1
2
3Ettabaaza
4Awo Mukama nʼakoowoola Samwiri nti, “Samwiri, Samwiri!”
5Nʼadduka nʼagenda ewa Eri nʼamugamba nti, “Nze nzuuno, ompise.” Naye Eri nʼamuddamu nti, “Sikuyise, ddayo weebake.”
6Mukama nʼaddamu nʼamuyita, “Samwiri!” Samwiri nʼasituka nʼagenda eri Eri, nʼamugamba nti, “Nze nzuuno, ompise.” Naye Eri nʼamuddamu nti, “Sikuyise, mutabani, ddayo weebake.”
7Samwiri yali tannategeera nga Mukama yʼamuyita, nga nʼekigambo kya Mukama tekimubikkulirwanga.
8Mukama nʼaddamu nʼakoowoola Samwiri omulundi ogwokusatu, Samwiri nʼasituka nʼagenda eri Eri nʼamugamba nti, “Nzuuno, ompise.”
9Eri kyeyava agamba Samwiri nti, “Genda weebake, bwʼanaddamu okukuyita, oddamu nti, Yogera, Mukama, kubanga omuweereza wo awulira.” Awo Samwiri nʼagenda nʼagalamira mu kifo kye.
10Mukama nʼajja nate, nʼamukoowoola ngʼolubereberye nti, “Samwiri! Samwiri!” Samwiri nʼaddamu nti, “Yogera, Ayi Mukama kubanga omuweereza wo awulira.”
11Awo Mukama nʼagamba Samwiri nti, “Laba, ndi kumpi okukola ekigambo mu Isirayiri ekirireetera amatu ga buli muntu alikiwulira okuwaawaala.
12Ku lunaku olwo ndituukiriza ebyo byonna bye nnali njogedde ku nnyumba ya Eri.
13Namulabula nti Ndibonereza ennyumba ye ennaku zonna, olwʼobutali butuukirivu bwa batabani be abavvoola Katonda, nʼakimanya naye nʼatabaziyiza.
14Kyenva ndayirira ennyumba ya Eri nga ŋŋamba nti, ‘Omusango oguli ku nnyumba ya Eri tegulisonyiyibwa na ssaddaaka newaakubadde ekiweebwayo ennaku zonna.’ ”
15Samwiri nʼaddayo nʼagalamira okutuusa obudde lwe bwakya, nʼaggulawo enzigi ezʼennyumba ya Mukama. Nʼatya okutegeeza Eri okwolesebwa kwe yafuna,
16naye Eri nʼamuyita nʼamugamba nti, “Samwiri, mwana wange.” Nʼaddamu nti, “Nze nzuuno.”
17Eri nʼamubuuza nti, “Kiki kye yakugambye? Tokinkisa. Mukama akuleeteko ekibonerezo ekyʼamaanyi bwʼonoobaako ekigambo kyonna kyʼonkisizza ku ebyo bye yakugambye.”
18
19Mukama nʼabeera wamu ne Samwiri, nʼakula. Buli kigambo kye yayogera ku nnyumba ya Eri ne kituukirira.
20Isirayiri yenna okuva mu Ddaani okutuuka e Beeruseba ne bategeera nga Samwiri ateekeddwawo okuba nnabbi wa Mukama.
21Mukama ne yeeyongeranga okweyolekera Samwiri mu Siiro.