1 Samwiri 22:1-23 LGCB2014 - Bible AI

1 Dawudi nʼava e Gaasi, nʼaddukira mu mpuku Adulamu. Baganda be nʼennyumba ya kitaawe bwe baakiwulira nti ali eyo, ne baserengeta okumusisinkana.

2 Nʼabo bonna abaali abanaku, nʼabaalina abababanja, nʼabaali beetamiddwa, nga si bamativu, ne bakuŋŋaanira gyʼali, nʼafuuka omukulembeze waabwe; abantu ngʼebikumi bina abaali naye.

3 Dawudi nʼavaayo nʼagenda e Mizupe mu Mowaabu, nʼagamba kabaka wa Mowaabu[27] nti, “Nkusaba okkirize kitange ne mmange babeere naawe okutuusa bwe ndimanya Katonda kyʼayagala okunkolera.”

4Nʼabaleka ne kabaka wa Mowaabu, ne babeera naye ebbanga lyonna Dawudi lye yabeera mu kifo ekyo.

5 Naye nnabbi Gaadi nʼalabula Dawudi nti, “Tobeera mu kifo ekyo, vaamu ogende mu nsi ya Yuda.” Awo Dawudi nʼavaayo nʼagenda mu kibira Keresi.

6Sawulo nʼawulira nti Dawudi nʼabasajja be bazuuliddwa. Sawulo yali atudde wansi wʼomumyulimu ku kasozi e Gibea ngʼakutte effumu, nga nʼabaserikale be bayimiridde okumwetooloola.

7Awo Sawulo nʼabagamba nti, “Mumpulirize mmwe Ababenyamini. Mutabani wa Yese alibawa ennimiro nʼennimiro ezʼemizabbibu? Mulowooza alibafuula abaduumizi bʼenkumi nʼabaduumizi bʼekikumi?

8Kyemuvudde mundyamu olukwe mwenna? Tewali nʼomu ku mmwe eyantegeeza mutabani wange ngʼakola endagaano ne mutabani wa Yese. Tewali nʼomu ku mmwe afaayo okuntegeeza nga mutabani wange awagira omuweereza wange okunteega, nga bwʼakoze leero.”

9Naye Dowegi Omwedomu eyali ayimiridde awamu nʼabaserikale ba Sawulo nʼayogera nti, “Nalaba mutabani wa Yese ngʼagenda eri Akimereki mutabani wa Akitubu e Nobu.

10 Akimereki yamubuuliza eri Mukama, era nʼamuwa nʼebikozesebwa nʼekitala kya Goliyaasi Omufirisuuti.”

11Awo kabaka nʼatumya kabona Akimereki mutabani wa Akitubu nʼennyumba ya kitaawe yonna, bakabona abaali e Nobu, bonna ne bajja eri kabaka.

12Sawulo nʼayogera nti, “Wuliriza kaakano, mutabani wa Akitubu.”

12Nʼaddamu nti, “Mpuliriza mukama wange.”

13Sawulo nʼamubuuza nti, “Lwaki weekobaana ne mutabani wa Yese, nʼomuwa emigaati nʼekitala, nʼomubuuliza nʼeri Katonda, alyoke, anteege angolokokereko, nga bwʼakoze leero?”

14Awo Akimereki nʼaddamu kabaka nti, “Ani ku baddu bo bonna eyenkana Dawudi, mukoddomi wa kabaka, omuduumizi wo owʼoku ntikko aduumira ekibinja ekikukuuma, era assibwamu ennyo ekitiibwa mu nnyumba yo?

15Olowooza nti ku lunaku olwo gwe gwali omulundi ogusooka okumubuuliza eri Katonda? Nedda! Kabaka aleme okuvunaana omuweereza wo newaakubadde omuntu yenna owʼomu nnyumba ya kitange, kubanga omuweereza wo talina nʼekimu kyʼamanyi ku nsonga eyo.”

16 Naye kabaka nʼayogera nti, “Mazima tooleme kufa, ggwe Akimereki, nʼennyumba ya kitaawo yonna.”

17 Awo kabaka nʼalagira abaserikale abaali bamuyimiridde okumpi, nti, “Mutte bakabona ba Mukama, kubanga nabo bassa kimu ne Dawudi. Baategeera ngʼadduka, naye ne batantegeeza.” Naye ne wataba nʼomu ku baserikale ba kabaka eyayaŋŋanga okugolola omukono gwe okutta bakabona ba Mukama.

18Awo kabaka nʼalyoka alagira Dowegi nti, “Ggwe bakkeeko obatte.” Awo Dowegi Omwedomu nʼabakkako nʼabatta, era olunaku olwo nʼatta abasajja kinaana mu bataano abaayambalanga ekkanzu eyʼobwakabona eza bafuta.

19Nʼatta nʼekitala abatuuze bonna abʼe Nobu, abasajja, nʼabakazi, nʼabaana abatoototo, nʼabaana abawere, era nʼente, nʼendogoyi, nʼendiga ebyali mu kibuga kya bakabona.

20Naye Abiyasaali omu ku batabani ba Akimereki, muzzukulu wa Akitubu nʼawona nʼaddukira eri Dawudi.

21Abiyasaali nʼategeeza Dawudi nga Sawulo bwe yali asse bakabona ba Mukama.

22Awo Dawudi nʼagamba Abiyasaali nti, “Namanya ku lunaku olwo, Dowegi Omwedomu bwe yaliiyo, nga ddala alibuulira Sawulo. Omusango gwange kubanga nze naleetera ennyumba ya kitaawo yonna okuttibwa.

23 Sigala nange, totya, kubanga omusajja anoonya obulamu bwo anoonya nʼobwange. Ojja kuba bulungi ngʼoli wamu nange.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
div>