1Dawudi nʼagenda e Nobu eri Akimereki kabona. Akimereki nʼajja ngʼakankana okusisinkana Dawudi, nʼamubuuza nti, “Lwaki oli wekka? Tewali muntu mulala ali wamu naawe?”
2Dawudi nʼaddamu Akimereki kabona nti, “Kabaka alina ensonga gye yantumye, nʼaŋŋamba nti, ‘Tewaba nʼomu amanya ku nsonga eno, era nʼebiragiro bye nkuwadde.’ Abasajja bange mbagambye we banansisinkana.
3Kale nno kiki kyʼolina wo? Mpaayo emigaati etaano, oba kyonna kyʼolinawo.”
4
5
6
7Ku lunaku olwo omu ku baweereza ba Sawulo eyayitibwanga Dowegi Omwedomu, era nga ye mukulu wʼabasumba ba Sawulo, yali asigadde mu maaso ga Mukama okutukuzibwa.
8Dawudi nʼabuuza Akimereki nti, “Tolinaawo ffumu newaakubadde ekitala awo? Ssaayise na kitala kyange newaakubadde ekyokulwanyisa nʼekimu, kubanga omulimu kabaka gwe yantumye gwabadde gwa kukolerawo.”
9Kabona nʼamuddamu nti, “Ekitala kya Goliyaasi Omufirisuuti gwe wattira mu kiwonvu Era, weekiri wano; kisabikiddwa mu lugoye emabega wʼekkanzu eyʼobwakabona eyitibwa efodi. Bwʼoba ngʼokyetaaga, kitwale. Tewaliwo kitala kirala wabula ekyo.”
10Ku lunaku olwo Dawudi nʼadduka Sawulo nʼagenda eri Akisi kabaka wʼe Gaasi.
11
12
13
14Akisi nʼagamba abaweereza be nti, “Mulabe! Omusajja mulalu! Lwaki mumundeetedde?
15Mbuliddwa abalalu, nʼokuleeta ne mundeetera omusajja ono okukola ebifaanana bwe biti mu maaso gange? Omusajja ono asaana okuggya mu nnyumba yange?”