1
2Sawulo yalonda abasajja enkumi ssatu okuva mu Isirayiri, enkumi ebbiri ku bo ne babeera naye e Mikumasi ku lusozi olwʼe Beseri, nʼabalala lukumi ne babeera ne Yonasaani e Gibea ekya Benyamini. Abasajja abalala bonna nʼabasindika baddeyo ewaabwe.
3
4Awo Isirayiri yenna bwe baawulira nga Sawulo awambye olusiisira lwʼAbafirisuuti, ate nga Isirayiri yali efuuse ekyenyinyalwa eri Abafirisuuti, abantu ne balagirwa okwegatta ku Sawulo e Girugaali.
5
6
7
8Nʼalinda okumala ennaku musanvu, ebbanga Samwiri lye yali amulaze, naye Samwiri nʼatajjirawo e Girugaali, nʼabasajja ba Sawulo ne batandika okumuvaako.
9Sawulo kyeyava ayogera nti, “Mundeetere wano ekiweebwayo ekyokebwa nʼekiweebwayo olwʼemirembe.” Nʼawaayo ekiweebwayo ekyokebwa.
10Naye bwe yali yakamala okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa, Samwiri nʼatuuka. Sawulo nʼagenda okumwaniriza.
11Samwiri nʼamubuuza nti, “Kiki kino kyʼokoze?” Sawulo nʼaddamu nti, “Bwe nnalabye ngʼabasajja batandise okusaasaana, ate nga tozze mu kiseera kye walaga, ate nga nʼAbafirisuuti bakuŋŋaanira e Mikumasi,
12ne ndowooza nti, ‘Kaakano Abafirisuuti bagenda kukkirira okunnumba e Girugaali, nga sinnaba kwegayirira kufuna mukisa gwa Mukama, kyenvudde mpalirizibwa okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa.’ ”
13
14
15Awo Samwiri nʼava e Girugaali nʼayambuka e Gibea mu Benyamini, Sawulo nʼabala abasajja abaali naye, nga baawera nga lukaaga.
16Sawulo ne mutabani we Yonasaani, nʼabasajja abaali nabo baali basiisidde e Gebea ekya Benyamini, ate ngʼAbafirisuuti bo basiisidde Mikumasi.
17Abalabe ne bava mu nkambi yʼAbafirisuuti mu bibinja bisatu, ekimu ne kyolekera Yofula, mu nsi ya Suwaali,
18
19
20Noolwekyo Abayisirayiri bonna baaserengetanga eri Abafirisuuti, okuwagala enkumbi zaabwe, nʼebiwabyo byabwe, nʼembazzi zaabwe, ne najjolo zaabwe.
21Baalinanga omuwendo gwe baasasulanga olwʼokuwagala enkumbi eyʼamannyo abiri nʼebiwabyo, nga gwa njawulo ku ogwo gwe baawangayo olwʼokuwagala embazzi nʼemiwunda.
22Era ku lunaku olwʼolutalo tewaali muserikale nʼomu ku baali ne Sawulo ne Yonasaani, eyalina ekitala wadde effumu, okuggyako Sawulo ne mutabani we Yonasaani
23