1Awo Sawulo bwe yakomawo ngʼava okugoba Abafirisuuti, ne bamutegeeza nti, “Dawudi ali mu ddungu erya Engedi.”
2Sawulo nʼalonda abasajja enkumi ssatu okuva mu Isirayiri yenna, nʼagenda nabo okunoonya Dawudi nʼabasajja be, ku luuyi olwʼenjazi embulabuzi gye Zaabeeranga.
3
4Awo abasajja ba Dawudi ne bamugamba nti, “Luno lwe lunaku Mukama lwe yayogerako bwe yagamba nti, ‘Ndiwaayo omulabe wo mu mukono gwo, omukole nga bwʼosiima.’ ” Dawudi nʼasooba mpola nʼasala ku kirenge kyʼekyambalo kya Sawulo.
5
6Nʼagamba abasajja be nti, “Kikafuuwe, nze okukola mukama wange ekintu ekifaanana bwe kityo, Mukama gwe yafukako amafuta, wadde okumugololerako omukono, kubanga Mukama yamufukako amafuta.”
7
8Oluvannyuma, Dawudi naye nʼafuluma empuku, nʼakoowoola Sawulo ngʼayogera nti, “Mukama wange kabaka!” Awo Sawulo nʼakyuka nʼatunula emabega, Dawudi nʼavuunama nʼakka wansi ne yeeyala ku ttaka.
9
10Leero okirabye nʼamaaso go, Mukama bwʼakumpadde mu mukono gwange ngʼoli mu mpuku. Wabaddewo ababadde banneegayirira nkutte, naye ne sibawuliriza. Nagambye nti, ‘Sijja kugolola mukono gwange ku mukama wange, kubanga Mukama yamufukako amafuta.’
11
12Mukama alamule wakati wange naawe. Mukama akusasule ngʼebikolwa ebibi byonna byʼonkoze bwe biri, naye nze siriyimusa mukono gwange ku ggwe.
13
14
15
16Awo Dawudi bwe yamala okwogera ebigambo ebyo, Sawulo nʼabuuza nti, “Eryo ddoboozi lyo, Dawudi mutabani wange?” Sawulo nʼakuba ebiwoobe.
17
18Leero ontegeezezza bwʼonkoze obulungi, bwʼotanzise ate nga Mukama yampaddeyo mu mukono gwo.
19Omuntu bwʼasiŋŋaana omulabe we, ayinza okumuganya okugenda nga tamutuusizzaako bisago? Kale Mukama akusasule bulungi olwʼekikolwa kyʼonkoze leero.
20Kaakano ntegeeredde ddala ngʼonoobeera kabaka, era nʼobwakabaka bwa Isirayiri bulinywezebwa mu mukono gwo.
21
22Awo Dawudi nʼalayirira Sawulo. Sawulo nʼaddayo ewuwe, naye Dawudi ne basajja be ne baddayo mu kifo gye baali beekwese.