1 Samwiri 14:1-52 LGCB2014 - Bible AI

1Lumu Yonasaani mutabani wa Sawulo nʼagamba omuvubuka eyasitulanga ebyokulwanyisa bye nti, “Jjangu tugende ku ludda luli mu nkambi eyʼAbafirisuuti.” Kyokka nʼatabuulira kitaawe.

2 Sawulo yali asiisidde ku njegoyego za Gibea wansi wʼomukomamawanga mu Migulooni. Yalina abaserikale nga lukaaga;

3 ku bo kwe kwali Akiya eyali ayambadde ekkanzu eyʼobwakabona[24] nga ye mutabani wa Akitubu, muganda wa Ikabodi, mutabani wa Finekaasi, mutabani wa Eri, kabona wa Mukama mu Siiro. Tewali yamanya nti Yonasaani agenze.

4 Ku buli ludda lwʼekkubo Yonasaani mwe yali ayagala okuyita okutuuka ku nkambi yʼAbafirisuuti waaliyo enkonko empanvu, olumu nga luyitibwa Bozezi, nʼolulala nga luyitibwa Sene.

5Olukonko olumu lwali ku luuyi olwʼobukiikakkono okwolekera Mikumasi, nʼolulala nga luli ku luuyi olwʼobukiikaddyo okwolekera Geba.

6 Yonasaani nʼagamba omuvubuka eyasitulanga ebyokulwanyisa bye nti, Jjangu tugende mu nkambi yʼabasajja abo abatali bakomole, oboolyawo Mukama anaatukolera ekyamagero. Kubanga tewali kiyinza kuziyiza Mukama kulokola, ngʼakozesa abangi oba abatono.

7Omuvubuka nʼamuddamu nti, “Kola nga bwʼosiima. Genda mu maaso, nzisa kimu naawe, omutima gwange nʼomwoyo gwange biri wamu naawe.”

8Yonasaani nʼalyoka ayogera nti, “Kale, tusomoke tugende eri abasajja, tubeerage.

9Bwe banaatugamba nti, ‘Mutulindirire okutuusa lwe tunajja,’ kale tunaasigala we tuli, ne tutagenda gye bali.

10 Naye bwe banaatugamba nti, ‘Mujje gye tuli,’ tunaayambuka, kubanga ako ke kanaaba akabonero gye tuli nti Mukama abagabudde mu mukono gwaffe.”

11 Awo bombi ne beeraga eri olusiisira lwʼAbafirisuuti. Abafirisuuti ne boogera nti, “Mulabe, Abaebbulaniya batandise okuva mu binnya mwe baali beekwese.”

12Abasajja abʼomu nkambi ne bakoowoola Yonasaani nʼomuvubuka eyasitulanga ebyokulwanyisa bye nga boogera nti, “Mwambuke gye tuli, tubalage enkola.”

12Awo Yonasaani nʼagamba omuvubuka eyasitulanga ebyokulwanyisa bye nti, “Ngoberera twambuke kubanga Mukama abawaddeyo mu mukono gwa Isirayiri.”

13 Yonasaani nʼalinnyalinnya, ngʼayavula nga nʼomuvubuka eyasitulanga ebyokulwanyisa bye bwʼamuvaako emabega. Yonasaani nʼatta Abafirisuuti, nʼomuvubuka eyasitulanga ebyokulwanyisa bye ngʼamuvaako emabega naye nʼatta abo abaali bawonyeewo.

14Mu lulumba olwo olwasooka, Yonasaani nʼomuvubuka eyasitulanga ebyokulwanyisa bye, batta abasajja amakumi abiri mu kibangirizi ekyenkana ekitundu kya eka.

15 Awo ne waba okutya kungi nnyo mu ggye lyonna eryʼAbafirisuuti abo abaali mu nkambi nʼabaali ku ttale; era nʼabʼomu bibinja ebirala nʼebibondo ebirumba nʼettaka ne likankana. Okukankana okwo kwava eri Katonda.

16Abakuumi ba Sawulo abaali e Gibea mu Benyamini ne balaba ngʼekibinja kisaasaana okuddukira mu njuyi zonna.

17Awo Sawulo nʼalagira abasajja abaali naye nti, “Mubale abasajja bonna, mulabe ataliiwo.” Bwe baabala, ne bazuula nga Yonasaani nʼeyasitulanga ebyokulyanyisa bye tebaliiwo.

18Sawulo nʼagamba Akiya nti, “Leeta essanduuko ya Katonda,” kubanga mu biro ebyo yali mu mikono gyʼAbayisirayiri.

19Awo Sawulo bwe yali ngʼakyayogera ne kabona, akeegugungo ne keeyongera mu nkambi yʼAbafirisuuti, nʼagamba kabona nti, “Zaayo omukono gwo, ogira olindako.”

20 Awo Sawulo nʼabasajja be ne beekuŋŋaanya ne bagenda mu lutalo, ne basanga ngʼAbafirisuuti balwanagana bokka ne bokka, nga bafumitagana ebitala.

21Abaebbulaniya abaabeeranga nʼAbafirisuuti, abaali bagenze nabo mu nkambi, ne beegatta ku Bayisirayiri abaali ne Sawulo ne Yonasaani.

22 Awo Abayisirayiri bonna abaali beekwese mu nsi eyʼensozi eya Efulayimu bwe baawulira ngʼAbafirisuuti badduse, amangwago nabo ne beenyigira mu lutalo ne bannaabwe.

23 Mukama nʼalokola Isirayiri ku lunaku olwo, olutalo ne lutuukira ddala e Besaveni.

24 Ku lunaku olwo abasajja Abayisirayiri baali bajjudde ennaku nnyingi nnyo kubanga Sawulo yali abalayizza ngʼagamba nti, “Akolimirwe oyo yenna anaalya akantu konna ngʼobudde tebunnawungeera, nga sinnaba kwesasuza ku balabe bange.” Awo ne wataba nʼomu ku baserikale akomba ku kantu.

25 Awo abantu bonna bwe baatuuka mu kibira ne balaba omubisi gwʼenjuki ku ttaka.

26Bwe beeyongerayo munda mu kibira ne basanga nga gutonnya, naye ne wataba nʼomu agukombako kubanga baali batya ekirayiro kye baakola.

27Naye Yonasaani yali tawulidde nga kitaawe alayiza abantu, kyeyava addira omuggo gwe yalina nʼannyika omusa gwagwo mu bisenge byʼenjuki, nʼagukombako, amaaso ge ne ganyirira nʼaddamu amaanyi.

28Awo omu ku baserikale nʼamugamba nti, “Kitaawo yatukuutidde nʼatulayiza nti, ‘Omuntu yenna anaalya ku mmere leero akolimirwe.’ Era ekyo kye kireetedde abaserikale okuggwaamu amaanyi.”

29Yonasaani nʼayogera nti, “Kitange aleetedde ensi yaffe emitawaana. Laba amaaso gange bwe ganyirira nʼamaanyi gange bwe gakomyewo bwe nkombyeko ku mubisi guno ogwʼenjuki.

30Tekyandisinze nnyo leero singa abasajja baalidde ku munyago gwʼabalabe baabwe? Era tebandisse Abafirisuuti abasinga awo obungi?”

31Abayisirayiri we baamalira okutta Abafirisuuti okuva e Mikumasi okutuuka e Ayalooni nga bakooye nnyo.

32 Ne badda ku munyago, ne baddira endiga nʼente nʼennyana ne bazisalira wansi ku ttaka ne balya ennyama nʼomusaayi gwayo.

33Awo omuntu omu nʼategeeza Sawulo nti, “Abantu basobya ku Mukama kubanga balya ennyama erimu omusaayi.”

33Nʼayogera nti, “Musobezza nnyo. Munjiringisirize wano ejjinja eddene kaakano.”

34Sawulo nʼagamba nti, “Muyiteeyite mu bantu mubategeeze nti, ‘Buli omu ku mmwe aleete ente ye nʼendiga ye muzittire wano era mu zirye. Temuddangayo okusobya ku Mukama nga mulya ennyama erimu omusaayi.’ ” Awo buli omu ku bo nʼaleeta ente ye ekiro ekyo nʼagisalira awo.

35 Sawulo nʼazimbira Mukama ekyoto, era ekyo kye kyoto kye yasooka okuzimbira Mukama.

36Awo Sawulo nʼayogera nti, “Tuserengete tugoberere Abafirisuuti ekiro kino tubanyage okutuusa emmambya lwʼeneesala, era tuleme okulekawo wadde omu ku bo nga mulamu.” Ne bamuddamu nti, “Kola nga bwʼosiima.” Naye kabona nʼayogera nti, “Twebuuze ku Katonda wano.”

37 Awo Sawulo ne yeebuuza ku Katonda ngʼagamba nti, “Ŋŋende nnumbe Abafirisuuti? Onoobagabula mu mukono gwa Isirayiri?” Naye Katonda nʼatamuddamu ku olwo.

38 Sawulo kyeyava ayogera nti, “Mujje wano mmwe mwenna abakulembeze bʼabantu, tunoonyereze tulabe ekibi ekikoleddwa leero.

39 Nga Mukama alokola Isirayiri bwʼali omulamu, ne bwe kinaaba ku mutabani wange Yonasaani, ateekwa kufa.” Naye ne wataba nʼomu amwanukula.

40Awo Sawulo nʼagamba Abayisirayiri bonna nti, “Muyimirire ku ludda olwo, nze ne mutabani wange Yonasaani tunaayimirira ku ludda luno.” Abantu ne bamuddamu nti, “Kola nga bwʼonoosiima.”

41 Sawulo nʼasaba Mukama Katonda wa Isirayiri nti, “Kiki ekikugaanye okuddamu omuweereza wo leero? Omusango bwe guba nga guli ku nze oba ku mutabani wange Yonasaani ddamu ne Wumimu, naye bwe guba nga guli ku bantu bo Isirayiri, onaddamu ne Sumimu.” Awo akalulu ne kakubibwa era ne kagwa ku Sawulo ne Yonasaani mutabani we.

42Awo Sawulo nʼayogera nti, “Mutukubire akalulu nze ne mutabani wange Yonasaani.” Yonasaani nʼalondebwa.

43 Sawulo nʼabuuza Yonasaani nti, “Mbulira kyʼokoze.” Yonasaani nʼamutegeeza nti, “Nakombyeko katono ku mubisi gwʼenjuki nga nkozesa omusa gwʼomuggo gwange. Kaakano ekyo kinsanyiza okufa?”

44 Sawulo nʼamuddamu nti, “Katonda ankole bwʼatyo nʼokukirawo bwʼotoofe, Yonasaani!”

45 Naye abantu ne bagamba Sawulo nti, “Lwaki, Yonasaani akoze ebyʼamagero ebyo byonna mu Isirayiri afa? Ddala Yonasaani attibwe? Oyo aleetedde Isirayiri obununuzi obwʼekitalo? Nedda tekisoboka! Nga Mukama bwʼali omulamu, tewali luviiri na lumu lunaava ku mutwe gwe ne lugwa wansi, kubanga ebyo byʼakoze leero Katonda yʼamuyambye okubikola.” Abantu ne banunula Yonasaani bwe batyo, nʼatattibwa.

46Ne Sawulo nʼalekeraawo okugoberera Abafirisuuti, nabo ne beddirayo mu nsi yaabwe.

47 Awo Sawulo bwe yalya obwakabaka bwa Isirayiri nʼalwana nʼabalabe be ku njuyi zonna: Mowaabu, nʼAbamoni, abʼe Edomu, ne bakabaka ba Zoba, nʼAbafirisuuti, na buli we yaddanga nʼabawangula.

48 Nʼalwana nʼobuzira bungi nʼawangula Abamaleki, nʼanunula Isirayiri okuva mu mukono gwʼabo abaabanyaganga.

49Batabani ba Sawulo baali Yonasaani, ne Isuvi, ne Malukisuwa. Amannya ga bawala be ababiri gaali Merabu nga ye mukulu, ate omuto nga ye Mikali.

50 Omukyala we ye yali Akinoamu muwala wa Akimaazi. Omuduumizi wʼeggye lye omukulu ye yali Abuneeri mutabani wa Neeri, taata wa Sawulo omuto.

51 Kiisi kitaawe wa Sawulo ne Neeri kitaawe wa Abuneeri baali batabani ba Abiyeeri.

52 Mu biro byonna ebya Sawulo, waaliwo okulwanagana okwʼamaanyi nʼAbafirisuuti, era buli Sawulo bwe yalabanga omusajja owʼamaanyi oba omuzira nʼamuyingiza mu magye.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
div>