1 Peetero 3:1-22 LGCB2014 - Bible AI

1Abakazi abafumbo, mu ngeri yʼemu muwulirenga babbammwe, bwe waba nga waliwo abatagondera kigambo kya Katonda, balyoke baleetebwe mu kukkiriza olwʼempisa zammwe ennungi ne bwe muba nga temuliiko kye mubagambye.

2Kubanga bajja kulaba empisa zammwe ennungi nga mubassaamu ekitiibwa.

3Okweyonja kwammwe kulemenga kuba kwa kungulu: nga mu misono gyʼenviiri nʼegyʼamajjolobera agʼebyo ebyambalwa mu bulago ne ku matu, nʼegyʼebyambalo.

4Naye kube kwa mu mutima munda; okweyonja okutayonooneka okwʼomwoyo omuwombeefu era omuteefu, era okwo kwe kwʼomuwendo ennyo mu maaso ga Katonda.

5Kubanga nʼabakazi abʼedda abatukuvu abaasuubiriranga mu Katonda, bwe batyo bwe beeyonjanga era nga bawulize eri babbaabwe.

6Saala bwʼatyo bwe yali; yawuliranga nnyo Ibulayimu, ngʼamussaamu ekitiibwa ngʼamuyita mukama we. Kale obanga mwagala okuba bawala ba Saala, mubenga ba mpisa nnungi, olwo tewaabengawo kibatiisa kyonna.

7Nammwe abasajja abafumbo, mutegeere nga bakazi bammwe banafu, noolwekyo mubakwatenga nʼobwegendereza. Era mubassengamu ekitiibwa nga mumanyi nga nabo Katonda alibaweera wamu nammwe, obulamu obutaggwaawo. Bwe munaakolanga bwe mutyo okusaba kwammwe tekuziyizibwenga.

8Ekyʼenkomerero, mwenna mubenga nʼemmeeme emu, buli omu alumirirwenga munne, era mwagalanenga ngʼabooluganda ddala, mubenga ba kisa era beetoowaze.

9Temuwooleranga ggwanga. Abavumye, mmwe temumuvumanga. Wabula mumusabirenga mukisa, kubanga ekyo kye mwayitirwa, mulyoke muweebwe omukisa.

10Kubanga ekyawandiikibwa kigamba nti,

10 “Ayagala okufuna obulamu nʼokubeera mu ddembe, aziyizenga olulimi lwe okwogera ekibi, nʼemimwa gye okwogera ebyobukuusa.

11Era yeewalenga okukola ebibi, akolenga ebirungi. Anoonyenga emirembe era atambulirenga mu gyo.

12Kubanga abatuukirivu Mukama abatunuulira nʼekisa, nʼamatu ge gawuliriza bye basaba. Kyokka aboonoonyi abatunuuliza bukambwe.”

13Bwe munaafubanga okukola ekituufu, ani anaabakolanga akabi?

14Naye era ne bwe munaabonyaabonyezebwanga olwʼobutuukirivu, mulina omukisa. “Temutya bye batya; temutekemuka.”

15Mutyenga Mukama waffe Kristo mu mitima gyammwe. Era bulijjo mubenga beetegefu okuddamu buli ababuuza okunnyonnyola essuubi lyammwe,

16era muddengamu nʼobuwombeefu, awamu nʼeggonjebwa. Mubenga ba mutima mulungi, abo ababavuma era ababoogerako ekibi olwʼempisa zammwe ennungi olwʼokuba nga muli ba Kristo, balyoke baswale.

17Okubonyaabonyezebwanga olwʼokukola obulungi, bwe kuba nga kwe kusiima kwa Katonda, kusinga okubonyaabonyezebwa olwʼokukola ekibi.

18Kubanga ddala Kristo yabonyaabonyezebwa olwʼebibi omulundi gumu, Omuntu Omutuukirivu ku lwʼabatali batuukirivu, alyoke abaleete eri Katonda bwe yattibwa mu mubiri, kyokka nʼabeera mulamu mu mwoyo.

19Era omwoyo gwe, gwe gwagenda okubuulira Enjiri emyoyo egyali mu kkomera.

20Egyo gyʼemyoyo egyʼabo edda abaagaana okuwulira Katonda ngʼakyabagumiikiriza, mu kiseera Nuuwa kye yazimbiramu eryato, abantu abatono, omunaana gwokka, mwe baawonyezebwa amazzi.

21Amazzi ago gaali kabonero akʼokubatizibwa mulyoke mulokolebwe kaakano. Kubanga okubatizibwa tekitegeeza kunaazibwako kko lya mubiri, wabula kitegeeza kwewaayo eri Katonda nga tumaliridde okukola byʼayagala, ngʼatuwadde omutima omulongoofu olwʼokuzuukira kwa Yesu Kristo,

22eyalinnya mu ggulu era atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, ngʼafuga bamalayika nʼaboobuyinza, nʼabaamaanyi abʼomu ggulu.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
iv>