1 Samwiri 16:1-23 LGCB2014 - Bible AI

1 Awo Mukama nʼagamba Samwiri nti, “Olituusa ddi okunakuwala olwa Sawulo, ate nga nze sikyamubala kuba kabaka wa Isirayiri? Jjuza ejjembe lyo amafuta nkutume eri Yese Omubesirekemu kubanga nnonze omu ku batabani be okuba kabaka.”

2Naye Samwiri nʼayogera nti, “Nnaagenda ntya? Sawulo bwʼanakiwulira ajja kunzita.” Mukama nʼamugamba nti, “Weetwalire ennyana oyogere nti, ‘Nzize kuwaayo ssaddaaka eri Mukama.’

3Yita Yese ajje okuwaayo ssaddaaka, nzija kukulaga ekyʼokukola. Ojja kufuka amafuta ku oyo gwe nnaaba nnonze.”

4 Samwiri nʼakola ekyo Mukama kye yamulagira. Bwe yatuuka e Besirekemu abakulu bʼekibuga ne bakankana olwʼokutya bwe baamusisinkana era ne bamubuuza nti, “Ojja mirembe?”

5 Nʼabaddamu nti, “Weewaawo, mirembe. Nzize okuwaayo ssaddaaka eri Mukama. Mwetukuze tugende ffenna tuweeyo ssaddaaka.” Nʼatukuza Yese ne batabani be, nʼabayita okujja okuwaayo ssaddaaka.

6 Bwe baatuuka nʼatunuulira Eriyaabu, nʼalowooza nti, “Mazima Mukama ono gwʼafuseeko amafuta, era yʼayimiridde kaakano mu maaso ga Mukama.”

7 Naye Mukama nʼagamba Samwiri nti, “Totunuulira nfaanana ye wadde obuwanvu bwe, kubanga si gwe nnonze. Mukama tatunuulira ebyo abantu bye batunuulira. Abantu batunuulira bya kungulu naye Mukama atunuulira bya mu mutima.”

8Awo Yese nʼayita Abinadaabu, nʼamuyisa mu maaso ga Samwiri. Naye Samwiri nʼayogera nti, “Oyo naye Mukama si gwʼalonze.”

9Yese nʼayita Samma nʼamusimbawo, naye Samwiri nʼayogera nti, “Era nʼoyo Mukama si gwʼalonze.”

10Yese nʼayisa batabani be omusanvu mu maaso ga Samwiri, naye Samwiri nʼamugamba nti, “Ku bo tekuli nʼomu Mukama gwʼalonze.”

11Nʼabuuza Yese nti, “Bano be batabani bo bokka?” Yese nʼaddamu nti, “Ekyasigaddeyo asingira ddala obuto, alunda ndiga.” Samwiri nʼagamba Yese nti, “Mutumye; tetujja kuweera okutuusa lwʼanajja.”

12 Nʼamutumya, nʼaleetebwa. Yali mumyufu, nʼamaaso ge nga malungi, era ngʼalabika bulungi nnyo. Awo Mukama nʼayogera nti, “Golokoka omufukeko amafuta; ye wuuyo.”

13Awo Samwiri nʼaddira ejjembe lyʼamafuta, nʼagamufukako mu maaso ga baganda be. Okuva ku lunaku olwo Omwoyo wa Mukama nʼakka ku Dawudi mu maanyi mangi. Oluvannyuma Samwiri nʼaddayo e Laama.

14 Awo Omwoyo wa Mukama Katonda yali avudde ku Sawulo, omwoyo omubi ogwava eri Mukama ne gumucoccanga.

15Awo abaweereza ba Sawulo ne bamuleetera ekiteeso nti, “Laba, omwoyo omubi okuva eri Katonda gukucocca.

16Mukama waffe alagire abaweereza be kaakano okumunoonyeza omuntu asobola okukuba entongooli. Omwoyo omubi okuva eri Katonda bwe gunaabanga gukusseeko, bwʼanagikubanga nʼoddamu endasi, onoowuliranga bulungi nʼokkakkana.”

17Awo Sawulo nʼalagira abaweereza be nti, “Munfunireyo omuntu asobola okukuba entongooli obulungi, mumundeetere.”

18Omu ku baweereza nʼaddamu nti, “Waliwo mutabani wa Yese Omubesirekemu gwe nalaba asobola okukuba entongooli obulungi. Musajja muzira era mulwanyi, ate nga mwogezi mulungi, era alabika bulungi. Ate Mukama Katonda ali wamu naye.”

19Awo Sawulo nʼatuma ababaka eri Yese, ngʼagamba nti, “Mpeereza mutabani wo Dawudi, alabirira endiga.”

20Yese nʼaddira endogoyi nʼagitikka emigaati, nʼeccupa ya wayini nʼomwana gwʼembuzi, nʼabiweereza wamu ne mutabani we Dawudi eri Sawulo.

21Dawudi nʼatuuka eri Sawulo, nʼafuuka omu ku baweereza be. Sawulo nʼamwagala nnyo, era nʼamufuula omu ku abo abaasitulanga ebyokulwanyisa bye.

22Awo Sawulo nʼatumira Yese ngʼagamba nti, “Kkiriza Dawudi asigale ngʼomu ku baweereza bange, kubanga nsiimye byʼankolera.”

23Awo buli omwoyo omubi okuva eri Katonda lwe gwʼajjanga ku Sawulo, Dawudi nʼamukubiranga entongooli, Sawulo nʼakkakkana, era nʼawulira bulungiko, nʼomwoyo omubi ne gumuvaako.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
div>