1
2
3
4
5
6Awo Abafirisuuti bwe baawulira oluyoogaano ne beebuuza nti, “Oluyoogaano olwo lwonna mu nkambi eyʼAbaebbulaniya lutegeeza ki?”
7Abafirisuuti ne batya. Ne boogera nti, “Lubaale azze mu nkambi. Tufudde! Tewabangawo kigambo ekifaanana bwe kityo.
8
9
10Abafirisuuti ne beerwanako ne bawangula Abayisirayiri. Buli Muyisirayiri nʼaddukira mu nsiisira ye. Ne waba okuttibwa kunene nnyo, Abayisirayiri ne bafiirwa abaserikale abaatambuzanga ebigere emitwalo esatu.
11Essanduuko ya Katonda nʼewambibwa, era ne batabani ba Eri bombi, Kofuni ne Finekaasi ne battibwa.
12Olunaku lwe lumu ne wabaawo omusajja Omubenyamini eyava mu lutalo nʼadduka okutuuka e Siiro, ngʼayuzizza engoye ze nʼomutwe gwe nga gujjudde enfuufu.
13
14Eri bwe yawulira oluyoogaano nʼabuuza nti, “Oluyoogaano luno luva ku ki?”
15Eri yali aweza emyaka egyʼobukulu kyenda mu munaana, amaaso ge nga gayimbadde, era nga nʼokulaba takyalaba.
16Omusajja oyo nʼategeeza Eri nti, “Naakava mu lutalo, era nziruseeyo leero.”
17Omusajja eyaleeta amawulire nʼamuddamu nti, “Isirayiri edduse Abafirisuuti, era eggye lyaffe lifiiriddwa abalwanyi bangi. Ate ne batabani bo bombi Kofuni ne Finekaasi battiddwa, era nʼessanduuko ya Katonda ewambiddwa.”
18Olwayogera ku ssanduuko ya Katonda, Eri nʼasirituka okuva ku ntebe ye nʼagwa okumpi nʼomulyango. Ensingo ye ne menyeka nʼafiirawo kubanga yali musajja mukadde nnyo ate nga nʼobuzito muzito. Yali akulembedde Isirayiri okumala emyaka amakumi ana.
19Mu kiseera ekyo muka mwana we, Finekaasi, yali lubuto era ngʼanaatera okuzaala. Bwe yawulira amawulire nti Essanduuko ya Katonda ewambiddwa era nti ne ssezaala we ne bba bafudde, nʼalumwa era nʼazaalirawo, kubanga obulumi bwamuyitirirako.
20
21Nʼatuuma omwana erinnya Ikabodi, amakulu gaalyo nti, “Ekitiibwa kivudde ku Isirayiri,” kubanga essanduuko ya Katonda yali ewambiddwa ate nga ssezaala we ne bba bafudde.
22Nʼayogera nti, “Ekitiibwa kivudde ku Isirayiri kubanga essanduuko ya Katonda ewambiddwa.”