1 Samwiri 25:1-44 LGCB2014 - Bible AI

1 Awo Samwiri nʼafa, Isirayiri yenna ne bakuŋŋaana okumukungubagira. Ne bamuziika ewuwe e Laama. Awo Dawudi nʼavaayo nʼaserengeta mu ddungu Palani.

2 Mu biro ebyo waaliwo omusajja omugagga ennyo mu Mawoni eyalina ebyʼobugagga e Kalumeeri. Yalina endiga enkumi ssatu nʼembuzi lukumi. Byali biseera bya kusala byoya ebyʼendiga ze, e Kalumeeri.

3 Erinnya lyʼomusajja ye yali Nabali, ne mukyala we nga ye Abbigayiri. Yali mukyala mutegeevu era nga mulungi, nga bwʼomutunuulira alabika bulungi, naye bba Omukalebu, nga wa kkabyo kyokka nga mukalabakalaba mu mirimu gye.

4 Nabali yali ngʼasala ebyoya byʼendiga ze, Dawudi nʼakiwulira.

5Dawudi nʼatuma abavubuka kkumi, nʼabagamba nti, “Mwambuke e Kalumeeri eri Nabali mumulamuse mu linnya lyange.

6 Mumugambe nti, Emirembe gibeere ku ggwe nʼennyumba yo, ne ku bintu byo byonna.

7“Mpulira nti ekiseera ekyʼokusala ebyoya byʼendiga kituuse. Abasumba bo bwe baabeeranga awamu naffe, tetwabayisanga bubi, era nʼebbanga lyonna lye baamala e Kalumeeri tewali na kimu ku bintu byabwe ekyabula.

8 Buuza abaweereza bo, be bajulirwa. Noolwekyo abavubuka bange balabe ekisa mu maaso go kubanga bazze mu kiseera ekyʼokukwatiramu embaga. Nkusaba obawe kyonna kyʼolinawo, oweerezeeko ne mutabani wo Dawudi.”

9Awo abasajja ba Dawudi bwe baatuuka, ne bawa Nabali obubaka obwo mu linnya lya Dawudi, ne balindirira.

10 Nabali nʼaddamu abaweereza ba Dawudi nti, “Dawudi oyo ye ani? Mutabani wa Yese oyo ye ani? Ennaku zino abaweereza bangi badduka ku bakama baabwe.

11Nnyinza ntya okuddira emigaati gyange, nʼamazzi, nʼennyama bye ntekeddeteekedde abasajja bange abasala ebyoya ne mbiwa be sirina kye mbamanyiiko?”

12Awo abasajja ba Dawudi ne bakyuka ne baddayo ne bamutegeeza buli kigambo nga bwe bategeezebbwa.

13Dawudi nʼagamba abasajja be nti, “Mwesibe buli muntu ekitala kye!” Buli omu ku bo ne yeesiba ekitala kye, ne Dawudi ne yeesiba ekikye, abasajja nga bikumi bina ne bayambuka ne Dawudi, ebikumi bibiri ne basigala nga bakuuma ebyʼokukozesa.

14Omu ku baddu ba Nabali nʼagamba Abbigayiri mukyala wa Nabali nti, “Dawudi yatuma ababaka ngʼali mu ddungu okulamusa mukama waffe naye nʼabavuma;

15ate nga abasajja abo baali ba kisa nnyo gye tuli, era tebalina kabi ke baatukola newaakubadde okubuza ekintu nʼekimu ku bintu byaffe bwe twali mu ddungu nabo.

16 Baaberanga ngʼekisenge okutwetooloola emisana nʼekiro, ekiseera kyonna kye twamala nabo nga tulunda endiga.

17 Kaakano kifumiitirizeeko, olabe kyʼoyinza okukola, kubanga akabi kajjidde mukama waffe nʼennyumba ye yonna. Musajja atabuulirirwa.”

18 Awo amangwago Abbigayiri nʼayanguwa nʼaddira emigaati ebikumi bibiri, nʼebita bibiri ebya wayini, nʼennyama eyʼendiga ttaano ennongoose obulungi, nʼebigero bitaano ebyʼeŋŋaano ensiike, nʼebitole kikumi ebyʼezabbibu enkalu, nʼebitole ebikumi bibiri ebyʼettiini, nʼabiteeka ku ndogoyi.

19 Nʼagamba abaweereza be nti, “Munkulemberemu, nange nzija.” Naye nʼatabuulirako bba Nabali.

20Awo bwe yali yeebagadde endogoyi ye, nʼayita kumpi nʼolusozi nga lumukweka. Nʼasisinkana Dawudi nʼabasajja be nabo nga baserengeta okumwolekera.

21 Dawudi yali yakamala okwogera nti, “Nakuumira bwereere ebintu byonna ebyʼomusajja ono bwe byali mu ddungu ne wataba na kimu ekyabula; bwʼatyo bwʼansasudde, obubi olwʼobulungi.

22 Kale Katonda akole bwʼatyo abalabe ba Dawudi nʼokukirawo, enkeera bwe wanaabaawo omusajja we nʼomu anaasigala nga mulamu.”

23 Awo Abbigayiri bwe yalengera Dawudi, nʼayanguwa okuva ku ndogoyi ye, nʼavuunama mu maaso ga Dawudi.

24Nʼagwa ku bigere bye nʼayogera nti, “Mukama wange omusango gubeere ku nze nzekka. Nkwegayiridde leka omuweereza wo ayogere naawe; wuliriza omuweereza wo kyʼanaayogera.

25Mukama wange aleme okussa omwoyo ku musajja omusirusiru oyo Nabali, kubanga nʼerinnya lye litegeeza musirusiru, atambulira mu busirusiru bwe. Naye nze omuweereza wo, ssaalabye bavubuka mukama wange be watumye.

26 “Kale nno mukama wange, nga Mukama bwʼali omulamu, akubedde obutayiwa musaayi newaakubadde obutawalana ggwanga nʼomukono gwo, era naawe bwʼoli omulamu, abalabe bo, nʼabo abakuyigganya bonna mukama wange babeere nga Nabali.

27 Era nʼekirabo kino omuweereza wo kyʼaleetedde mukama wange kiweebwe abavubuka abatambula ne mukama wange.

28 Nkwegayiridde osonyiwe ekyonoono kwʼomuweereza wo, era Mukama talirema kuzimbira mukama wange obwakabaka obwʼenkalakkalira, kubanga mukama wange alwana entalo za Mukama. Waleme okulabika ekikolwa ekikyamu kyonna mu ggwe ennaku zonna ezʼobulamu bwo.

29 Ne bwe walibaawo omuntu yenna alikulumba okukuyigganya okutwala obulamu bwo, obulamu bwa mukama wange bukuumibwenga Mukama Katonda wo mu lulyo olwʼabalamu. Naye obulamu bwʼabalabe bo alibuvuumuula ngʼejjinja bwe liva mu nvuumuulo.

30Awo Mukama bwʼalikolera mukama wange ebirungi byonna bye yamusuubiza, era nʼamufuula okuba omukulembeze wa Isirayiri,

31mukama wange talibeera na kulumirizibwa mu mutima olwʼokuyiwa omusaayi awatali nsonga, wadde okwewalanira eggwanga. Era Mukama bwʼalikukolera ebirungi mukama wange, ojjukiranga omuweereza wo.”

32 Awo Dawudi nʼagamba Abbigayiri nti, “Mukama Katonda wa Isirayiri atenderezebwe, akutumye okujja okunsisinkana leero.

33Akuwe omukisa oyo akubedde okusalawo obulungi, era akubedde okundabula obutayiwa musaayi leero nʼobuteewalanira ggwanga.

34Kubanga mazima ddala nga Mukama Katonda wa Isirayiri bwʼali omulamu, ambedde obutakukolako kabi, singa toyanguye kujja kunsisinkana, tewandibadde musajja nʼomu owa Nabali eyandiwonyeewo, obudde we bwandikeeredde enkya.”

35 Awo Dawudi nʼakkiriza okutwala Abbigayiri bye yaleeta, nʼayogera nti, “Genda ewuwo mirembe. Mpulidde ebigambo byo, era nzikkirizza okwegayirira kwo.”

36 Awo Abbigayiri bwe yaddayo eri Nabali, nʼamusanga ngʼali mu nnyumba, era ngʼakoze embaga, ngʼeya kabaka. Yali asanyuukiridde nnyo, era ngʼatamidde, kyeyava tamunyega ku olwo, okutuusa enkeera.

37Awo bwe bwakya, Nabali omwenge nga gumuweddeko, mukyala we nʼamutegeeza ebigambo ebyo byonna, naye omutima gwe ne gukakanyala, ne guba ngʼejjinja.

38Oluvannyuma lwʼennaku nga kkumi, Nabali nʼafa ekikutuko.

39 Awo Dawudi bwe yawulira Nabali ngʼafudde, nʼayogera nti, “Mukama yeebazibwe anwaniridde, Nabali olwʼobubi bwe yankola. Mukama ambedde, era akuumye omuweereza we obutakola kikyamu, nʼateeka ebikolwa bya Nabali ebibi ku mutwe ggwe.” Awo Dawudi nʼatumira Abbigayiri, nʼamusaba afuuke mukazi we ngʼamusaba okumuwasa.

40Abaweereza ba Dawudi ne bagenda e Kalumeeri ne bagamba Abbigayiri nti, “Dawudi atutumye tukutwale omufumbirwe.”

41 Nʼavuunama amaaso ge nʼayogera nti, “Laba omuweereza wo mweteefuteefu okunaazanga ebigere byʼabaweereza ba mukama wange.”

42Awo Abbigayiri nʼayanguwa okwebagala endogoyi, ngʼawerekeddwako abaweereza bataano, nʼagenda nʼababaka ba Dawudi, nʼamufumbirwa.

43 Dawudi yali awasizza ne Akinoamu[28] owʼe Yezuleeri, era bombi ne baba bakyala be.

44 Kyokka Sawulo yali agabidde muwala we Mikali, eyali mukyala wa Dawudi, Paluti mutabani wa Layisi owʼe Galimu.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
div>