1ⓤ Awo Abafirisuuti ne bakuŋŋaanyiza eggye lyabwe lyonna e Afeki, nʼAbayisirayiri ne basiisira ku luzzi oluli mu Yezuleeri.
2Abakulembeze bʼAbafirisuuti bwe baali nga bakumba nʼebibinja byabwe ebyʼebikumi nʼebyʼenkumi, Dawudi nʼabasajja be ne babagoberera nga babavaako emabega wamu ne Akisi.
3Abaduumizi bʼAbafirisuuti ne babuuza nti, “Ate bano Abaebbulaniya bakola ki wano?”
3Akisi nʼabaddamu nti, “Oyo ye Dawudi, omukungu wa Sawulo kabaka wa Isirayiri. Abadde nange okusukka mu mwaka, era okuva ku lunaku lwe yayabulira Sawulo nʼokutuusa leero, sirabanga nsonga ku ye.”
4ⓥ Naye abaduumizi bʼAbafirisuuti ne bamunyiigira ne bamugamba nti, “Sindika omusajja oyo addeyo mu kifo kye wamuwa. Tasaanye kugenda naffe mu lutalo, si kulwa nga atwefuukira wakati mu lutalo. Olowooza waliwo ekkubo eddala erisinga lino okumusobozesa okufuna okuganja eri mukama we bwʼamutwalira emitwe gyʼabasajja baffe?
5Oyo si ye Dawudi gwe baayimbangako, nga bazina, nga boogera nti,
6Awo Akisi nʼayita Dawudi nʼamugamba nti, “Amazima ddala nga Mukama bwʼali omulamu, obadde mwesimbu era eyeesigibwa, era nandyagadde oweerereze wamu nange mu magye. Okuva ku lunaku lwe wajja gye ndi nʼokutuusa leero sirabanga bukyamu mu ggwe, naye abakulu tebakusiimye.
7Noolwekyo ddayo kaakano, ogende mirembe oleme okwemulugunyizisa abafuzi bʼAbafirisuuti.”
8Awo Dawudi nʼamubuuza nti, “Naye nkoze ki? Nsonga ki gyʼolabye etali nnungi mu muweereza wo okuva ku lunaku lwe natandika okukuweereza nʼokutuusa leero? Kiki ekindobera okugenda okulwanyisa abalabe ba mukama wange kabaka?”
9ⓦ Akisi nʼamuddamu nti, “Mmanyi nga tolina nsonga nʼemu mu maaso gange nga malayika wa Katonda, naye abaduumizi bʼAbafirisuuti bagambye nti, ‘Tosaana kugenda naffe mu lutalo.’
10ⓧ Kaakano obudde bwe bunaakya onoogolokoka ggwe wamu nʼabasajja ba mukama wo, be wazze nabo, mugende ku makya obudde nga bwakalaba.”
11Awo Dawudi ne basajja be ne bagolokoka ku makya nnyo ne baddayo mu nsi eyʼAbafirisuuti, Abafirisuuti bo ne bambuka e Yezuleeri.