1Awo olwatuuka Nakkasi Omwamoni
2
3Abakulu ba Yabesi ne bamugamba nti, “Tuweeyo ebbanga lya nnaku musanvu, tusindike ababaka mu nsi yonna eya Isirayiri. Bwe wataabeewo nʼomu anajja okutubeera, kale tuneewaayo gyʼoli.”
4
5Mu kiseera ekyo Sawulo yali ava mu nnimiro ngʼagoberera ente ze ezirima, nʼabuuza nti, “Abantu babadde ki? Kiki ekibakaabya?” Ne bamutegeeza obubaka abasajja abʼe Yabesi bwe baali baleese.
6
7
8
9Ne bagamba ababaka abaali bazze nti, “Mutegeeze abasajja abʼe Yabesugireyaadi nti, ‘Obudde we bunaatuukira mu ssaawa ezʼomu ttuntu, munaaba mulokolebbwa.’ ” Ababaka bwe bazzaayo obubaka obwo e Yabesi, abatuuze baayo ne bassa ekikkowe.
10Abatuuze abʼe Yabesi ne bagamba Abamoni nti, “Enkya tujja kwewaayo gye muli, mutukole kye mwagala.”
11Enkeera Sawulo yakeera mu matulutulu nʼayawulamu abasajja be ebibinja bisatu; ne balumba olusiisira lwʼAbamoni ne babatta okutuusa mu ssaawa ezʼomu ttuntu. Abaaluwona ne basaasaana, ne wataba nʼomu asigala na munne.
12
13
14Awo Samwiri nʼagamba abantu nti, “Mujje, tugende e Girugaali tukakase obwakabaka.”
15Awo abantu bonna ne bagenda e Girugaali mu maaso ga Mukama ne bakakasa Sawulo okuba kabaka. Era mu kifo ekyo ne baweerayo ssaddaaka ezʼebiweebwayo olwʼemirembe mu maaso ga Mukama, Sawulo nʼAbayisirayiri bonna ne basanyuka ne bajaguza nnyo ne bakola nʼentujjo eyʼamaanyi.