1 Samwiri 30:1-31 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Dawudi ne basajja be bwe baatuuka e Zikulagi, nga wayiseewo ennaku ssatu, baasanga Abamaleki baalumbye obukiikaddyo mu ddungu; ne Zikulagi, baali bakikumyeko omuliro.

2Baali batutte abakazi nga basibe, ne bonna abaalimu, abato era nʼabakulu. Tewaali nʼomu ku bo gwe batta, wabula okubawamba ne babatwala.

3 Dawudi ne basajja be bwe baatuuka mu kibuga, baasanga kyokebbwa, era abakazi baabwe nʼabaana baabwe aboobulenzi nʼaboobuwala nga nabo bawambiddwa.

4 Awo Dawudi ne bonna abaali awamu naye ne bakaaba nnyo okutuusa lwe baggweeramu ddala agakaaba.

5Abakyala ba Dawudi bombi, Akinoamu Omuyezuleeri ne Abbigayiri nnamwandu wa Nabali Omukalumeeri, nabo baali babatutte.

6 Mu kiseera ekyo Dawudi nʼanakuwala nnyo kubanga basajja be baali boogera ku kumukuba amayinja, buli omu nga munyiikaavu mu mutima olwa batabani baabwe ne bawala baabwe abaali batwalibbwa. Naye Dawudi nʼafuna amaanyi okuva eri Mukama Katonda we.

7Dawudi nʼagamba Abiyasaali kabona, mutabani wa Akimereki nti, “Ndeetera ekkanzu eyʼobwakabona eyitibwa efodi.” Awo Abiyasaali nʼagimuleetera.

8Dawudi ne yeebuuza ku Mukama nti, “Ngoberere ekibinja ekyo, nnaabakwata?” Nʼamuddamu nti, “Bagoberere, kubanga ojja kusobola okununula abawambe bonna.”

9Awo Dawudi nʼabasajja lukaaga ne batuuka ku kagga Besoli, abamu ku bo ne basigala awo,

10kubanga ebikumi bibiri ku bo baali bakooye nnyo nʼokuyinza nga tebayinza kusomoka kagga. Naye Dawudi nʼabalala ebikumi bina ne banyiikira okugoberera omulabe, ebikumi ebibiri ne basigala ku kagga nga bakooye.

11Ne basanga Omumisiri mu nnimiro ne bamuleeta eri Dawudi. Ne bamuwa amazzi okunywa, nʼemmere nʼalya,

12 ne bamuwa ekitole ekyʼettiini nʼebirimba bibiri ebyʼezabbibu enkalu. Nʼalya nʼaddamu amaanyi, kubanga yali amaze ennaku ssatu, emisana nʼekiro nga talidde ku mmere wadde okunywa ku mazzi.

13 Awo Dawudi nʼamubuuza nti, “Oli wʼani era ova wa?” Nʼaddamu nti, “Ndi Mumisiri, omuweereza wʼOmwamaleki. Mmaze ennaku ssatu nga ndi mulwadde muyi era mukama wange kyeyavudde ansuula wano.

14 Twalumba obukiikaddyo obwʼAbakeresi[32], nʼensi ya Yuda nʼobukiikaddyo obwa Kalebu, ne twokya ne Zikulagi.”

15 Dawudi nʼamubuuza nti, “Oyinza okuntwala eri ekibinja ekyo ekyalumbye?” Nʼamuddamu nti, “Ssooka ondayirire Katonda, nga tolinzita so tolimpaayo eri mukama wange, ndyoke nkuserengese gye bali.”

16 Nʼabakulembera nʼabatwalayo, era laba, nga basaasaanye mu kifo kyonna ku ttale, nga balya, nga banywa, nga bazina olwʼomunyago omunene gwe baggya mu nsi eyʼAbafirisuuti, ne mu nsi ya Yuda.

17Dawudi nʼatandika okubatta okuva akawungeezi okutuusa enkeera, ne watawonawo nʼomu, okuggyako abavubuka ebikumi bina abeebagala eŋŋamira ne badduka.

18Dawudi nʼakomyawo byonna Abamaleki bye baali banyaze, ngʼomwo mwe muli ne bakyala be ababiri abaali bawambiddwa.

19Ne watabaawo na kimu ekyabula, oba kitono oba kinene, newaakubadde abaana aboobulenzi oba aboobuwala, nʼomunyago na buli kintu kyonna ku ebyo bye baatwala. Dawudi yakomyawo buli kimu.

20Nʼatwala ebisibo byonna nʼamagana gonna, abasajja be ne babikulembeza ebisolo ebirala byonna, nga bwe boogera nti, “Guno gwe munyago gwa Dawudi.”

21Awo Dawudi nʼaddayo eri bali ebikumi ebibiri abaali bakooye ennyo, nga tebayinza kumugoberera, abaasigala ku kagga Besoli. Ne bavaayo okusisinkana Dawudi nʼabantu abaali naye, nʼabalamusa.

22 Naye abamu ku basajja abaagenda ne Dawudi abaali ababi nʼabalala nga bafujjo, ne boogera nti, “Tetujja kugabana nabo munyago gwe twasuuzizza omulabe, kubanga tebaagenze naffe. Wabula, buli musajja addizibwe mukazi we nʼabaana be agende.”

23Naye Dawudi nʼaddamu nti, “Nedda baganda bange, temusaana kukola bwe mutyo, Mukama byʼatuwadde. Atukuumye era nʼawaayo mu mukono gwaffe ekibinja ekyatulumbye.

24 Ani anaabawuliriza ku nsonga eyo? Omuntu eyagenze mu lutalo kyʼanaagabana, kinaaba kyekimu nʼekyʼoli eyasigadde ngʼakuuma ebintu ebikozesebwa. Bonna banaagabana kyenkanyi.”

25Ekyo Dawudi nʼakifuula etteeka nʼempisa mu Isirayiri ne leero.

26Awo Dawudi bwe yatuuka mu Zikulagi, nʼaweereza abakadde ba Yuda ebimu ku bintu ebyʼomunyago, abaali mikwano gye, ngʼagamba nti, “Ekyo kirabo okuva ku munyago gwʼabalabe ba Mukama.”

27Yakiweereza abʼe Beseri, abaali mu bukiikaddyo mu Lamosi nʼabʼe Yattiri,

28 abʼe Aloweri, nʼe Sifumosi, nʼe Esutemoa;

29 nʼe Lakali, nʼabaali mu bibuga ebyʼAbayerameeri, ne mu bibuga ebyʼAbakeeni;

30 nʼe Koluma, nʼe Kolasani nʼe Asaki;

31 nʼe Kebbulooni, ne bonna abaali mu bifo byonna Dawudi ne basajja be gye baatambuliranga.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
div>