1 Samwiri 26:1-25 LGCB2014 - Bible AI

1Awo abʼe Zifu ne bagenda eri Sawulo e Gibea ne bamugamba nti, “Olowooza nga Dawudi teyeekwese ku lusozi Kakira, ku luuyi olwʼebuvanjuba olwolekera eddungu Yesimoni?”

2Awo Sawulo nʼabasajja abolondemu enkumi ssatu aba Isirayiri, ne bagolokoka ne baserengeta mu ddungu eryʼe Zifu, okunoonya Dawudi.

3Sawulo nʼasiisira ku mabbali gʼekkubo ku lusozi Kakira okwolekera eddungu, naye Dawudi nʼasigala mu ddungu. Awo bwe yalaba Sawulo ngʼamugoberedde mu ddungu,

4nʼatuma abakessi okukakasiza ddala obanga Sawulo yali atuuse.

5Dawudi nʼagolokoka nʼagenda mu kifo Sawulo we yali asiisidde. Nʼalaba Sawulo ne Abuneeri mutabani wa Neeri omuduumizi wʼeggye, we baali beebase. Sawulo yali yeebase wakati mu lusiisira, ngʼeggye limwetoolodde.

6 Awo Dawudi nʼabuuza Akimereki Omukiiti ne Abisaayi muganda wa Yowaabu, mutabani wa Zeruyiya[29] nti, “Ani anaaserengeta nange, tugende mu lusiisira lwa Sawulo?” Abisaayi nʼaddamu nti, “Nze nʼaserengeta naawe.”

7Awo Dawudi ne Abisaayi ne bagenda mu lusiisira ekiro, ne basanga Sawulo nga yeebase wakati mu lusiisira, effumu lye nga lisimbiddwa mu ttaka emitwetwe we. Abuneeri nʼabaserikale baali beebase okumwetooloola.

8Abisaayi nʼagamba Dawudi nti, “Leero, Katonda awaddeyo omulabe wo mu mukono gwo. Kale nno mpa olukusa mmufumitire wansi awo nʼeffumu. Siimufumite gwakubiri.”

9Naye Dawudi nʼaddamu Abisaayi nti, “Tomuzikiriza, kubanga ani ayinza okugolola omukono gwe okutta oyo Mukama gwe yafukako amafuta, nʼataba na musango?

10 Mukama nga bwʼali omulamu, Mukama yennyini yali mukuba. Luliba lumu, olunaku lwe lulituuka nʼafa, oba aligenda mu lutalo nʼazikiririra eyo.

11Kikafuuwe nze okugolola omukono gwange okutta oyo Mukama gwe yafukako amafuta. Naye ddira effumu nʼeccupa eyʼamazzi ebiri emitwetwe we obisitule tugende.”

12 Awo Dawudi nʼaggyawo effumu nʼeccupa eyʼamazzi ebyali emitwetwe wa Sawulo ne bagenda. Tewali yabalaba newaakubadde okukitegeera, wadde okusisimuka, kubanga bonna Mukama yali abeebasiza otulo tungi nnyo.

13Nʼoluvannyuma Dawudi nʼasomoka nʼagenda emitala, nʼayimirira walako ku ntikko eyʼolusozi, nga wakati waabwe waliwo ekibangirizi kinene.

14Nʼakoowoola eggye ne Abuneeri mutabani wa Neeri ngʼayogera nti, “Tonziremu gwe Abuneeri?” Abuneeri nʼaddamu nti, “Ggwe ani alangiriza kabaka?”

15Awo Dawudi nʼagamba Abuneeri nti, “Oli musajja muzira, si bwe kiri? Ani akwenkana mu Isirayiri? Kiki ekyakulobedde okukuuma obulungi mukama wo kabaka? Kubanga waabaddewo omuntu eyazze okuzikiriza mukama wo kabaka.

16Ekyo kye wakoze si kirungi. Nga Mukama bwʼali omulamu, ggwe nʼabasajja bo musaana kufa, olwʼobulagajjavu bwammwe, kubanga temwakuumye mukama wammwe, Mukama gwe yafukako amafuta. Mutunule mwetegereze; effumu lya kabaka nʼeccupa eyʼamazzi ebyabadde emitwetwe wa kabaka biri ludda wa?”

17Sawulo nʼategeera nga ddoboozi lya Dawudi, nʼabuuza nti, “Ye ggwe mutabani wange Dawudi?” Dawudi nʼaddamu nti, “Ye nze mukama wange kabaka.”

18Dawudi nʼamubuuza nti, “Lwaki oyigganya omuweereza wo? Nakola ki, era musango ki gwe nazza?

19 Kaakano nno, mukama wange kabaka wuliriza ebigambo byʼomuweereza wo. Obanga Mukama ye yakusindise okunjigganya, akkirize ekiweebwayo. Naye bwe baba nga baana ba bantu, bakolimirwe mu maaso ga Mukama, kubanga leero bangobye nneme okugabana mu busika bwa Mukama nga bagamba nti, ‘Genda oweereze bakatonda abalala.’

20Kale nno omusaayi gwange guleme okuyiyibwa wansi ewala Mukama gyʼatabeera. Kabaka wa Isirayiri avuddeyo okunoonya enkukunyi, ngʼomuntu bwe yandiyizze enkwale mu nsozi.”

21Awo Sawulo nʼayogera nti, “Nnyonoonye. Komawo mutabani wange Dawudi. Sigenda kuddamu kugezaako kukukolako kabi nʼakamu, kubanga leero ondaze, obulamu bwange bwe buli obwʼomuwendo mu maaso go. Laba neeyisizza ngʼomusirusiru, era nnyonoonye ekiyitiridde.”

22Dawudi nʼaddamu nti, “Effumu lya kabaka liirino. Tuma omu ku bavubuka bo ajje aliddukire.

23 Mukama asasula buli muntu ngʼobutuukirivu bwe nʼobwesigwa bwe, bwe biri. Mukama yakuwaddeyo mu mukono gwange leero, naye ne sigolola mukono gwange ku oyo Mukama gwe yafukako amafuta.

24Nga bwe mbaliridde obulamu bwo okuba obwʼomuwendo leero, kale obulamu bwange bubeere bwa muwendo mu maaso ga Mukama, era andokole mu bizibu byonna.”

25 Awo Sawulo nʼaddamu nti, “Oweebwe omukisa mutabani wange Dawudi. Olikola ebintu ebikulu bingi era oliraba omukisa mu byo.” Awo Dawudi nʼagenda amakubo ge, ne Sawulo ne yeddirayo ewuwe.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
div>