1
2Okuva ku lunaku olwo Sawulo nʼatwala Dawudi okubeera naye, nʼatamuganya kuddayo mu nnyumba ya kitaawe.
3Awo Yonasaani nʼatta omukago ne Dawudi kubanga yamwagala nnyo nga bwe yali yeeyagala yekka.
4Yonasaani ne yeeyambulamu ekyambalo kye yali ayambadde nʼekanzu ye, ne yeesumulula nʼekitala kye, nʼomutego gwe nʼolukoba lwe, nʼabiwa Dawudi.
5Buli kintu Sawulo kye yatumanga Dawudi, Dawudi nʼakituukirizanga bulungi nnyo, era Sawulo kyeyava amuwa ekifo ekyawaggulu mu magye. Ekyo ne kisanyusa abantu bonna, nʼabakungu ba Sawulo.
6
7
8Sawulo olwawulira ebigambo ebyo nʼasunguwala nnyo, era ne kimukola bubi nnyo. Nʼayogera nti, “Dawudi bamuwaanye nʼemitwalo, nze ne bampaana nʼenkumi; kiki kyʼataafune bwʼataalye bwakabaka?”
9Awo okuva mu kiseera ekyo Sawulo nʼakwatirwa Dawudi obuggya.
10Olunaku olwaddirira omwoyo omubi okuva eri Katonda ne gujja ku Sawulo nʼamaanyi mangi, nʼayogera ebyʼobunnabbi mu lubiri lwe, Dawudi nga bwʼakuba entongooli nga bwe yakolanga buli lunaku. Sawulo yalina effumu mu ngalo ze,
11nʼalikasuka, ngʼayogera mu mutima gwe nti, “Kanfumite Dawudi mmukwasize ku kisenge.” Naye Dawudi nʼalyewoma emirundi ebiri.
12Awo Sawulo nʼatya Dawudi, kubanga Mukama yali wamu naye, kyokka ngʼavudde ku Sawulo.
13
14
15Awo Sawulo bwe yalaba Dawudi ngʼafuna emikisa, nʼamutya.
16
17Awo Sawulo nʼagamba Dawudi nti, “Nzija kukuwa muwala wange omukulu Merabu, abe mukyala wo, mpeereza nʼobuvumu era lwana entalo za Mukama.” Sawulo nʼateesa mu mutima gwe nti, “Kikafuuwe nze okugolola omukono gwange okumukolako akabi. Ekyo Abafirisuuti be balikikola.”
18
19
20Awo muwala wa Sawulo omulala Mikali yali ayagala Dawudi, era Sawulo bwe yakiwulira, nʼakisanyukira.
21Sawulo nʼalowooza mu mutima gwe nti, “Nzija kumumuwa afuuke omutego, omukono gwʼAbafirisuuti gulyoke gumuzikirize.” Sawulo kyeyava agamba Dawudi nti, “Kaakano ofunye omukisa ogwokubiri okuba mukoddomi wange.”
22Awo Sawulo nʼalagira abaweereza be nti, “Mwogere ne Dawudi kyama mumugambe nti, ‘Laba, kabaka akusanyukira, ate nʼabaweereza be bonna bakwagala, noolwekyo beera mukoddomi wa kabaka.’ ”
23Ebigambo ebyo ne babitegeeza Dawudi. Naye Dawudi nʼayogera nti, “Mulowooza nga kintu kitono okubeera mukoddomi wa kabaka? Nze ndi musajja mwavu atamanyiddwa nnyo.”
24Abaweereza ba Sawulo ne bamutuusaako ebigambo bya Dawudi.
25
26Awo abaweereza be ne bagenda ne bategeeza Dawudi ebigambo ebyo, Dawudi nʼasanyuka nnyo okuba mukoddomi wa kabaka. Awo ekiseera ekiragaane nga tekinnaba na kuyitawo,
27
28Naye Sawulo bwe yategeera nga Mukama ali wamu ne Dawudi, ate nga ne muwala we Mikali ayagala Dawudi,
29Sawulo ne yeeyongera okumutya, era nʼaba mulabe wa Dawudi okuva mu kiseera ekyo.
30