1 Samwiri 1:1-28 LGCB2014 - Bible AI

1 Waaliwo omusajja Omwefulayimu eyabeeranga e Lamasayimuzofimu, mu nsi eyʼensozi eya Efulayimu, ngʼayitibwa Erukaana, nga mutabani wa Yerokamu, muzzukulu wa Eriku, muzzukulu wa Toku, muzzukulu wa Zufu.

2Yalina abakyala babiri, omu nga ye Kaana; nʼomulala nga ye Penina. Penina yalina abaana, naye Kaana nga mugumba.

3Buli mwaka omusajja oyo yayambukanga okuva mu kibuga kyʼewaabwe okugenda okusinza nʼokuwaayo ssaddaaka eri Mukama owʼEggye e Siiro[1]. Eyo Kofuni ne Finekaasi batabani ba Eri gye baawererezanga nga bakabona ba Mukama Katonda.

4Awo olunaku olwʼokuwaayo ssaddaaka bwe lwatuuka, Erukaana, nʼawa Penina ne batabani be, ne bawala be emigabo egyʼennyama.

5Naye Kaana nʼamuwa emigabo ebiri kubanga yamwagala nnyo, newaakubadde nga Mukama Katonda yali tamuwadde mwana.

6Era kubanga Mukama Katonda yali tamuwadde mwana, muggya we nʼamucoccanga.

7Ebyo byabangawo buli mwaka, era bwe baayambukanga okugenda mu yeekaalu ya Mukama, muggya we nʼamujoogerezanga okutuusa lwe yakaabanga, nʼokulya nʼatalya.

8Bba Erukaana nʼamubuuza nti, “Kaana, okaabiranga ki? Lwaki tolya? Kiki ekikweraliikiriza? Nze sikusingira abaana ekkumi?”

9Lwali lumu bwe baali bamaze okulya nʼokunywa e Siiro, Eri yali atudde ku ntebe okumpi nʼomulyango gwa yeekaalu[2], Kaana nʼasituka nʼagenda mu maaso ga Mukama Katonda.

10 Mu kulumwa olwʼennaku ennyingi ennyo, nʼakaaba nnyo amaziga ngʼasaba Mukama Katonda.

11 Ne yeeyama ngʼagamba nti, “Ayi Mukama Ayinzabyonna, bwʼolitunuulira ennaku eyʼomuweereza wo, nʼonzijukira, nʼompa omwana owoobulenzi, ndimuwaayo eri Mukama Katonda ennaku zonna ezʼobulamu bwe nga muwonge, era enviiri ze teziimwebwengako.”

12Awo Kaana bwe yeeyongera okusaba ennyo eri Mukama Katonda, Eri ne yeekaliriza akamwa ke.

13Kaana yali asaba mu kasirise, ngʼemimwa gye ginyeenya, naye nga eddoboozi lye teriwulikika. Eri nʼalowooza nti atamidde.

14Eri kyeyava amugamba nti, “Oli komya ddi okujjanga wano ngʼotamidde? Ggyawo ettamiiro lyo.”

15 Naye Kaana nʼamuddamu nti, “Si bwe kiri mukama wange; nze ndi mukazi ajjudde ennaku. Sinnanywa ku wayini newaakubadde ekitamiiza ekirala; mbadde nkaabira Mukama Katonda mu mmeeme yange.

16Omuweereza wo tomulowooza okuba omukazi owʼekyejjo, kubanga mbadde nsindira Mukama ennaku nʼobuyinike bwange.”

17 Awo Eri nʼamuddamu nti, “Genda mirembe. Katonda wa Isirayiri akuwe ekyo kyʼomusabye.”

18 Nʼayogera nti, “Omuweereza wo alabe ekisa mu maaso go.” Oluvannyuma ne yeetambulira, nʼalya ku mmere, nʼatandika okutunula nʼessanyu.

19 Awo Erukaana nʼabʼewuwe ne bagolokoka enkeera mu makya ne basinza Mukama, nʼoluvannyuma ne baddayo ewaabwe e Laama. Ne yeetaba ne mukazi we Kaana, Mukama Katonda nʼamujjukira.

20Kaana nʼaba olubuto nʼazaala omwana wabulenzi. Nʼamutuuma erinnya Samwiri, amakulu gaalyo, “Kubanga namusaba Mukama Katonda.”

21Awo Erukaana nʼayambuka nʼabʼennyumba ye okugenda okuwaayo ssaddaaka eri Mukama Katonda nʼokutuukiriza obweyamo bwe.

22Naye Kaana teyagenda nabo. Nʼagamba bba nti, “Omwana bwʼaliva ku mabeere[3], ndimutwala ne mulagayo eri Mukama Katonda, era alibeera eyo ennaku ze zonna.”

23 Erukaana nʼamuddamu nti, “Kola nga bwʼosiima. Linda okutuusa lwʼolimala okumuggya ku mabeere; Mukama Katonda atuukirize ekigambo kye.” Awo omukyala nʼasigala eka, nʼalabirira omwana okutuusa lwe yava ku mabeere.

24Bwe yava ku mabeere, nʼamutwala mu yeekaalu ya Mukama Katonda e Siiro ngʼakyali muto; ne batwala ente ssatu ennume, nʼendebe eyʼobutta, nʼeccupa ya wayini.

25 Bwe baamala okusala emu ku nte, ne batwala omwana eri Eri.

26Kaana nʼayogera nti, “Nga bwʼoli omulamu mukama wange, nze mukyala oli eyayimirira okumpi naawe, ne nsaba Mukama Katonda.

27Namusaba omwana ono, era Mukama Katonda ampadde kye namusaba.

28Kaakano mmuwaayo eri Mukama, era obulamu bwe bwonna aweereddwayo eri Mukama Katonda.”

28Omwana nʼasinzizanga Mukama Katonda eyo.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
iv>