1Noolwekyo mbulirira abakadde abali mu mmwe nze mukadde munnammwe, omujulirwa wʼokubonaabona kwa Kristo, era agabanira awamu ekitiibwa ekigenda okubikkulirwa.
2Mulundenga ekisibo kya Katonda ekiri mu mmwe, mukiriisenga nga mukirabirira nʼokwagala so si na kwemulugunya, nga mukolerera amagoba agʼobukuusa wabula olwʼokujjumbira Katonda.
3Be mukulembera temubakambuwaliranga wabula mubakulemberenga nga mubalaga ekyokulabirako ekirungi.
4Era Omusumba Omukulu bwʼalikomawo, muliweebwa engule eyʼekitiibwa ekitaliggwaawo.
5Mmwe abavubuka, mugonderenga abakulu. Muweerezeganenga mwekka na mwekka nʼobuwombeefu kubanga
6Noolwekyo mwewombeeke wansi wʼomukono gwa Katonda ogwʼamaanyi, naye alibagulumiza ngʼobudde butuuse.
7Mumutwalirenga byonna bye mweraliikirira kubanga abalumirwa era afaayo ku buli ekibatuukako.
8Mutunulenga, mwekuume omulabe wammwe Setaani, atambulatambula ngʼempologoma enjala gyʼeruma egenda ngʼewuluguma ngʼenoonya gwʼeneerya.
9Mumwaŋŋange ngʼabalumbye, nga mwesiga Mukama, era mujjukire nti Ebibonoobono ebiri ngʼebyo bituuka ne ku bakkiriza abalala mu nsi yonna.
10Bwe mulibonaabonera akaseera, Katonda waffe atukwatirwa ekisa ngʼayita mu Kristo, alibawa ekitiibwa kye ekitaliggwaawo. Alibakomyawo, alibazzaamu amaanyi, alibawanirira era alibanyweza.
11Ekitiibwa nʼamaanyi bibeerenga gyʼali emirembe nʼemirembe. Amiina.
12Ebbaluwa eno nzija kugikwasa Sirwano
13Balonde bannammwe mu kkanisa yʼe Babulooni, babalamusizza. Ne mutabani wange Makko naye abalamusizza.
14Mulamusagane nʼokwagala okwʼEkikristaayo. Emirembe gibeerenga mu mmwe mwenna abali mu Kristo.