1
2Sawulo nʼAbayisirayiri nabo ne bakuŋŋaana, bo ne basiisira mu kiwonvu Era, ne basimba ennyiriri okulwana nʼAbafirisuuti.
3Abafirisuuti ne bayimirira ku luuyi olumu olwʼolusozi, nʼAbayisirayiri ne bayimirira ku luuyi olulala olwʼolusozi, nga wakati waabwe waliwo ekiwonvu.
4
5Lyalina enkuufiira eyʼekikomo ku mutwe gwalyo, nga lyambadde nʼekizibaawo ekyʼekikomo, nʼobuzito bwakyo bwali kilo ataano mu musanvu.
6Lyali lyambadde ebyʼebikomo ku magulu gaalyo, nga lirina effumu eryʼekikomo ku kibegabega kyalyo.
7Nʼolunyago lwʼeffumu lyalyo lwali ngʼomuti ogulukirwako engoye, nʼomutwe gwʼeffumu ogwʼekyuma ngʼobuzito bwagwo kilo musanvu. Eyasitulanga engabo ye yamukulemberangamu.
8Awo Goliyaasi nʼayimirira nʼaboggolera eggye lya Isirayiri nti, “Lwaki mwetegeka okulwana? Siri Mufirisuuti, ate mmwe temuli baddu ba Sawulo? Mulonde omusajja mu mmwe aserengete gye ndi.
9Bwʼanannwanyisa nʼanzita, kale tunaafuuka baddu bammwe, naye bwe nnaamuwangula ne mutta, munaafuuka baddu baffe era munaatuweerezanga.”
10Era Omufirisuuti nʼayongera okwogera nti, “Leero, nsomooza eggye lya Isirayiri! Mumpeeyo omusajja tulwane.”
11Sawulo ne Isirayiri yenna bwe baawulira ebigambo ebyʼOmufirisuuti, ne bakeŋŋentererwa ne batya nnyo.
12
13Yese yalina abaana munaana aboobulenzi, era mu biro ebyo ebya Sawulo yali akaddiye nnyo.
14Dawudi ye yali omuto. Abasatu ne bagenda ne Sawulo,
15naye Dawudi nʼaddiŋŋananga ngʼava mu kulunda endiga za kitaawe e Besirekemu, ngʼagenda ewa Sawulo.
16Omufirisuuti nʼamala ennaku amakumi ana ngʼasoomooza Abayisirayiri enkya nʼakawungeezi.
17Yese nʼagamba mutabani we Dawudi nti, “Kwata ekkilo zino amakumi abiri ezʼeŋŋaano ensiike nʼemigaati gino ekkumi, oyanguwe okubitwalira baganda bo mu lusiisira lwabwe.
18
19Bali ne Sawulo nʼabasajja ba Isirayiri bonna mu kiwonvu Era, balwana nʼAbafirisuuti.”
20Enkeera Dawudi nʼagolokoka mu makya nnyo, endiga nʼazirekera omusumba, nʼateekateeka ebintu bye yali atwala, nʼagenda nga Yese bwe yamulagira. We yatuukira mu lusiisira, ngʼeggye ligenda mu ddwaniro nga lirangirira olutalo.
21Isirayiri nʼAbafirisuuti baali basimbye ennyiriri, buli ggye nga lyolekedde linnaalyo.
22Dawudi nʼalekera omukuumi wʼebikozesebwa ebintu bye, nʼadduka nʼagenda eri eggye, nʼalamusa ku baganda be.
23Awo bwe yali ngʼakyʼanyumya nabo, Goliyaasi, Omufirisuuti omuzira owʼe Gaasi, ne yeesowolayo okuva mu ggye lyʼAbafirisuuti nʼasoomooza Abayisirayiri mu bigambo bye bimu bye yayogeranga. Dawudi nʼamuwulira.
24Awo Abayisirayiri bwe baalaba omusajja ne batya ne bamudduka mu kutya okwʼekitalo.
25
26
27Ne bamuddiramu ebigambo bye bimu nti, “Bwʼatyo bwʼanaakolebwa omuntu anaamutta.”
28Awo Eriyaabu, muganda wa Dawudi mukulu waabwe bwe yamuwulira ngʼayogera nʼabasajja, obusungu ne bumukwata, nʼamubuuza nti, “Kiki ekyakuleese wano? Ani gwe walekedde endiga ezo entono ku ttale? Mmanyi amalala go nʼekyejo kyʼolina mu mutima, waserengese kulaba bulabi lutalo.”
29Dawudi nʼayogera nti, “Kaakano nkoze ki? Siyinza kubaako kye mbuuza? Mbuuzizza bubuuza.”
30Nʼakyuka nʼabuuza omuntu omulala ekibuuzo kye kimu, mu ngeri yʼemu abasajja ne bamutegeeza ebigambo bye bimu nga bali abaasoose.
31Ebigambo Dawudi bye yayogera byawulirwa ne bituusibwa eri Sawulo; Sawulo nʼamutumya.
32
33
34
35nagigobereranga, ne ngikuba, ne mponya omwana gwʼendiga nga nguggya mu kamwa kʼensolo eyo. Bwe yankyukiranga nʼeyagala okunzita, nga ngikwata oluba ne ngikuba ne ngitta.
36Omuweereza wo yattako ku mpologoma nʼeddubu. Omufirisuuti ono atali mukomole anaaba ngʼemu ku zo, kubanga asoomozezza eggye lya Katonda omulamu.”
37
38Sawulo nʼayambaza Dawudi ebyambalo bye ebyʼolutalo; nʼamuwa ekizibaawo ekyʼekikomo, nʼamuteeka nʼenkuufiira eyʼekikomo ku mutwe.
39Dawudi ne yeesiba ekitala kya Sawulo ku kyambalo, nʼagezaako okutambula, naye nʼalemererwa, kubanga yali tabimanyidde. Awo nʼagamba Sawulo nti, “Siisobole kugenda na bino kubanga sibimanyidde.” Nʼabyeyambulamu.
40Nʼakwata omuggo mu mukono gwe, nʼalonda nʼamayinja amaweweevu ataano mu kagga, nʼagateeka mu nsawo ye eyʼomusumba. Nʼaddira nʼenvuumuulo ye mu mukono gwe nʼasemberera Omufirisuuti.
41Awo Omufirisuuti nʼomusajja eyasitulanga ebyokulwanyisa bye nga yamukulembeddemu, ne basemberera Dawudi.
42
43
44
45
46
47
48
49Dawudi nʼaggya ejjinja mu nsawo ye nʼalivuumuula ne likwasa Omufirisuuti mu kyenyi; nʼagwa nga yeevuunise, nʼejjinja nga liyingidde mu kyenyi kye.
50
51Dawudi bwe yamala okutta Omufirisuuti, nʼadduka nʼamuyimirirako, nʼasowola ekitala kyʼOmufiisuuti okuva mu kiraato kyakyo, nʼamutemako omutwe nakyo.
52Abasajja ba Isirayiri ne Yuda ne bagolokoka nʼokuleekaana okungi ne bagoberera Abafirisuuti okutuuka e Gaasi ne ku miryango gya Ekuloni; abaafa nʼabaatuusibwako ebiwundu ne baba bangi mu kkubo okuva e Saalayimu okutuuka e Gaasi nʼe Ekuloni.
53Awo Abayisirayiri bwe baakomawo okuva mu kugoberera Abafirisuuti, ne banyaga olusiisira lwʼAbafirisuuti.
54Dawudi nʼasitula omutwe gwʼOmufirisuuti nʼaguleeta e Yerusaalemi, naye ebyokulwanyisa byʼOmufirisuuti nʼabiteeka mu weema ye.
55Sawulo bwe yalengera Dawudi ngʼagenda okulwana nʼOmufirisuuti, nʼabuuza Abuneeri omuduumizi wʼeggye nti, “Abuneeri, oyo omuvubuka mutabani wʼani?” Abuneeri nʼamuddamu nti, “Nga bwʼoli omulamu, ayi kabaka, simanyi.”
56Kabaka nʼayogera nti, “Genda onoonyereze bazadde bʼomuvubuka oyo.”
57Amangu ddala nga Dawudi akomyewo ngʼasse Omufirisuuti, Abuneeri nʼamutwala mu maaso ga Sawulo, nga Dawudi asitudde omutwe gwʼOmufirisuuti mu mukono gwe.
58Sawulo nʼamubuuza nti, “Muvubuka, oli mwana wʼani?” Dawudi nʼamuddamu nti, “Ndi mutabani wa muddu wo Yese Omubesirekemu.”