1 Samwiri 15:1-35 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Samwiri nʼagamba Sawulo nti, “Mukama nze gwe yatuma okukufukako amafuta okuba kabaka wʼabantu be Isirayiri, noolwekyo wuliriza obubaka obuva eri Mukama Katonda.

2 Bwʼati bwʼayogera Mukama Ayinzabyonna nti, ‘Ndibonereza Abamaleki olwʼekyo kye baakola Isirayiri bwe baabateega nga bayambuka okuva mu Misiri.

3 Kaakano genda olumbe Abamaleki obazikiririze ddala, nʼebintu byabwe byonna. Tobasaasira, otta abasajja nʼabakazi, abaana nʼabato ddala, ente, nʼendiga, nʼeŋŋamira nʼendogoyi.’ ”

4Awo Sawulo nʼakuŋŋaanya abasajja, nʼababalira e Terayimu, nga bawera abaserikale abʼebigere emitwalo amakumi abiri, nʼabalala omutwalo gumu okuva mu Yuda.

5Sawulo nʼasemberera ekibuga kya Amaleki nʼabateegera mu kiwonvu.

6 Nʼagamba Abakeeni nti, “Muve mu Bamaleki mugende nneme okubazikiririza awamu nabo, kubanga mwakolera Abayisirayiri bonna ebyekisa bwe bayambuka okuva mu Misiri.” Abakeeni ne basenguka okuva mu Bamaleki.

7 Awo Sawulo nʼalumba Abamaleki okuviira ddala e Kavira okutuuka e Ssuuli, ekiri ebuvanjuba wʼe Misiri.

8Nʼawamba Agagi kabaka wʼAbamaleki nga mulamu, naye abantu abalala bonna nʼabazikiririza ddala nʼekitala.

9Era Sawulo nʼeggye ne baleka Agagi nga mulamu, era endiga nʼente, nʼennyana nʼabaana bʼendiga nʼebyassava, nʼebyo byonna bye baalaba nga bya muwendo, ne batabizikiririza ddala. Naye ebirala byonna ebitaali bya muwendo nga binyoomebwa oba nga binafu, ne babizikiririza ddala.

10Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Samwiri nti,

11 “Nejjusizza okufuula Sawulo kabaka, kubanga avudde kukungoberera, nʼatakolera ku biragiro byange.” Samwiri nʼanyolwa nnyo, nʼakabira Mukama ekiro kyonna.

12 Enkeera ku makya Samwiri nʼagolokoka nʼagenda okusisinkana Sawulo, naye ne bamutegeeza nti, “Sawulo yazze e Kalumeeri gye yeezimbidde ekijjukizo, kyokka kaakano avuddeyo nʼaserengeta e Girugaali.”

13 Awo Samwiri bwe yamutuukako, Sawulo nʼayogera nti, “Mukama akuwe omukisa. Ngoberedde ebiragiro bya Mukama.”

14Naye Samwiri nʼamuddamu nti, “Ate okubejjagala okwʼendiga nʼokuŋooŋa kwʼente bye mpulira biva wa?”

15 Sawulo nʼamuddamu nti, “Abaserikale baaziggye ku Bamaleki. Baaleseewo ente nʼendiga ezisinga obulungi okuba ebiweebwayo eri Mukama Katonda wo, naye ebirala byonna twabizikiririzza ddala.”

16Awo Samwiri nʼagamba Sawulo nti, “Sirika! Kankutegeeze Mukama kye yaŋŋambye ekiro.” Sawulo nʼamuddamu nti, “Ntegeeza.”

17Samwiri nʼamugamba nti, “Newaakubadde nga wali weeraba ngʼoli mutono, tewafuuka mukulu wa bika bya Isirayiri? Mukama yakufukako amafuta okuba kabaka wa Isirayiri.

18Naakutuma omulimu, ngʼagamba nti, ‘Genda ozikiririze ddala abalina ebibi abo Abamaleki, obalwanyise okutuusa lwʼolibamalirawo ddala.’

19Lwaki tewagondedde ddoboozi lya Mukama? Lwaki mwalulunkanidde omunyago ne mukola ekibi mu maaso ga Mukama?”

20Sawulo nʼaddamu Samwiri nti, “Nagondedde eddoboozi lya Mukama, era nagenze ku mulimu Mukama gwe yantumye. Nazikiririzza ddala Abamaleki era ne ndeeta Agagi kabaka waabwe.

21Abaserikale baatute endiga nʼente, ebisinga obulungi ku ebyo ebyali biteekeddwa okuzikirizibwa, babiweeyo eri Mukama Katonda wo e Girugaali.”

22 Naye Samwiri nʼamugamba nti, “Mukama asanyukira nnyo ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka, okusinga okugondera eddoboozi lya Mukama? Okugonda kusinga ssaddaaka, era nʼokuwuliriza kusinga amasavu gʼendiga ennume.

23Kubanga obujeemu buli ngʼekibi ekyʼokusamira, era nʼobukakanyavu buli ngʼekibi ekyʼokusinza bakatonda abalala. Kubanga ojeemedde ekigambo kya Mukama, naye akugaanye okuba kabaka.”

24 Awo Sawulo nʼagamba Samwiri nti, “Nyonoonye. Najeemedde ekiragiro kya Mukama era nʼebigambo byo, kubanga natidde abantu ne ŋŋendera ku bigambo byabwe.

25Kaakano nkusaba, osonyiwe ekibi kyange, okomewo nange nsobole okusinza Mukama.”

26Naye Samwiri nʼamuddamu nti, “Sijja kuddayo naawe kubanga ovudde ku kigambo kya Mukama, ne Mukama akugaanye okuba kabaka wa Isirayiri.”

27 Awo Samwiri bwe yakyuka okugenda, Sawulo nʼakwata ekirenge kyʼekyambalo kye, ne kiyulika.

28Samwiri nʼamugamba nti, “Mukama akuyuzizzaako obwakabaka bwa Isirayiri leero, nʼabuwa omu ku baliraanwa bo akusinga.

29 Oyo ayitibwa Ekitiibwa kya Isirayiri talimba ate takyusakyusa kirowoozo kye, kubanga si muntu nti anaakyusa ekirowoozo kye.”

30 Sawulo nʼaddamu nti, “Nyonoonye, naye nzisaamu ekitiibwa mu maaso gʼabakadde bʼabantu bange, ne mu maaso ga Isirayiri, oddeyo nange, nsinze Mukama Katonda wo.”

31Awo Samwiri nʼaddayo ne Sawulo, Sawulo nʼasinza Mukama.

32Samwiri nʼalagira nti, “Mundeetere Agagi kabaka wʼAbamaleki.” Agagi nʼajja gyʼali ngʼakankana naye ngʼagamba mu mutima gwe nti, “Mazima ddala obubalagaze bwʼokufa buyise.”

33Naye Samwiri nʼayogera nti, Awo Samwiri nʼatemaatema Agagi nʼamuttira mu maaso ga Mukama e Girugaali.

33“Ngʼekitala kyo bwe kyaleetera abakazi abangi obutaba na baana, ne nnyoko talibeera na mwana.”

34Samwiri nʼalyoka agenda e Laama, naye Sawulo ye nʼagenda ewuwe mu Gibea ekya Sawulo.

35Samwiri yanakuwala nnyo olwa Sawulo, era teyaddayo kulabagana ne Sawulo okutuusa Samwiri lwe yafa. Mukama nʼanyolwa olwʼokufuula Sawulo kabaka wa Isirayiri.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
div>