1 Samwiri 23:1-29 LGCB2014 - Bible AI

1 Awo Dawudi bwe yategeezebwa nti, “Laba, Abafirisuuti balwana ne Keyira, era banyagulula amawuuliro,”

2 ne yeebuuza ku Mukama nti, “Ŋŋende nnumbe Abafirisuuti abo?” Mukama nʼamuddamu nti, “Genda olumbe Abafirisuuti owonye Keyira.”

3Naye abasajja ba Dawudi ne bamugamba nti, “Wano mu Yuda tuli mu ntiisa. Naye ate bwe tuligenda e Keyira okulwanyisa Abafirisuuti, kiriba kitya?”

4Dawudi nʼaddayo nate okwebuuza ku Mukama. Mukama nʼamuddamu nti, “Golokoka oserengete e Keyira, kubanga ŋŋenda kuwaayo Abafirisuuti mu mukono gwo.”

5Awo Dawudi nʼabasajja be ne balaga e Keyira, ne balwana nʼAbafirisuuti, ne batwala ente zaabwe, era ne batta bangi ku bo. Dawudi nʼawonya abatuuze bʼe Keyira.

6Mu biro ebyo Abiyasaali mutabani wa Akimereki bwe yaddukira eri Dawudi e Keyira, yagenda ne kkanzu eyʼobwakabona eyitibwa efodi.

7Sawulo nʼategeezebwa nti Dawudi agenze e Keyira, nʼayogera nti, “Katonda awaddeyo Dawudi mu mukono gwange, kubanga Dawudi yesibiddeyo, bwʼayingidde mu kibuga ekiriko wankaaki owʼemitayimbwa.”

8Awo Sawulo nʼakuŋŋaanya amaggye ge gonna okweteekerateekera olutalo, nʼaserengeta e Keyira okuzingiza Dawudi ne basajja be.

9Dawudi nʼategeera nga Sawulo ateekateeka okumukola akabi, nʼagamba Abiyasaali kabona nti, “Leeta ekkanzu eyʼobwakabona eyitibwa efodi wano.”

10Awo Dawudi nʼayogera nti, “Ayi Mukama Katonda wa Isirayiri, omuweereza wo awuliridde ddala Sawulo bwʼateekateeka okujja okusaanyaawo ekibuga Keyira ku lwange.

11Abatuuze bʼe Keyira balimpaayo gyʼali? Era Sawulo anaaserengeta nʼajja, ngʼomuweereza wo bwʼawulidde? Ayi Mukama, Katonda wa Isirayiri, nkwegayiridde, tegeeza omuweereza wo.”

11Mukama nʼamugamba nti, “Aliserengeta.”

12Dawudi nʼaddamu nʼabuuza nti, “Abasajja bʼe Keyira balimpaayo nze nʼabasajja bange eri Sawulo?” Mukama nʼamuddamu nti, “Balibawaayo gyʼali.”

13Awo Dawudi nʼabasajja be, abawera nga lukaaga ne bava e Keyira, ne batambulatambulanga wano ne wali nga tebalina kifo kyankalakkalira. Sawulo bwe yategeezebwa nga Dawudi adduse okuva mu Keyira, nʼatagendayo.

14 Dawudi nʼabeera mu bifo ebyʼeddungu, mu nsi eyʼensozi mu ddungu eryʼe Zifu. Sawulo nʼanoonyanga Dawudi buli lunaku, naye Katonda nʼatamuwaayo mu mukono gwe.

15Dawudi ngʼali mu ddungu eryʼe Zifu mu kibira kyʼe Kolesi, nʼategeera nga Sawulo amunoonya okumutta.

16Awo Yonasaani mutabani wa Sawulo nʼagenda eri Dawudi mu kibira, Kolesi, okumugumya mu Mukama.

17 Nʼamugamba nti, “Totya, kubanga kitange Sawulo talikukola kabi nʼakamu. Gwe oliba kabaka wa Isirayiri, nze ne mbeera omumyuka wo, era nʼekyo kitange akimanyi.”

18 Awo bombi ne bakola endagaano mu maaso ga Mukama, nʼoluvannyuma Yonasaani nʼaddayo ewuwe, Dawudi nʼasigala mu kibira.

19Awo abʼe Zifu ne bambuka eri Sawulo e Gibea ne bamutegeeza nti, “Okimanyi nga Dawudi yeekwese mu ffe mu kibira kyʼe Kolesi, ku lusozi Kakira oluli ku luuyi olwʼobukiikaddyo obwa Yesimoni?

20 Kaakano, ayi kabaka, serengeta mu bbanga lyonna lyʼonoosiima, tujja kumuwaayo gyʼoli.”

21Sawulo nʼabaddamu nti, “Mukama abawe omukisa, olwʼokunkwatirwa ekisa.

22Mugende mweyongere okwetegereza, mumanye, mulabe nʼebifo gyʼatera okutambulira, nʼabamulabayo, kubanga bantegeeza nti mujagujagu nnyo.

23Noolwekyo munoonye mu bifo mwe yeekweka munkomezeewo amawulire amakakafu. Bwʼanaabeera mu kitundu ekyo ekyʼensi nnaagenda nammwe munoonye mu bika byonna ebya Yuda.”

24Awo ne bagolokoka ne bakulemberamu Sawulo ne bagenda e Zifu. Mu biro ebyo Dawudi nʼabasajja be baali mu ddungu eryʼe Mawoni mu Alaba ku luuyi olwʼobukiikaddyo obwa Yesimoni.

25 Awo Sawulo nʼabasajja be ne bagenda okumunoonya. Dawudi nʼakiwulira, kyeyava aserengeta awali olwazi mu ddungu eryʼe Mawoni nʼabeera eyo. Sawulo bwe yakiwulira nʼagenda mu ddungu eryʼe Mawoni okumunoonya.

26Sawulo nʼayambukira ku luuyi olumu olwʼolusozi, Dawudi ne basajja be ne bambukira ku luuyi olulala, nga banguwa okudduka Sawulo. Naye Sawulo ne basajja be bwe baali nga banaatera okuzingiza Dawudi nʼabasajja be,

27 ne wajja omubaka eri Sawulo ngʼagamba nti, “Yanguwako! Abafirisuuti balumbye ensi.”

28Awo Sawulo nʼalekayo okunoonya Dawudi, nʼagenda okulwanyisa Abafirisuuti. Ekifo ekyo kyekyava kituumibwa Serakammalekosi.

29 Awo Dawudi nʼavaayo nʼagenda nʼabeera mu bifo ebya Engedi.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
div>