1Dawudi nʼafumiitiriza mu mutima gwe ngʼagamba nti, “Luliba lumu Sawulo nʼanzita. Ekisinga obulungi kwe kuddukira mu nsi yʼAbafirisuuti. Awo nno Sawulo anaalekeraawo okunnoonyeza mu Isirayiri, era bwe ntyo bwe nzija okumuwona.”
2Awo Dawudi nʼabasajja lukaaga ne basitula ne bagenda eri kabaka Akisi mutabani wa Mawoki owʼe Gaasi.
3Dawudi nʼabasajja be ne basenga mu Gaasi ewa Akisi, buli musajja ne nnyumba ye yonna, ne Dawudi nʼabakyala be bombi, Akinoamu Omuyezuleeri ne Abbigayiri Omukalumeeri, nnamwandu wa Nabali.
4Awo Sawulo bwe yategeezebwa nga Dawudi yaddukira e Gaasi nʼalekeraawo okumunoonya.
5Awo Dawudi nʼagamba Akisi nti, “Obanga ndabye ekisa mu maaso go, wabeewo ekifo ekiba kimpebwa mu kimu ku bibuga ebitonotono, ntuule eyo. Lwaki omuweereza wo abeera naawe mu kibuga ekikulu ekyʼobwakabaka?”
6
7Dawudi nʼabeera mu nsi eyʼAbafirisuuti okumala omwaka gumu nʼemyezi ena.
8
9Dawudi buli lwe yalumbanga ekitundu, teyalekangawo musajja newaakubadde omukazi, naye yatwalanga endiga, nʼente, endogoyi nʼeŋŋamira, nʼengoye; nʼoluvannyuma nʼaddayo eri Akisi.
10
11Teyalekangawo musajja newaakubadde omukazi nga mulamu okubaleeta e Gaasi, kubanga yalowooza nti, “Bakyayinza okutuloopa, nga boogera nti, ‘Dawudi akola kino na kino.’ ” Era eyo ye yali ngʼempisa ye, ebbanga lyonna lye yabeera mu nsi eyʼAbafirisuuti.
12Akisi ne yeesiga Dawudi, nʼayogera mu mutima gwe nti, “Alabika yeetamiddwa abantu be Abayisirayiri, kale kyanaava afuuka omuweereza wange emirembe gyonna.”