1
2Dawudi nʼayogera nti, “Olwo nno ojja kwerabirako omuweereza wo kyayinza okukola.” Akisi nʼaddamu nti, “Weewaawo, nzija kukufuula omukuumi wange owʼoku lusegere ennaku zonna ezʼobulamu bwange.”
3
4
5
6
7
8
9Naye omukazi nʼamugamba nti, “Omanyi bulungi Sawulo kye yakola, bwe yazikiriza era nʼagoba abafumu nʼabalogo mu nsi. Kale lwaki oteeka obulamu bwange mu katego nʼoyagala okunzisa?”
10Sawulo nʼamulayirira eri Mukama ngʼagamba nti, “Amazima ddala, nga Mukama bwʼali omulamu, tolibonerezebwa olwa kino.”
11Awo omukazi nʼamubuuza nti, “Ani gwe mba nkuyimusiza?” Nʼaddamu nti, “Nyimusiza Samwiri.”
12Omukazi bwe yalaba Samwiri, nʼayogerera waggulu, nʼagamba Sawulo nti, “Lwaki onimbye? Ggwe Sawulo!”
13Awo kabaka nʼamugamba nti, “Totya. Kiki kyʼolaba?” Omukazi nʼaddamu nti, “Ndaba omwoyo nga guyimuka okuva mu ttaka.”
14Sawulo nʼamubuuza nti, “Gufaanana ani?” Nʼaddamu nti, “Omusajja omukadde nga yeebisseeko omunagiro yʼavaayo.” Awo Sawulo nʼategeera nga ye Samwiri, nʼavuunama amaaso ge, ne yeeyala ku ttaka.
15
16Samwiri nʼamubuuza nti, “Ombuuliza ki, Mukama ngʼamaze okukuvaako nʼokufuuka omulabe wo?
17Mukama atuukirizza kye yayogera ngʼayita mu nze. Mukama akuggyeeko obwakabaka bwo, nʼabuwa omu ku baliraanwa bo, Dawudi.
18
19
20Awo Sawulo nʼagwira ddala wansi ekigwo kya bugazi, ngʼajjudde okutya olwʼebigambo Samwiri bye yayogera. Nʼataba na maanyi kubanga yali talina kyʼalidde olunaku olwo lwonna nʼekiro ekyakeesa olunaku olwo.
21Awo omukazi nʼasembera okumpi ne Sawulo, nʼalaba ngʼatidde, nʼamugamba nti, “Laba, omuweereza wo akugondedde, ne mpaayo obulamu bwange, nʼenkola kye wansabye.
22Kaakano nkwegayiridde owulirize omuweereza wo, okkirize nkuwe ku mmere olyeko ofune amaanyi okukwata olugendo lwo.”
23Nʼagaana nʼayogera nti, “Sijja kulya.”
24Omukazi yalinawo ennyana ensava, nʼagiteekateeka mu bwangu. Nʼateekateeka nʼeŋŋaano, nʼakanda obuwunga, nʼafumba emigaati egitali mizimbulukuse.
25Nʼalyoka abiteeka mu maaso ga Sawulo ne basajja be, ne balya. Nʼoluvannyuma ekiro ekyo ne bagolokoka ne beetambulira.