1 Samwiri 19:1-24 LGCB2014 - Bible AI

1 Awo Sawulo nʼagamba mutabani we Yonasaani, nʼabaweereza be bonna, batte Dawudi. Naye Yonasaani yayagalanga nnyo Dawudi,

2bwʼatyo nʼamulabula ngʼagamba nti, “Kitange Sawulo anoonya bwʼanaayinza okukutta. Weekuume enkya ku makya, weekweke mu kifo ekikusifu obeere eyo.

3Nnaagenda ne nnyimirira ne kitange mu nnimiro, wʼonoobeera, ne njogera naye ku bikukwatako, nʼoluvannyuma nzija kujja nkutegeeze bye nnaazuula.”

4 Awo Yonasaani nʼayogera bulungi ku Dawudi eri Sawulo kitaawe ngʼagamba nti, “Kabaka aleme okukola akabi ku muddu we Dawudi, kubanga talina kyakukoze, era akuweereza bulungi nnyo mu mirimu egyʼomugaso.

5 Yeewaayo nʼatta Omufirisuuti; Mukama nʼaleetera Isirayiri yenna, obuwanguzi obwʼekitalo, nʼokiraba nʼosanyuka. Lwaki oyigganya omuntu nga Dawudi ataliiko musango, nʼoyagala okumutta awatali nsonga?”

6Sawulo nʼawuliriza Yonasaani, era nʼamulayirira ngʼagamba nti, “Mukama nga bwʼali omulamu, Dawudi tajja kuttibwa.”

7Awo Yonasaani nʼayita Dawudi, nʼamutegeeza byonna. Nʼamuleeta eri Sawulo, Dawudi nʼaddamu nʼaweereza Sawulo ngʼolubereberye.

8Ne wagwawo olutalo nate, Dawudi nʼagenda okulwana nʼAbafirisuuti, nʼabakuba nʼatta bangi ku bo, abaasigalawo ne badduka.

9Awo omwoyo omubi okuva eri Mukama ne gujja ku Sawulo bwe yali ngʼatudde mu nnyumba ye, ngʼakutte effumu mu mukono, Dawudi bwe yali ngʼakuba entongooli.

10Sawulo nʼagezaako okumufumitira ku kisenge nʼeffumu, naye Dawudi nʼalyewoma, ne likwasa ekisenge. Ekiro ekyo Dawudi nʼadduka nʼawona.

11Sawulo nʼatuma ababaka bagende bakuume ennyumba ya Dawudi, bamutte enkeera. Naye Mikali mukyala wa Dawudi nʼamulabula nʼamugamba nti, “Bwʼotodduke kiro kino, bwe bunaakya bajja kukutta.”

12 Awo Mikali nʼassiza Dawudi mu ddirisa, nʼadduka nʼagenda ne yeekweka.

13Mikali nʼaddira ekifaananyi ekyole nʼakiteeka ku kitanda, nʼakibikkako olugoye, nʼassa nʼebyoya ebyʼembuzi ku mutwe gwakyo.

14Awo Sawulo bwe yatumayo ababaka okuwamba Dawudi, Mikali nʼabagamba nti, “Mulwadde.”

15Sawulo nʼabatuma baddeyo bamulabe era nʼabalagira nti, “Mumundeetere mu kitanda kye, mmutte.”

16Naye abasajja bwe bagenda yo, ne balaba ekifaananyi ekyole mu kitanda, nga ne ku mutwe kuliko ebyoya byʼembuzi.

17Sawulo nʼabuuza Mikali nti, “Lwaki wannimbye bwʼotyo, nʼoleka omulabe wange okudduka, nʼokuwona nʼawona?” Mikali nʼamuddamu nti, “Yaŋŋambye nti, ‘Bwʼotondeke kugenda nzija kukutta.’ ”

18Awo Dawudi nʼaddukira eri Samwiri e Laama, nʼamutegeeza byonna Sawulo bye yamukola. Ye ne Samwiri ne bagenda e Nayosi ne babeera eyo.

19Sawulo nʼategeezebwa nti, “Dawudi ali Nayosi mu Laama;”

20 nʼatuma ababaka okumuwamba. Naye bwe baalaba ekibiina kya bannabbi nga boogera ebyʼobunnabbi, nga Samwiri ye mukulembeze waabwe, Omwoyo wa Katonda nʼakka ku basajja ba Sawulo, nabo ne baba nga bali.

21Awo Sawulo bwe yategeezebwa ekibaddewo, nʼatuma ababaka abalala nabo ne baba nga bali. Sawulo nʼatuma ekibinja ekyokusatu, era nabo ne baba nga bali.

22Ekyavaamu, ye yennyini kwe kugenda e Laama, nʼatuuka awali oluzzi olunene oluli e Seku, nʼabuuza nti, “Samwiri ne Dawudi bali ludda wa?” Ne bamuddamu nti, “Bali Nayosi mu Laama.”

23 Awo Sawulo nʼagenda e Nayosi mu Laama, naye Omwoyo wa Mukama nʼamukkako, nʼatambula ngʼayogera ebyʼobunnabbi okutuuka e Nayosi.

24 Ne yeyambula ebyambalo bye, nʼatandika okwogera nga bannabbi mu maaso ga Samwiri. Nʼabeera bwʼatyo olunaku lwonna nʼokuzibya obudde. Abantu kyebaava boogera nti, “Ne Sawulo ali mu bannabbi?”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
div>