1 Samwiri 31:1-13 LGCB2014 - Bible AI

1 Mu kiseera kyekimu Abafirisuuti baali balwana ne Isirayiri. Abasajja ba Isirayiri ne badduka Abafirisuuti, bangi ku bo ne battibwa ku Lusozi Girubowa.

2Abafirisuuti ne banyiikira okugoberera Sawulo ne batabani be, era ne batta Yonasaani, ne Abinadaabu ne Malukisuwa.

3 Olutalo Sawulo ne lumuba bubi, abalasi abʼobusaale ne bamuzingiza era ne bamuleetako ekiwundu kinene.

4 Awo Sawulo nʼagamba eyasitulanga ebyokulwanyisa bye nti, “Sowola ekitala kyo onfumite, abatali bakomole abo baleme okunkwata ne bambonyaabonya nʼokunswaza ne banswaza.” Naye eyasitulanga ebyokulwanyisa bye nʼatya era nʼagaana okukikola. Sawulo kyeyava asowola ekitala kye ne yetta.

5Awo eyasitulanga ebyokulwanyisa bye bwe yalaba nga Sawulo afudde, nʼasowola ekitala kye naye ne yetta.

6Sawulo bwʼatyo, ne batabani be abasatu, nʼeyasitulanga ebyokulwanyisa bye ne basajja be bonna ne bafa ku lunaku olwo lwe lumu.

7Awo Abayisirayiri abaali emitala wʼekiwonvu nʼabo abaali emitala wa Yoludaani bwe baalaba ngʼeggye lya Isirayiri lidduse nga ne Sawulo ne batabani be abasatu bafudde, ne balekulira ebibuga byabwe ne badduka. Abafirisuuti ne bajja ne babibeeramu.

8Enkeera, Abafirisuuti bwe baagenda okwambula emirambo, baasanga Sawulo ne batabani be abasatu bafiiridde ku lusozi Girubowa.

9 Ne batemako omutwe gwe ne bamwambulamu ebyokulwanyisa bye, ne batuma ababaka mu nsi yonna eyʼAbafirisuuti okulangirira mu ssabo lyabwe, nʼeri abantu baabwe.

10 Ne bateeka ebyokulwanyisa bye mu ssabo lya Baasutoleesi, nʼekiwudduwuddu kye ne bakiwanika ku bbugwe owʼe Besusani.

11 Naye abatuuze bʼe Yabesugireyaadi bwe baawulira Abafirisuuti kye baali bakoze Sawulo,

12 abasajja abazira bonna ne bagolokoka, ne batambula ekiro kyonna ne bagenda e Besusani. Ne bawanulayo omulambo gwa Sawulo, nʼegya batabani be ku bbugwe owʼe Besusani, ne bagitwala e Yabesi ne bagyokera eyo.

13 Nʼoluvannyuma ne baddira amagumba gaabwe ne bagaziika wansi wʼomumyulimu e Yabesi, ne basiibira ennaku musanvu.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
div>