1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11Awo Erukaana nʼaddayo ewuwe e Lama, naye omwana nʼasigala ngʼaweereza Mukama Katonda, ngʼalabirirwa Eri.
12Batabani ba Eri baali basajja ba mpisa mbi, nga tebatya Mukama Katonda,
13Omuntu yenna bwe yawangayo ssaddaaka, omuweereza wa kabona yajjanga, ngʼakutte ewuuma eyʼamannyo asatu ngʼennyama ekyatokosebwa,
14nʼasonseka ewuuma mu nsaka oba mu bbinika, oba mu ntamu, oba mu sefuliya, era ebyo byonna ewuuma bye yakwasanga, kabona bye yeetwaliranga. Bwe batyo bwe baakolanga Abayisirayiri bonna abajjanga okusinziza e Siiro.
15Ate amasavu bwe gaabanga tegannayokebwa, omuweereza wa kabona yajjanga nʼagamba omuntu awaayo ssaddaaka nti, “Kabona muwe ku nnyama ayokye, kubanga tajja kukkiriza kutwala nnyama nfumbe ayagala mbisi yokka
16Omusajja bwe yamuddangamu nti, “Leka bamale okwokyako amasavu, olyoke otwale yonna gyʼoyagala,” omuweereza yaddangamu nti, “Nedda, oteekwa okugimpa kaakano, bwe kitaba bwe kityo, nzija kugitwala lwʼamaanyi.”
17Ekibi kyʼabavubuka abo ne kiba kinene nnyo mu maaso ga Mukama, kubanga baanyoomanga ekiweebwayo kya Mukama Katonda.
18Samwiri nʼaweerezanga mu maaso ga Mukama Katonda nga mulenzi muto, eyayambalanga ekkanzu eyʼobwakabona eya bafuta.
19Nnyina nʼamukolelanga ekyambalo nʼakimutwaliranga, bwe yabanga ayambuse ne bba okuwaayo ssaddaaka eya buli mwaka.
20Eri nʼawa Erukaana ne mukyala we omukisa, ngʼayogera nti, “Mukama Katonda abawe abaana okudda mu kifo kyʼoyo mukazi wo ono gwe yasaba, nʼamuwaayo ngʼekirabo eri Mukama.” Nʼoluvannyuma baddayo eka.
21Mukama nʼaba wa kisa eri Kaana, nʼazaala abaana aboobulenzi basatu, nʼaboobuwala babiri. Omuvubuka Samwiri nʼakulira mu maaso ga Mukama.
22Awo Eri eyali akaddiye ennyo, nʼawulira ebyo byonna batabani be bye baakolanga Abayisirayiri bonna, ne bwe beetabanga nʼabakyala abaweerezanga ku mulyango gwʼEweema eyʼOkukuŋŋaanirangamu.
23Nʼabagamba nti, “Kiki ekibakoza ebifaanana bwe bityo? Bye mpulira okuva eri abantu bano bonna nga si birungi.
24Nedda, baana bange; ebigambo bye mpulira ebisaasaana mu bantu ba Mukama si birungi nʼakatono.
25Omuntu bwʼayonoona eri muntu munne, Katonda
26Awo omuvubuka Samwiri ne yeeyongera okukula, nʼaba muganzi eri Mukama nʼeri abantu.
27Awo ne wabaawo omusajja wa Katonda eyajja eri Eri, nʼamugamba nti, “Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, ‘Sseeraga bulungi eri ennyumba ya jjajjaawo mu Misiri bwe baali bafugibwa Falaawo?
28Nalonda jjajjaawo okuva mu bika byonna ebya Isirayiri okuba kabona wange, okwambukanga ku kyoto kyange, okwoterezangako obubaane, nʼokwambalanga ekkanzu eyʼobwakabona eya bafuta mu maaso gange. Era ne mpa ennyumba ya jjajjaawo ebiweebwayo byonna ebyokebwa Abayisirayiri.
29Lwaki munyooma ssaddaaka yange nʼekiweebwayo kyange bye nalagira, okuweebwangayo mu yeekaalu yange? Lwaki ossaamu batabani bo ekitiibwa okunsinga, nga mweddiza ebitundu ebisinga obusava ku buli kiweebwayo abantu bange, Isirayiri, kye bawaayo?’
30“Mukama Katonda wa Isirayiri kyava ayogera nti, ‘Nasuubiza nti ennyumba yo nʼennyumba ya jjajjaawo be banaaweerezanga mu maaso gange ennaku zonna;’ naye kaakano Mukama agamba nti, ‘Kikafuuwe! Abanzisaamu ekitiibwa bennassangamu ekitiibwa, naye abo abonnyooma banaaswazibwanga.
31Laba ekiseera kijja lwe ndikumalamu amaanyi era nʼennyumba ya jjajjaawo nayo ne ngimalamu amaanyi, waleme okubaawo nʼomu aliwangaala okutuuka mu bukadde,
32olyoke olabire ennaku mu nnyumba yange. Newaakubadde Isirayiri erifuna omukisa, tewalibaawo nʼomu ku bʼomu nnyumba yo aliwangaala nʼakaddiwa.
33Omuntu yekka ku bantu bo gwe siizikirize, gwe ndikkiriza okumpeereza ku kyoto kyange, alisigalawo kukulabya nnaku, na kukunakuwaza mu mutima, na kukukaabya maziga; era bazzukulu bo bonna banaafanga nga kye bajje bavubuke.’
34“ ‘Ekirituuka ku batabani bo, Kofuni ne Finekaasi, ke kaliba akabonero gyʼoli era bombi balifa ku lunaku lumu.
35Ndyeyimusiza kabona omwesigwa, aligoberera ebiri mu mutima gwange ne mu mmeeme yange. Ndinywereza ddala ennyumba ye, era aliweerezanga ennaku zonna mu maaso gʼoyo gwe ndifukako amafuta.
36Era buli aliba asigaddewo ku bʼomu nnyumba yo alijja nʼamuvuunamira ngʼamusaba ekitundu kya ffeeza nʼomugaati ngʼayogera nti, “Nkwegayiridde nnonda okuba omu ku bakabona, nsobole okufuna ekyokulya.” ’ ”