1 Samwiri 5:1-12 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Abafirisuuti bwe bawamba essanduuko ya Katonda, ne bagiggya Ebenezeri ne bagitwala mu Asudodi;

2 ne bagisitula ne bagiteeka mu ssabo lya Dagoni[9], okuliraana Dagoni.

3 Awo abantu ba Asudodi bwe baagolokoka enkeera, baasanga Dagoni agudde mu maaso gʼessanduuko ya Mukama. Ne basitula Dagoni ne bamuzzaawo.

4 Era ne bwe baagolokoka enkeera ku lunaku olwaddirira, baasanga Dagoni agudde mu maaso gʼessanduuko ya Mukama, ngʼomutwe gwe nʼemikono gye bikutuseeko nga bigudde mu mulyango, ngʼekiwuduwudu kye, kye kisigaddewo.

5 Bakabona ba Dagoni nʼabo bonna abayingira mu ssabo lya Dagoni kyebava balema okulinnya ku mulyango gwʼessabo lye, ne leero.

6 Omukono gwa Mukama ne gubonereza abantu bʼe Asudodi nʼemiriraano, nʼabaleetako entiisa era ne bakwatibwa ebizimba.

7Awo abantu bʼe Asudodi bwe baalaba ebyabatuukako ne boogera nti, “Essanduuko ya Katonda wa Isirayiri teteekwa kusigala wano naffe, kubanga omukono gwe gutuliko era guli ne ku lubaale waffe Dagoni.”

8 Ne bakuŋŋaanya abakungu bonna abʼAbafirisuuti ne bababuuza nti, “Tunaakola tutya essanduuko ya Katonda wa Isirayiri?” Ne baddamu nti, “Essanduuko ya Katonda wa Isirayiri etwalibwe e Gaasi.” Awo ne batwala eyo essanduuko ya Katonda wa Isirayiri.

9 Naye bwe baagituusa eyo, omukono gwa Mukama ne gulwana nʼekibuga ekyo, ne waba okutya kungi nnyo nnyini mu batuuze bʼekibuga ekyo. Abakulu nʼabato nʼabaleetako ebizimba ku bitundu byabwe ebyʼekyama.

10Kyebaava baweereza essanduuko ya Katonda mu Ekuloni.

10Naye essanduuko ya Katonda bwe yali ngʼeneetera okutuuka mu Ekuloni, Abaekuloni ne bakaaba nga boogera nti, “Batuleetedde essanduuko ya Katonda wa Isirayiri, okututta nʼabantu baffe.”

11Awo ne bakuŋŋaanya abakungu bonna abʼAbafirisuuti, ne babagamba nti, “Muzzeeyo essanduuko ya Katonda wa Isirayiri mu kifo kyayo, ereme kututta ffe nʼabantu baffe.” Omukono gwa Katonda gwali gubazitooweredde nnyo era nga bajjudde entiisa eyʼokufa.

12 Abo abataafa baalwala ebizimba, okukaaba mu kibuga ne kutuuka mu ggulu.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
iv>