1 Peetero 4:1-19 LGCB2014 - Bible AI

1Kale nga Kristo bwe yabonyaabonyezebwa mu mubiri, nammwe mumalirire okubonaabona nga ye. Kubanga abonaabona mu mubiri aba takyafugibwa kibi.

2Okuva kaakano nga muli mu nsi muno, mugoberere ebyo Katonda byʼayagala, so si kugoberera kwegomba kwammwe okwʼomubiri.

3Mu biseera ebyayita mwemaliranga mu kukola ebyo Abaamawanga bye beegombanga. Mwali mwemalidde mu bwenzi, mu kwegomba okubi, mu butamiivu, mu binyumu, mu bubaga obwʼomwenge, ne mu kusinza bakatonda abalala.

4Kaakano abo abatakkiriza Katonda beewuunya era babavuma bwe balaba nga temukyabeegattako mu ebyo bye bakola.

5Abantu abo baliwoza mu maaso ga Katonda. Kubanga yeeteeseteese okulamula abalamu nʼabafu ngʼasinziira ku ebyo bye baakola.

6Enjiri kyeyava ebuulirwa, nʼabafu balyoke basalirwe omusango ngʼabantu abalala bonna, kyokka babe balamu mu mwoyo nga Katonda bwʼali.

7Enkomerero ya byonna eneetera okutuuka. Noolwekyo mwetegeke era mwegenderezenga, era bulijjo musabenga Katonda.

8Nʼekisingira ddala obukulu mwagalanenga ddala mu mazima, kubanga okwagalana kubikka ebibi bingi.

9Musembezeganenga awatali kwemulugunya.

10Buli omu asaanidde okukozesa nʼobwesigwa buli kirabo Katonda kye yamuwa olwʼokugasa banne nabo balyoke bafune emikisa gya Katonda emingi gyʼagaba.

11Ayogera, ayogerenga ngʼatumiddwa Katonda; ayamba, akikolenga nʼamaanyi gonna Katonda gʼamuwadde; mu byonna Katonda alyoke agulumizibwenga mu Yesu Kristo, alina ekitiibwa nʼobuyinza emirembe nʼemirembe. Amiina.

12Abaagalwa, temwewuunya obulumi obwʼamaanyi bwe bubatuukako ngʼabatuukiddwako ekintu ekitali kya bulijjo.

13Kyokka musanyuke kubanga mugabanye ku kubonaabona kwa Kristo, mulyoke mujjule essanyu, ngʼekitiibwa kye kirabise.

14Mulina omukisa bwe muvumibwa olwʼerinnya lya Kristo kubanga Omwoyo owʼekitiibwa owa Katonda ali ku mmwe.

15Mu mmwe temusaana kubaamu mutemu, oba mubbi, oba omukozi wʼebibi, wadde eyeeyingiza mu byʼabalala. Kubanga buli abonyaabonyezebwa olwʼebyo taliiko kyʼagasibwa.

16Naye bwʼabonyaabonyezebwa olwʼokuba Omukristaayo aleme kukwatibwa nsonyi, wabula yeebazenga Katonda olwʼokuba owa Kristo.

17Kubanga ekiseera kituuse Katonda okulamula ngʼatandikira mu nnyumba ya Katonda. Obanga okulamula kutandikidde ku ffe, kale kiriba kitya ku abo abajeemera Enjiri ya Katonda?

18 “Era obanga kizibu omutuukirivu okulokolebwa, kale aboonoonyi nʼabatatya Katonda balikolebwa batya?”

19Noolwekyo abo ababonaabona olwʼokutuukiriza ekyo Katonda kyʼayagala, basaanidde okuwaayo obulamu bwabwe eri Katonda waabwe omwesigwa, bakole obulungi.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
iv>