1Awo Dawudi nʼadduka okuva e Nayosi mu Laama nʼagenda eri Yonasaani, nʼamubuuza nti, “Nkoze ki? Nazza musango ki? Kibi ki kye nakola ekiyagazisa kitaawo okunzita?”
2Yonasaani nʼaddamu nti, “Kikafuuwe! Togenda kuttibwa. Laba kitange talina kyʼakola, kakibe kinene oba kitono, nga tantegeezezza. Kiki ekyandimuleetedde okukinkisa ekyo? Tekiriiwo.”
3
4Awo Yonasaani nʼagamba Dawudi nti, “Buli kyʼoyagala nkukolere, nnaakikukolera.”
5
6Kitaawo bwʼanambuuza, mugambe nti, ‘Dawudi yansabye, agende e Besirekemu, mu kibuga kye waabwe, kubanga waliwo ssaddaaka eya buli mwaka eneeweebwayo ku lwʼennyumba ye yonna.’
7Bwʼanaakuddamu nti, ‘Kirungi,’ olwo nno omuweereza wo anaaba mirembe. Naye bwʼanaanyiiga, kale onootegeera nti amaliridde okunkola akabi.
8
9Yonasaani nʼayogera nti, “Tekiribaawo! Singa nnali ntegedde nga kitange amaliridde okukukola akabi, sandikubuulidde?”
10Awo Dawudi nʼamubuuza nti, “Ani anantegeeza, kitaawo ngʼakuzzeemu nʼobusungu?”
11Yonasaani nʼamugamba nti, “Jjangu tulage mu nnimiro.” Awo bombi ne balaga mu nnimiro.
12Awo Yonasaani nʼagamba Dawudi nti, “Mukama, Katonda wa Isirayiri, abeere mujulirwa waffe; nzija kugezaako okumatiza kitange enkya oba okwosa enkya ku ssaawa nga zino. Bwʼanaaba nga takuliiko nsonga, kiki ekinandobera okukumanyisa?
13
14Bwe nnaaba omulamu, ondage ekisa kya Mukama ekitakoma, ennaku zonna ezʼobulamu bwange, nneme okuttibwa,
15tokendeezanga ku kisa so tolekangayo kulaga bwesigwa eri ennyumba yange, Mukama ne bwʼalizikiriza buli mulabe wa Dawudi ku nsi.”
16Awo Yonasaani nʼakola endagaano nʼennyumba ya Dawudi ngʼagamba nti, “Mukama abonereze abalabe ba Dawudi.”
17Yonasaani nʼalayiza Dawudi nate okukakasa ekirayiro kye, olwʼokwagala kwe yamwagala kubanga yamwagala nga bwe yali yeeyagala.
18Yonasaani nʼagamba Dawudi nti, “Enkya mbaga eyʼokujuukirirako omwezi nga gubonese, naye tunaakusaalirwa, kijja kutegeerekeka nti toliiwo, kubanga ekifo kyo kinaaba kyereere.
19Okwosa enkya, obudde nga bunaatera okuziba, genda mu kifo mwe weekweka luli, ebizibu bino bwe byatandika, obeere awali ejjinja Ezeri.
20Nnaalasa obusaale busatu ku mabbali gaalyo, ngʼateeba ssabbaawa.
21
22Naye bwe nnaagamba omulenzi nti, ‘Laba, obusaale buli mu maaso,’ kale onoogenda, kubanga olwo Mukama ngʼakugambye ogende.
23Era ne ku bigambo bye twayogerako, Mukama abeere naffe ennaku zonna.”
24Awo Dawudi ne yeekweka mu nnimiro. Embaga eyʼokujuukirirako omwezi nga gubonese bwe yatuuka, kabaka nʼatuula okulya.
25Nʼatuula mu kifo kye ekya bulijjo okumpi nʼekisenge okwolekera Yonasaani. Abuneeri nʼatuula okuliraana Sawulo, naye ekifo kya Dawudi kyali kyereere.
26
27Olunaku olwaddirira, omwezi nga gumaze okuboneka, ekifo kya Dawudi ne kisigala nga kyereere. Awo Sawulo nʼabuuza mutabani we Yonasaani nti, “Kiki ekyalobedde mutabani wa Yese okujja ku kijjulo, olunaku lwa jjo newaakubadde leero?”
28Yonasaani nʼaddamu nti, “Dawudi yanneegayiridde mukkirize agende e Besirekemu,
29ngʼayogera nti, ‘Nzikiriza ŋŋende kubanga ennyumba yaffe balina ssaddaaka eyʼokuwaayo mu kibuga, ne muganda wange yandagidde mbeere yo. Kale nno obanga ndabye ekisa mu maaso go, nzikiriza ŋŋende ndabe baganda bange.’ Kyeyavudde tabeerawo ku mmeeza ya kabaka.”
30Awo Sawulo nʼannyiigira nnyo Yonasaani, nʼamugamba nti, “Ggwe omwana wʼomukazi omukyamu era omujeemu! Olowooza sikimanyi nga weekobaana ne mutabani wa Yese okweleetako okuswala, nʼokukwasa maama wo eyakuzaala ensonyi?
31Mutabani wa Yese ngʼakyali mulamu ku nsi, tolinywezebwa ggwe newaakubadde obwakabaka bwo. Kaakano mutumye omundeetere, kubanga ateekwa okufa.”
32
33Naye Sawulo nʼamukasuukirira effumu amutte. Awo Yonasaani we yategeerera nga kitaawe amaliridde okutta Dawudi.
34Yonasaani nʼasituka ku mmeeza mu busungu obungi, era nʼatalya mmere ku lunaku olwokubiri olwʼomwezi, kubanga yanakuwalira ekikolwa kya kitaawe ekyʼobuswavu eri Dawudi.
35Ku makya Yonasaani nʼalaga mu nnimiro okusisinkana Dawudi, nga bwe baali balagaanye. Yalina akalenzi ke yagenda nako,
36nʼakagamba nti, “Dduka onoonye obusaale bwe nnaalasa.” Akalenzi bwe kaali nga kadduka, Yonasaani nʼalasa akasaale mu maaso gaako ne kamusookayo.
37Awo akalenzi bwe kaatuuka mu kifo akasaale we kaali kagudde, Yonasaani nʼakakoowoola ngʼagamba nti, “Akasaale tekali mu maasoko?”
38Nʼakangula ku ddoboozi, nʼamugamba nti, “Yanguwa, genda mangu, tolwawo.” Akalenzi ne kakima akasaale, ne kakomawo eri mukama waako.
39Naye akalenzi ne katabaako kye kategeera. Yonasaani ne Dawudi bokka be baamanya enteekateeka eyo.
40Awo Yonasaani nʼakwasa akalenzi ebyokulwanyisa bye, nʼakagamba nti, “Genda, obizzeeyo mu kibuga.”
41Akalenzi bwe kaamala okugenda, Dawudi nʼavaayo mu kifo ekyʼobukiikaddyo, nʼagwa wansi mu maaso ga Yonasaani nʼamuvuunamira emirundi esatu. Ne bagwaŋŋana mu bifuba ne bakaaba, naye Dawudi ye yasinga okukaaba.
42Awo Yonasaani nʼagamba Dawudi nti, “Genda mirembe, kubanga fembi twelayirira omukwano mu linnya lya Mukama nga twogera nti, ‘Mukama ye mujulirwa wakati wo nange, ne wakati wʼezzadde lyo nʼezzadde lyange emirembe gyonna.’ ” Dawudi nʼagenda, ne Yonasaani nʼaddayo mu kibuga.