1 Samwiri 10:1-27 LGCB2014 - Bible AI

1 Awo Samwiri nʼaddira eccupa eyʼamafuta nʼagifuka ku mutwe gwa Sawulo, nʼamunywegera ngʼagamba nti, “Mukama akufuseeko amafuta okufuga abantu be, Isirayiri.

2 Bwʼonoova wano leero, onoosisinkana abasajja babiri okumpi nʼamalaalo ga Laakeeri, e Zereza ku nsalo ya Benyamini, banaakugamba nti, ‘Endogoyi ze wagenda okunoonya zaalabise. Kitaawo kaakano takyalowooza ku ndogoyi, naye, yeeraliikirira ggwe, nga yeebuuza nti, “Ebya mutabani wange mbikole ntya?” ’ ”

3“Bwʼonoova awo, ne weeyongerayo okutuuka ku mwera gwa Toboli, onoosisinkana abasajja basatu abanaaba bagenda okusisinkana Katonda e Beseri, omu nga yeetisse obubuzi busatu, omulala nga yeetisse emigaati esatu, nʼomulala ngʼasitudde eccupa ya wayini.

4Banaakulamusa ne bakuwa emigaati ebiri, era gikkirize.”

5“Bwʼonoova eyo ogenda ku Lusozi lwa Katonda oluliko ekigo ekyʼAbafirisuuti. Bwʼonooba onootera okutuuka ku kibuga, onoosisinkana ekibiina kya bannabbi nga baserengeta okuva mu kifo ekigulumivu nga bakulembeddwamu abakuba entongooli, nʼebitaasa, nʼendere, nʼennanga, era nga bawa obunnabbi.

6 Omwoyo wa Mukama anakukkako mu maanyi, nʼowa obunnabbi wamu nabo, era onookyusibwa nʼofuuka omuntu omuggya.

7 Obubonero obwo bwe bunaatuukirira, kola kyonna kyʼonoolaba nga kituufu, kubanga Katonda ali wamu naawe.

8“Serengeta onsookeyo e Girugaali[18]. Nnaakugoberera ne nzija gyʼoli okuwaayo ssaddaaka ezʼebiweebwayo ebyokebwa nʼebiweebwayo olwʼemirembe, naye oteekwa okunnindako okumala ennaku musanvu okutuusa lwe ndijja gyʼoli ne nkutegeeza ekyʼokukola.”

9Awo Sawulo bwe yava eri Samwiri, Katonda nʼamuwa omutima omuggya, nʼobubonero obwo bwonna ne butuukirira ku lunaku olwo.

10Bwe baatuuka ku lusozi ekibiina kya bannabbi ne kimusisinkana, Omwoyo wa Katonda nʼamukkako mu maanyi era nʼatandika okuwa obunnabbi wamu nabo.

11Abaali baamumanya okuva edda nʼedda bwe baamulaba ngʼawa obunnabbi wamu ne bannabbi, ne bagambagana nti, “Kiki kino ekituuse ku mutabani wa Kiisi? Sawulo naye ali omu ku bannabbi?”

12Omu ku batuuze bʼekitundu ekyo nʼabuuza nti, “Ye kitaabwe yʼani?” Kyerwava lufuuka olugero nti, “Ne Sawulo ali omu ku bannabbi?”

13Awo Sawulo bwe yamala okuwa obunnabbi, nʼayambuka mu kifo ekigulumivu.

14Awo kojja wa Sawulo nʼababuuza ye nʼomuweereza nti, “Mubadde wa?” Nʼaddamu nti, “Tubadde tunoonya endogoyi, naye bwe tutaazirabye, ne tugenda eri Samwiri.”

15Kojja wa Sawulo nʼamugamba nti, “Mbuulira Samwiri kye yakugambye.”

16Sawulo nʼaddamu nti, “Yatutegeeza nti endogoyi zaali zirabise.” Naye nʼatamubuulira Samwiri bye yamugamba ku byʼobwakabaka.

17 Samwiri nʼayita abantu ba Isirayiri bakuŋŋaanire eri Mukama e Mizupa[19].

18Nʼabagamba nti, “Bwʼati bwʼayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Naggya Isirayiri mu Misiri, ne mbalokola okuva mu mukono gwʼAbamisiri, ne mu mukono gwʼobwakabaka bwonna obwabajooganga.

19Naye kaakano mujeemedde Katonda wammwe eyabalokola okuva mu buyinike bwammwe nʼennaku yammwe, ne mwogera nti, Nedda, tuteerewo kabaka atufuge.’ Kale mweyanjule mu maaso ga Mukama mu bika byammwe ne nnyiriri zammwe nga bwe biri.”

20 Awo Samwiri bwe yasembeza ebika byonna ebya Isirayiri okumpi ne we yali, ekika kya Benyamini ne kirondebwa na kalulu[20].

21Nʼasembeza ekika kya Benyamini, lunyiriri ku lunyiriri, era olunyiriri lwa Materi ne lulondebwa. Nʼoluvannyuma Sawulo mutabani wa Kiisi nʼalondebwa, naye bwe baamunoonya, nga talabika.

22Ne beeyongera okwebuuza ku Mukama nti, “Omusajja wʼali wano, atuuse?”

22Awo Mukama nʼabaddamu nti, “Ye, yeekwese mu bitereke.”

23Ne badduka ne bagenda ne bamuleeta. Bwe yayimirira mu bantu, nʼaba ngʼasinga abantu bonna obuwanvu.

24 Samwiri nʼagamba abantu bonna nti, “Mulaba omusajja Mukama gwʼalonze? Tewali amwenkana mu bantu bonna.” Abantu ne baddamu nʼeddoboozi eddene nti, “Wangaala Kabaka.”

25Samwiri nʼannyonnyola abantu ebiragiro nʼobulombolombo ebyʼobwakabaka, nʼabiwandiika mu kitabo nʼakiteeka mu maaso ga Mukama. Awo Samwiri nʼasiibula abantu bonna, buli omu nʼaddayo ewuwe.

26 Sawulo naye nʼaddayo ewaabwe mu Gibea, ngʼawerekerwako abasajja abazira Katonda be yali akomyeko ku mitima.

27Naye abamu ku basajja abʼeffujjo ne boogera nti, “Omusajja ono ayinza atya okutulokola?” Ne bamunyooma, era ne batamuwa na birabo. Naye Sawulo nʼakisirikira nʼatabanyega.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
div>