima mukolenga ebirungi, mulyoke musirisenga abantu abasirusiru era abatalina kye bamanyi.
16Mubenga ba ddembe, kyokka nga temulyesigamya ku kukola bitasaana, wabula mulikozese ngʼabaweereza ba Katonda.
17Mussengamu abantu bonna ekitiibwa, mwagalenga nnyo abooluganda. Mutyenga Katonda. Mussengamu ekitiibwa abafuzi.
18Abaddu, mugonderenga bakama bammwe, nga mubassaamu ekitiibwa ekijjuvu, si abo bokka abalungi nʼabakwatampola naye nʼabo abakambwe.
19Kubanga kya mukisa omuntu bwʼabonyaabonyezebwa awatali nsonga, nʼagumiikiriza olwʼokutuukiriza ekyo Katonda kyʼayagala.
20Kale kitiibwa ki kye mufuna bwe mugumiikiriza mu kubonaabona olwʼokukola ekibi? Naye Katonda abasiima bwe mugumiikiriza nga mubonyaabonyezebwa olwʼokukola obulungi.
21Ekyo kye mwayitirwa kubanga ne Kristo yabonyaabonyezebwa ku lwammwe, nʼabalekera ekyokulabirako kye musaana okugoberera.
22
23Bwe yavumibwa, ye teyavuma. Era abaamubonyaabonya teyabeewerera, wabula yeewaayo eri Katonda alamula awatali kusaliriza.
24Yesu Kristo yennyini yeetikka ebibi byaffe mu mubiri gwe bwe yatufiirira ku musaalaba, naffe tulyoke tufe eri ekibi, tube abalamu eri obutuukirivu. Olwʼebiwundu bye, mwawonyezebwa.
25Kubanga mwali muwabye ngʼendiga, naye kaakano mukomezebbwaawo eri Omusumba era alabirira obulamu bwammwe.