1Samwiri nʼayogera eri Isirayiri yenna, ngʼagamba nti, “Mpulirizza buli kintu kye muŋŋambye, ne mbateerawo kabaka okubafuga.
2ⓕ Kaakano mulina kabaka ngʼomukulembeze wammwe. Naye nze nkaddiye, mmeze nʼenvi, era nʼabaana bange bali wano nammwe. Mbadde mukulembeze wammwe okuva mu buvubuka bwange nʼokutuusa leero.
3ⓖ Nzuuno mu maaso gammwe. Munnumirize ensonga yonna mu maaso ga Mukama ne mu maaso gʼoyo gwe yafukako amafuta. Ani gwe nnali ntwalidde ente ye? Oba ani gwe nnali ntwalidde endogoyi ye? Oba ani gwe nnali ndyazaamaanyizza? Oba ani gwe nnali njooze? Oba ani gwe nnali nsabye enguzi? Bwe wabaawo anvunaana mu nsonga yonna nzija kumuliyira.”
4ⓗ Ne baddamu nti, “Totunyagangako newaakubadde okutujooga, wadde okulya enguzi okuva mu mukono gwʼomuntu yenna.”
5Awo Samwiri nʼabaddamu nti, “Mukama ye mujulirwa gye muli, era nʼoyo gwe yafukako amafuta mujulirwa leero, nga sirina nsobi yonna mu maaso gammwe.” Ne baddamu nti, “Mujulirwa.”
6ⓘ Samwiri nʼagamba abantu nti, “Mukama ye yalonda Musa ne Alooni era nʼaggya bajjajjammwe mu Misiri.
7ⓙ Kale nno, musseeyo omwoyo mutege amatu mu maaso ga Mukama, eri okubalamula era nʼokubajjukiza ebikolwa ebyʼobutuukirivu Mukama bye yabakolera mmwe ne bajjajjammwe.
8ⓚ “Yakobo bwe yabeera mu Misiri, bajjajjammwe ne bakaabirira Mukama; Mukama yatuma Musa ne Alooni, abaabaggya mu Misiri, nʼabateeka mu kifo kino.
9ⓛ “Naye ne beerabira Mukama Katonda waabwe, kyeyava abatunda mu mukono gwa Sisera omuduumizi wʼeggye lya Kazoli, ne mu mukono gwʼAbafirisuuti, ne mu mukono gwa kabaka wa Mowaabu, abaabalwanyisanga.
10ⓜ Abayisirayiri ne bakaabirira Mukama, nga boogera nti, ‘Twasobya, twava ku Mukama ne tuweereza Babaali ne Baasutoleesi. Naye kaakano tulokole okuva mu mukono gwʼabalabe baffe, tunaakuweerezanga.’
11ⓝ Mukama nʼalyoka atuma Yerubbaali[22], ne Bedani, ne Yefusa ne Samwiri ne babalokola mu mukono gwʼabalabe bammwe enjuuyi zonna, ne mutuula mirembe.
12ⓞ Naye bwe mwalaba Nakkasi kabaka wʼAbamoni ngʼabalumba, newaakubadde nga Mukama Katonda wammwe ye yali kabaka wammwe ne muŋŋamba nti, ‘Nedda, ffe twagala kabaka okutufuga.’
13ⓟ Kaakano kabaka gwe mulonze era gwe mwasaba wuuno, era laba Mukama ataddewo kabaka okubafuga.
14ⓠ Bwe munaatyanga Mukama ne mumuweerezanga, ne mugonderanga eddoboozi lye, ne mutajeemera biragiro bye, mmwe ne kabaka abafuga ne mugobereranga Mukama Katonda wammwe, kinaabanga kirungi.
15ⓡ Naye bwe mutaagonderenga Mukama, ne mu mujeemera ebiragiro bye, omukono gwe gunaalwananga nammwe, nga bwe kyali ku bajjajjammwe.